TOP

Abaana bazannye okufa kwa Yesu ne bakaabya abazadde

Added 19th April 2019

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja

 Abaana nga balaga ekitundu Yesu we yaggyirwa ku musaalaba

Abaana nga balaga ekitundu Yesu we yaggyirwa ku musaalaba

Bya Paul Kakande

Abaana ku kkanisa ya World Answer Church ekulemberwa Nabbi Jeremiah Sebakijje e Masajja - Kibira mu munisipaali y'e Makindye booleseza ebitone eri abalokole abasabira mu kkanisa eno nga bayita mu muzannyo ogwoleka ebizibu Yesu bye yayitamu okutuuka okutufiirira ku musaalaba.

Olwaleero ekkanisa eno ebadde ejjukira olunaku lwa Yesu lwe yakomererwa ku musaalaba e Ggologoosa n'alokola abo bonna abamukkiririzaamu era ne basonyiyibwa ebibi byabwe.

 baana nga bakunguzza esu okumutwala e gologoosa Abaana nga bakunguzza Yesu okumutwala e Ggologoosa

 

Abaana bano ababadde wakati w'emyaka 5 ne 11 baayolesezza nga bayita mu muzannyo era olw'okukozesa ebitone ne baggyayo ekifaananyi ekituufu ate nga bato, kivuddeko n'abantu abakulu abamu okwoza ku mmunye.

Omusumba Sebakijje ategeezezza abalokole nti, bwekiba ng'omuntu osobola okwennyamira ng'olaba abaana bazannya omuzannyo naye ate maama wa Yesu eyaliwo ng'alaba mutabani we atulugunyizibwa okutuusa bwe yattibwa.

 baana mu kitundu ekyokuttibwa kwa esu Abaana mu kitundu eky'okuttibwa kwa Yesu

 

Ono era ategeezezza abantu obuteemulugunyanga, nga bali mu bizibu babeere nga Yesu eyeekwata ku kitaawe okusobola okuwangula okufa.

Ono era agambye nti, abalokole baleme kweyitanga bweyisi balokole naye bakole ebyo ebibafuula abalokole mu bikolwa nga balabira ku Yesu eyeerekereza obumubwe n'attibwa olw'okwagala omwana w'omuntu, mu mbeera eyo n'abalokole basaanidde okubangako bye beerekereza olw'obulungi bwa bannaabwe ne Katonda waabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Looya Fred Muwema ng’aliko by’annyonnyola Ham (wakati) bwe baabadde ku kkooti ejulirwamu eggulo.

Kkooti egobye okusaba kwa B...

KKOOTI ejulirwamu egobye okusaba kwa Bbanka enkulu (BOU) mw’ebadde eyagala okugattibwa ng’abatalina ludda mu musango...

Minisita Ssempijja e Lukaya ng’ayogera eri abawagizi be.

Minisita Ssempijja akyayomba

MINISITA Vincent Bamulangaki Ssempijja eby'okumukuba akalulu byongedde okumutabula. Okuva lwe yawangulwa, anenyezza...

Abamu ku ba ssentebe b’ebibiina bya ttakisi okuli Kalifan Musajja Alumbwa (ku kkono) ne Mustafa Mayambala.

KCCA ettukizza eby'okusoloo...

KCCA ettukizza eby’okusasuza abattakisi ssente za lisiiti eya buli mwaka era ebalagidde beetereeze ng’okusasula...

Abasuubuzi nga balumbye Willy Walusimbi (atudde ku ddyo) mu ofiisi.

Ab'akatale k'e Nakasero bat...

ABASUUBUZI b'omu katale k'e Nasekero bavudde mu mbeera oluvannyuma lw'abamu ku baali abakulembeze abaagobwamu KCCA...

Dr. Lwanga ne Fr. Nkeera.

Dr. Lwanga akyusizza Fr. Nk...

SSAABASUMBA w'essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga akoze enkyukakyuka mu Bafaaza n'akyusa abadde...