TOP

By'oba okola okukuza ekitone ky'omwana wo

Added 3rd February 2020

Abakugu balaga engeri gy'ozuula n'okukuza ekitone ky'omwana wo nga bw'asoma

 Lydia Nyesigomwe ng'ayogera ne bamaama abamu ku kukuza ebitone by'abaana

Lydia Nyesigomwe ng'ayogera ne bamaama abamu ku kukuza ebitone by'abaana

Bya Stella Naigino

Abantu abamu naddala abazadde  bagayaalirira okukuza ebitone by'abaana baabwe nga beesiba ku ky'okulemesa abaana okusoma kyokka ng'abakugu bagamba nti, tekigaana mwanakukuza kitone kye wadde akyasoma.

Lydia Nyesigomwe, dayirekita wa Parenting Uganda agamba nti, ssinga bazadde be tebaakuza kitone kye baamulabamu, osanga teyandibadde w'ali kati.

Nyesigomwe agamba nti, kuva buto ng'ayagala abaana era nga ne ku kkanisa gye yasabiranga ye yakuliranga Ssande School.

Ayongerako nti, wadde abazadde be baamukuutira okusoma, naye era baamuyambanga okukola ebintu bye yali ayagala ebikwatagana n'ekitone kye.

Agamba nti, abo bonna abaali bamwagaliza okubeera obulungi baamuyambanga okulaba ng'akola ebintu ebikwatagana n'okubeera mu baana.

 ickie airwe ku kyalaani kye Vickie Hairwe ku kyalaani kye

 

Ng'amaze okusoma era yanoonya omulimu ogukwatagana n'abaana abato era ne bwe yakoowa okukozesebwa, yasalawo n'akola ekitongole kya Parenting Uganda kwe  yateeka essomero nga lya baana bato.

Nyesigomwe agamba nti, omuntu buli lw'akola ebintu ebyekuusa ku kitone kye, abikola bulungi era nga musanyufu.

Omuzadde alina okumalako obudde n'abaana be okumanya n'okuzuula ebitone byabwe era bamanye engeri entuufu ey'okubayamba.

Omuntu okukuza ekitone kirungi kubanga ebintu by'akola biyinza n'okumuyamba okufunamu ssente ne mu bukadde. 

Vickie Hairwe, atunga ngoye z'abagole agamba nti abantu abatuulira ebitone byabwe tebamanyi maanyi gali mu kukuza kitone.

Hairwe agamba nti, omuntu alina ekitone kye, teyeetaaga kumutuma kukola kintu kuvaayo wabula akikola bukozi n'olaba nga kinyumye era kivuddemu bulungi.

Omuntu alina ekitone akola ekintu kye n'okwagala era ne bw'asanga okusoomoozebwa, taggwaamu maanyi wabula yezzaamu amaanyi era n'afuna w'ayitira okutuuka gy'agenda.

Omuntu tasaanye kutuulira kitone kye wabula akikozese okufuna ebirungi by'ayagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Maradona ng'azannyisa omupiira.

Diego Maradona yaani?

MARADONA Y'ANI Ye mwana owookutaano mu ffamire y'abaana 8. Yazaalibwa ku kyalo Lanus nga mayiro 25 okuva mu...

Ebijuujulu nga binywegera Maradona.

Lwaki Maradona mu Napoli gy...

BAALI BAMUYAAYAANIRA; Yeegatta ku Boca Juniors kyokka okusobola okubeezaawo kiraabu eno, aba Boca Juniors baalina...

Lutaaya Mukomazi

Minisita wa Kabaka eyafudde...

Edward William Lutaaya Mukomazi, eyaliko minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku byobulimi, ebibira n'obutonde bw'ensi...

Dr. Bbosa owa Ebonies

Bannange nkyali sitede sinn...

Munnakatemba omututumufu Sam Bagenda amanyiddwa nga Dr. Bbosa owa Ebonies avuddeyo n'asambajja ebigambibwa nti...

Munnamateeka Nalukoola

Looya avuddeyo n'awagira N...

Munnamateeka Erias Luyimbazi Nalukoola avuddeyo n'awagira Magie Kayima (Nabbi Omukazi) okusaba obukadde obusoba...