
Bya ANTHONY SEMPEREZA ne HAFSWA NANKANJA
“NJA kukwagala, mu bulungi ne mu bubi, mu bwavu ne mu bugagga, mu bulwadde ne mu bulamu okutuusa okufa lwe kulitwawukanya,” kino ky’ekirayiro abaagalana kye bakuba mu maaso ga kabona nga bagattibwa mu bufumbo obutukuvu.
Wiiki ewedde abasumba b’abalokole baalagidde musumba munnaabwe, David Kiganda, ow’ekkanisa ya Christian Focus Centre mu Kisenyi okuddamu okuwasa.
Emabegako, omusumba Kiganda yayawukana ne mukyala we Hadijah Nassejje ng’agamba nti yamukwatira mu bwenzi, era abasaumba abalala balabye akandaaliridde kwe kumulagira awase.
Naye abaffe okusinziira kukirayiro ebyakubibwa mu maaso ga kabona, baalimba Mukama? Abasumba abamu baatuukiriddwa ne bawa endowooza zaabwe:
POLOF. SIMEON KAYIWA owa Namirembe Christian Fellowship Church: Abafumbo bwe bafuna obuzibu bwonna balina okuba abeegendereza ne batasalangawo mu kiseera we bafunidde obutakkaanya kubanga oluusi bayinza
okwejjusa. Ako akaseera kaba ka kalogojjo. Basaana okufuna omuntu alina obuyinza ng’asobola okubayambako okuvvuunuka obuzibu obwo, bwe butuuka awabi ennyo olwo basobola okugenda mu kkooti ya gavumenti ne basaba okwawukana. Kkooti esobola okugattulula abafumbo ate ekkanisa n’eddamu n’ebakwataganya olwo ekkanisa eddamu n’ebagatta. Ekkanisa tesobola kuddamu kugatta bafumbo.
OMUSUMBA MARTIN SSEMPA owa Makerere Community Church: Obufumbo butambulira ku mpagi ssatu ey’ekinnansi, ey’eggwanga n’ey’ekkanisa. Omuntu tasaana kumala gatomera bufumbo, era tamala gakiyingira buyingizi, eno y’ensonga lwaki omuntu bw’afuna omukyala oba omwami tatambula yekka afuna Ssengaawe n’abako. Bw’afuna obuzibu mu geeti mwe yayita ng’ayingira era mw’ayita okufuluma, tamala gafuluma bufumbo kuba asobola okutuukirira abantu abo bonna ne bamuyamba. Ensonga ennene ennyo nga ey’obwenzi esobola okwabyamu obufumbo, omufumbo bw’aba n’ekizibiti ekinene ddala gamba ng’akutte omwagalwa we ng’ali mu bwenzi asobola okuloopa ensonga ze mu gavumenti oba mu kkanisa obufumbo ne bugattululwamu. Wano omuntu aba wa ddembe okuddamu okuwasa oba okufumbirwa.
MUSENYOOLI GERALD KALUMBA bwanamukulu wa Christ the King: Abafumbo bwe bafuna obuzibu mu bufumbo bwabwe ababalamula ba mirundi ebiri, gavumenti esobola okubalamula bwe baba nga bafunye obuzibu ng’eyita
mu mateeka agabayamba okutereera. Ku ludda olwaffe olwa Klezia tetusobola kwawukanya bafumbo olw’ensonga nti Katonda kye yagatta tewali alina buyinza bwonna kukigattulula. Abafumbo abagattibwa balina kuyambibwa nga bafunye obuzibu basobole okusonyiwagana baddemu okukwatagana, basobola okutuukirira abakulu ne babayamba oba okugenda mu bakulembeze be beesiga obulungi ne bayamba okutabagana.
OMULABIRIZI EYAWUMMULA WILSON MUTEBI: Teri kkanisa ekkirizibwa kuddamu kugatta mufumbo eyagattibwa edda. Ekkanisa esomesa abafumbo okusonyiwa, okutabagana n’okutegeeragana. Abafumbo bwe mba nga nze nabagatta ne bafuna obuzibu obunene mbayita ne mbatuuza era oluusi nsituka ne ng’enda mu maka gaabwe ne mbayamba mpolampola ne mbatabaganya. Abafumbo abafunye obuzibu basobola okutuukirira bakalabaalaba baabwe oba abantu ababasinga obukulu be beesiga ne babayamba okubatabaganya.
Bannaddiini boogedde ku Kiganda okuddamu okuwasa