TOP

Abazadde bawangulidde abaana baabwe ebirabo ku ssomero

Added 9th December 2019

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza

 Abazadde nga badduka okulonda obupapula okwabadde kuwandiikiddwa ebirabo bye baawangudde

Abazadde nga badduka okulonda obupapula okwabadde kuwandiikiddwa ebirabo bye baawangudde

Bya Hafswa Nankanja

Abazadde bawangulidde abaana baabwe yunifoomu, bbasale, ebitabo, ekkalaamu ne ssente enkalu mu mpaka z'okudduka ezaabateereddwaawo omukulu w'essomero lya Brightway Nursery and Primary School e Nakuwadde - Bulenga, Moses Ibanda.

 baana nga bavuganya mu kukola obwangu okufuna akatebe basobole okuwangula Abaana nga bavuganya mu kukola obwangu okufuna akatebe basobole okuwangula

 

Abazadde baabadde balina okudduka nga balonda obupapula obwamansiddwa mu kisaawe kyonna nga buno kwe kwabadde bye baawangudde.

Bakira buli muzadde yeesomera ekirabo ekyabadde kiwandiikiddwa ku kapapula k'alonze.

Okuvuganya kuno baakukoledde ku kabaga k'amatikkira g'abayizi ba nnassale abaagenze mu P.1 akaabategekeddwa essomero, aka buli mwaka. Ku lunaku lwe lumu, abayizi ab'ebibiina ebirala kwe baayoleserezza ebitone eby'enjawulo ng'okujjuza eccupa ya sooda n'amazzi ng'okozesa sipongi, okuddukira mu kkutiya, okukozesa obwangu n'osooka banno mu katebe n'ebirala ebyanyumidde abazadde.

 bazadde nabasomesa nga basala keeki nabayizi baabwe abaamalirizza omutendera gwa nnassale okugenda mu 1 Abazadde n'abasomesa nga basala keeki n'abayizi baabwe abaamalirizza omutendera gwa nnassale okugenda mu P1

 

Ibanda yagambye nti, eno emu ku nkola zaabwe ze bayitamu okuddiza ku bazadde ababeesiga ne babakwasa abaana ab'ekisulo n'abava awaka omwaka ne guggwaako nga tewali atoma okuggyako okubongera abayizi abalala.

Ng'era okuvuganya bwe kuba, abazadde abamu baaviiriddemu awo olw'obupapula bwabwe okuba nga mu kifo ky'okuwandiikibwako ebirabo, ate bwo bakira busoma ebigambo nga; weebale kubeera muzadde mulungi, tukwagaliza omwaka omuggya ogw'essanyu, toggwaamu maanyi, ggwe muwanguzi w'omwaka ogujja n'ebirala.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...