
POLIISI ekola ku nsonga z’amaka eri ku muyiggo gwa mukazi eyakubye muwala we n’amunuula omukono. Christine Kyomugisha, 23, yaddukidde ku poliise ye Kawaala ku Lwokutaano n’aloopa nnyina Winnie Binfosi omutuuze w’e kaazo ku Chez ne muganzi we lwa kumukuba ne bamugoba n’awaka nga bamulanga okubeera n’obulwadde bwa siriimu.
Kyomugisha bw’omutunlako kizibu okukkiriza nti aweza emyaka 23 olw’engeri gy’afaananamu.
Agamba nti ekisinga okumuyisa obubi ye nnyina amuzaalira ddala okutamiira n’amukubanga buli olukya ng’atamidde, okumwozesa engoye ze n’eza baganzi be n’okumulangira nga bwe yeereetera siriimu.
Agamba nti nnyina akeera kutambula era olumu tamulekera na kyakulya ng’ate abeera alina okumira eddagala.
Obulwadde baamuzaala nabwo era agamba nti kino yakitegeera wa myaka ena bwe yali akyabeera ne jjajja we Norah Tumwebazze e Najjembe mu Kyaggwe, eyamukuza oluvannyuma mu 2012 n’amusindika ewa nnyina amujjanjabeko.
Abudaabuda abalwadde ku ddwaaliro lya KCCA e Kawaala, Peter Kato ategeezezza nti nga bo tebalina bosobozi bwa kulabirira Kyomugisha naddala mu byokulya n’okusula wabula ng’obujjanjabiomuli n’eddagala weebuli.
Ye Sara Kaddu akola ku nsonga z’amaka ku poliisi y’e Kawaala yategeezezza nti bagenda kukwatagana n’abakola ku nsonga ze zimu e Kawempe okukwata Binfosi ne muganzi we bavunaanibwe wabula n’asaba abazirakisa okuyamba omuwala ono.
‘Maama yeegatta ne muganzi we ne bankuba olw’okuba nina siriimu’