TOP

Abaana balabuddwa kumirimu egy'obulabe

Added 17th December 2019

Omubuulizi w'e Kabowa David Ssewagudde alabudde abaana abali mu luwummula obutakola buli mulimu kuba egimu si gya myaka gyabwe

 Omubuulizi Ssewagudde ng'ayogera eri abaana

Omubuulizi Ssewagudde ng'ayogera eri abaana

Bya Lilian Nalubega

Abaana balabuddwa ku mirimu gye balina okukola mu biseera eby'oluwummula nti kubanga mingi gye bettanira ensangi zino gya bulabe eri obulamu bwabwe.

"Emirimu ng'okulonda ebyuma ebikadde ku byalo gye mubeera, ebicupa ebikozeseddwaako n'ebintu ng'ebyo bya bulabe eri obulamu bwammwe. Oluusi ebyuma bibeeramu bbomu nga zisobola okubakuba ne mufa ate nga n'ebimu biba bijama ekisusse nga bisobola okubalwaza ebirwadde ebiva ku bucaafu," Omubuulizi w'e Kabowa, David Ssewagudde bwe yalabudde bwe yabadde abuulira abaana aba Ssande School abeetabye mu kusaba ku kkanisa y'Omutukuvu Steven e Kabowa.

 bamu ku baana abaabadde mu unday chool e abowa Abamu ku baana abaabadde mu Sunday School e Kabowa

 

Ssewagudde yagambye nti, abaana bagwana kukuumibwa butiribiri mu biseera naddala bino eby'oluwummula era n'asaba abazadde okuba abasaale okukuuma abaana bano kubanga abamu n'emyaka gyabwe mito nga tebannasobola kwesalirawo na kwawula kibi ku kirungi.

Omusomesa wa Ssande School ku kkanisa eno, Theo Mukasa abazadde yabasabye bajjumbire enteekateeka z'obulabirizi basasulire era batwale abaana baabwe mu nkung'aana ezitegekebwa kkanisa.

Abaana baabuulirirwa ku mpisa ennungi era ne babuulirwa biki omwana omulungi by'afuna okuva eri abazadde abamuzaala ate n'abantu abalala.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Maradona ng'azannyisa omupiira.

Diego Maradona yaani?

MARADONA Y'ANI Ye mwana owookutaano mu ffamire y'abaana 8. Yazaalibwa ku kyalo Lanus nga mayiro 25 okuva mu...

Ebijuujulu nga binywegera Maradona.

Lwaki Maradona mu Napoli gy...

BAALI BAMUYAAYAANIRA; Yeegatta ku Boca Juniors kyokka okusobola okubeezaawo kiraabu eno, aba Boca Juniors baalina...

Lutaaya Mukomazi

Minisita wa Kabaka eyafudde...

Edward William Lutaaya Mukomazi, eyaliko minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku byobulimi, ebibira n'obutonde bw'ensi...

Dr. Bbosa owa Ebonies

Bannange nkyali sitede sinn...

Munnakatemba omututumufu Sam Bagenda amanyiddwa nga Dr. Bbosa owa Ebonies avuddeyo n'asambajja ebigambibwa nti...

Munnamateeka Nalukoola

Looya avuddeyo n'awagira N...

Munnamateeka Erias Luyimbazi Nalukoola avuddeyo n'awagira Magie Kayima (Nabbi Omukazi) okusaba obukadde obusoba...