
Hajarah Mbekkaanya ow'e Kimbugu - Mpigi ng'ali mu ddwaaliro e Mpigi gye yazaalidde omwana we asooka.
Bya Vivien Nakitende
Enkolagana ya maama n'omwana nkulu era etandikira mu kaseera omwana w'azaalibwa, kuba oluzaalibwa agalamizibwa ku lubuto oba ku kifuba kya nnyina.
Hadijah Nandyose, eyeebuuzibwako ku nsonga z'abaana agamba nti, omwana nga yaakazaalibwa abeera mu mbeera ya kuyiga na kuvumbula kubanga buli kintu kiba kipya gy'ali. Akabugumu ka maama, okumusiisiitira oba okumuwembejja ng'amukutte bikulu mu kutandika n'okunyweza omukwano gw'omwana ne maama.

Eno y'entandikwa y'omwana okuyiga okwagala n'okwagalibwa kye kitegeeza, kino bwe kigenda mu maaso, omwana awulira bulungi, afuna obwesige nti ali mu mbeera nnungi era afiibwako.
Okuyonsa omwana kizimba omukwano gwa maama n'omwana. Mu kunoonya ebbeere, omwana afuna okuyambibwako maama, kino kigasa omwana bwe kikolebwa n'omukwano gwabwe gweyongera, amuwembejja era ng'amutunuulidde mu maaso nga n'omwana omutaddeko ebirowoozo enkolagana ebeera eyongera okuzimba.

Omwana eyaakazaalibwa aba asobola okwawula ebiwooma n'ebitawooma, asobola okuwunyiriza era kino kimuyamba okwawula amabeere ga nnyina ku bamaama abalala, n'okuyiga abantu abamulabirira. Noolwekyo omwana kisaanidde ateekebwe kumpi ne maama nga yaakazaalibwa, maama bw'amukwatako n'amuyonsa, omwana ayiga olusu lwe, gy'akoma okumuwembejja n'okumwagala enkolagana gy'ekoma okweyongera wakati waabwe.