
Fr. Joseph Ssebayigga ng'awa omukisa mu kuggulawo ekizimbe ekipya abayizi ba P7 mwe bagenda okukolera ebibuuzo eby'akamalirizo
Bya Lilian Nalubega
Episcopal Viika w'e Ntebe, Fr. Joseph Ssebayigga awadde abayizi 84 amasakalamentu ku ssomero lya St. Joseph Girls Primary School e Nsambya n'asabira n'abaana abagenda okutuula ebigezo ebyekyomusanvu Katonda abawanguze.

Mmisa ey'okusabira abayizi bano yatandise n'okuggulawo ekizimbe ekiggya ku ssomero lino era nga Fr. Ssebayigga yakiwadde omukisa abayizi abagenda okukoleramu ebigezo bateekewo likodi ey'okuyita okusinga emyaka egiyise.
Yagasseeko okuyingiza abalonde babiri mu kisibo kya Kristu, n'abatiza ssaako okusembeza abasooka n'okuwa konfirimansiyo ate n'omujiji.

Mu kubuulira, Fr. Ssebayigga yakubirizza abayizi b'ekyomusanvu okukozesa ekiseera ekisigadde nga basoma n'okwekenneenya byonna ebibasomeseddwa kyokka nga era bawaayo obulamu bwabwe n'okusaba Katonda buli kiseera asobole okukyusa engeri gye babadde bakolamu ebigezo omulundi guno bayitire waggulu.
"Oba nga musobola okulya emmere emirundi egisoba mu ena olunaku ne Katonda mumwongere ku mirundi gye mumusaba. Nkimanyi ajja kubawulira era tayinza butabaanukula na kubawanguza olutalo luno lwe mulimu," Fr. Ssebayigga bwe yagambye n'abajjukiza nti ebinaava mu bigezo kwe kusasula kwabwe eri bakadde baabwe mw'ebyo bye babakoledde nga kw'otadde n'okusasula ebisale by'essomero.

Abakulembeze b'abayizi baakyusizza obukulembeze era abajja ne balayizibwa okuba abakulembeze abalungi eri bannaabwe nga bano Ssebayigga yabakubirizza okwewala okutiiririra bayizi bannaabwe ekiyinza okubazza emabega.