TOP

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya

Added 11th November 2019

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka

 Abayizi ba Kitante Pulayimale nga basoma obutabo bwa ToTo

Abayizi ba Kitante Pulayimale nga basoma obutabo bwa ToTo

Bya Peace Navvuga
Ebbugumu lyeyongedde mu kivvulu kya Vision Group ekya ToTo Festival ng'abakulira okuteekateeka n'okufulumya akatabo kano bakyalira amasomero okumanyisa abayizi ku katabo ka Toto n'okubakubiriza okujjumbira ekivvulu kyabwe basobole okuyiga ate n'okusanyuka ne bato bannaabwe.

 muyizi ngalaga ekipande ekiranga oo Omuyizi ng'alaga ekipande ekiranga ToTo

 

Grace Nampiima, avunaanyizibwa ku kuteekateeka n'okufulumya akatabo kano yategeezezza nti, ekivvulu kino kyakubeerawo nga December 8, omwaka guno nga kino kye kimu ku bivvulu by'abaana ebisinga okwettanirwa buli mwaka.
Abayimbi ab'enjawulo baakubeerayo okusanyusa abato okuli; Esther ne Ezekiel Mutesasira, Fresh Kid n'abalala.

 bagayidi nabasikawutu nga balaga obutabo bwa oo Abagayidi n'abasikawutu nga balaga obutabo bwa ToTo

 

Abateekateeka akatabo kano baakubirizza abazadde okutwala abaana baabwe mu kivvulu kino basanyuke ne bato bannaabwe ng abwe bayiga ku 10,000/- gwokka e Namboole.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abawagizi ba Tumwesigye nga basaba.

Abawagizi b'eyavuganya mu B...

ABAWAGIZI ba Fred Tumwesigye (afukamidde) eyavuganya ku ky’omubaka wa palamenti owa Buwekula South bamusazeeko....

Underwood (wakati) ne mikwano gye.

Underwood okyanyirira!

JULIET Underwood (wakati) amanyiddwa nga Sharon eyali azannyira mu Ebonies abantu olumulabyeko ne batandika okumubuuza...

‘Okusiiba kwanziza ku masakalamentu’ Rosemary Kilaarire.

Omubiri n'omutima bye bituw...

ROSEMARY Kiraalire mutuuze w’e Kirimannyaga - Zzana. Yayanjula bba Damiano Kiraalire mu 1991 ne batandika amaka...

Kafeero eyakwatiddwa ne mukyala we.

Bakutte bana abatunda eddag...

ABANTU 4 okuli n’omusawo w'ebisolo bakwatiddwa mu kikwekweto ky’okufuuza abatunda eddagala ly’ebisolo ery'ebicupuli...

Omuserikale ng'ayingiza Mabaale  mu kaduukulu.

Eyateeze muliraanwa n'amute...

POLIISI y’e Mpigi ekutte omutuuze n’emuggalira lwa kukakkana ku muliraanwa we n’amutema ejjambiya ku nsingo n’ekigendererwa...