TOP

Tunoonyezza ezadde era Mukama alituwadde

Added 9th December 2012

OMWAKA guno bwe gwali gutandika abantu abangi beeyama okukola ebintu ebiwerako ate abalala ne batandika okusaba n’okusiiba nga basaba Katonda abakolero ebyamagero bafune ebyo bye bamusabye.

Bya MEDDIE MUSISI


OMWAKA guno bwe gwali gutandika abantu abangi beeyama okukola ebintu ebiwerako ate abalala ne batandika okusaba n’okusiiba nga basaba Katonda abakolero ebyamagero bafune ebyo bye bamusabye.

Omusasi waffe yabadde mu kkanisa ya ETM Intenational Church e Salaama ku Ssande ew'omusumba Bro. Ronnie Makabai abantu ab'enjawulo ne bawa obujulizi ku birungi bye bakungudde mu mwaka guno okwabadde n’abo abaasaba abaana Katonda n’abaanukula.

Judith Kiyingi abeera ku Salama Road yategeezezza bwati: “Ebbanga lyonna mbadde nfuna embuto era ne nzaala bulungi kyokka nga simanyi kitwala baana bange kubanga tewali yali awezezza myezi esatu.

Naye olw’amaanyi g’okusaba nsuubira ekintu kino kiweddewo kubanga omwana gwe nnina kati aweza omwaka era nneebaza Mukama.”


Ruth Namara abeera Mutungo:
“Abasawo bansala oluseke olumu ate olwokubiri ne luzibikira essuubi ly’okuzaala ne linzigwamu wabula ku ntandikwa y’omwaka guno natandika okusaba n’okusiiba era nalabidde awo nga nfunye olubuto era nnina omwana mbuusa.”

Barbra Mawanda ne bba Mukiibi

Barbra Mawanda ne bba Mukiibi ab’e Bunnamwaya mu e Lubaga: Mukiibi yagambye nti baali bamukebera mu ddwaaliro abasawo ne bazuula ng’alina enkwaso ntono tasobola kutonda muntu.

"Essuubi lyali limpeddemu kwe kwekwasa Mukama ku ntandikwa y'omwaka guno era mu kiseera kino nze ne mukazi wange twafunye bebbi olw'ekissa kya Katonda.”


Namakula Resty ow’e Masajja, Makindye:
“Mu bulamu bwange bwonna nali sigendangako mu nsonga era bwe nakeberwa abasawo ne bagamba nti embeera eno etera okubaawo mu bakazi kyokka ali mu mbeera eno aba tasobola kuzaala.

Wabula oluvannyuma lw’okusaba nneewuunya bwe natandika okugenda mu nsonga n’ekyaddiridde kwe kufuna olubuto n’omwana ono.”


Namakula Resty

Tunoonyezza ezadde Mukama alituwadde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...