TOP

Mukomye okusuulira abakozi abaana bammwe

Added 18th September 2019

Omukozi gw'olekera omwana lw'amuyigiriza emize gy'oneejjusa obulamu bwo bwonna

 Omuzadde ng'ategeka omwana we okugenda ku ssomero

Omuzadde ng'ategeka omwana we okugenda ku ssomero

Bya Stella Naigino

Ennaku zino abazadde beefudde abakola ennyo ekivuddeko okusuulawo obuvunaanyizibwa bw'okulabirira abaana nga bano babalekera bakozi.

Abakugu bagamba nti, omuzadde asobola okukwataganya emirimu gye era n'atuukiriza n'obuvunaanyizibwa bwe awaka ng'akola bino.

  1. Mulabirire nga yeetegeka okugenda ku ssomero: Annet Namutebi, maama era musuubuzi agamba nti, kikola amakulu omuzadde bw'afaayo okulaba embeera omwana we gy'alimu nga tannagenda ku ssomero. Kino kimuyamba okumanya omwana we

Bw'azuukuse n'engeri gye yettanira eby'okusoma.

  1. Manya ensoma y'omwana wo: Ronald Balisanyuka, mukugu mu by'abaana agamba nti omuzadde osaanidde okeere otegeke omwana wo ng'agenda ku ssomero, era nga ne bw'aba akomyewo, faayo okumanya ky'ayizeeyo.

Kino kiraga omwana wo nti, ofaayo ku kusoma kwe era naye kimuwaliriza okwongeramu amaanyi asome bulungi akusanyuse.

 aama ngakulisaayo mutabani we ku ssomero ngamugwa mu kifuba Maama ng'akulisaayo mutabani we ku ssomero ng'amugwa mu kifuba

 

  1. Manya ebintu omwana wo byayagala ennyo.

Balisanyuka agamba nti omuzadde buli lwawa omwana we akadde amanya biki omwana byasinga okwagala era lwaki. Kino kiyamba omuzadde okutema empenda okulaba nti omwana kyayagala akikola burungi.

  1. Abaana bayigirize okukola emirimu awaka.

Lynette Apondi, naye mukugu mu by'abaana agamba nti okubeera n'omukozi awaka, tekigaana baana kukola era nga kino kisoboka.

Abazadde balina okukubiriza abaana bano okukola emirimu era bakimanye nti, be balina okukola kubanga omukozi abayambako buyambi.

Ekyo bwe bakimanya, bakola na maanyi, olwo ne bafuuka abaana abalungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...