TOP

Paapa Francis I: Ye Paapa asoose okuva ku ssemazinga wa Amerika mu myaka 1300

Added 14th March 2013

PAAPA omupya ye Jorge Mario Bergoglio. Alonze erinnya Francis I nga ye Paapa asoose mu byafaayo okulonda erinnya Francis ly’agenda okuyitibwanga.



VATICAN, Lwakuna

PAAPA omupya ye Jorge Mario Bergoglio.

Alonze erinnya Francis I nga ye Paapa asoose mu byafaayo okulonda erinnya Francis ly’agenda okuyitibwanga.

Jorge Mario Bergoglio, 76, y’abadde Kalidinaali w’e Buenos Aires mu Argentina. 

Ye Paapa owa 266 nga yazze mu bigere bya Benedict XVI eyalekulidde nga February 28, 2013.

Okulondebwa kwa  Paapa kwalangiriddwa Kalidinaali Jean-Louis Pierre Tauran enzaalwa ya Bufaransa wakati mu mizira, enduulu, okusanyuka n’okusagambiza okuva mu bagoberezi ba Kristu abasukka mu kawumbi kamu n’obukadde 200 mu nsi yonna.

Zaabadde ssaawa  2:12 ez’ekiro e Vatican, ze ssaawa 4:12 eza Uganda, Kalidinaali Tauran n’alangirira mu lulimi Olulatini eri ensi nti, ‘Habemus Papam’, ekitegeeza nti ‘Tulina Paapa’         

Waayiseewo eddakiika 10, Paapa Francis 1 n’alabika eri ensi ku ssaawa 2:22 ez’ekiro mu  Vatican (z’essaawa 4:22 z’ekiro mu Uganda) ng’awoomye mu byambalo eby’Obwapaapa ebyeru ng’omuzira.  

Paapa Francis yabadde yeebunguluddwa Bakalidinaali abaabadde baakamala okumuyiira obululu mu kulonda okwatudde enfunda eziwera nga kwatandise ku Lwokubiri ne kuggwa ku Lwokusatu akawungeezi.

Kyayitiridde mu kibangirizi kya St. Peter’s Square, abantu abasukka mu mitwalo 20 okwabadde ne bannamawulire 5,600 abaayolesezza omukwano, n’okwagala kwabwe eri Paapa omupya buli omu mu ngeri ye.

Abamu ku bantu abaakung’aanidde mu St. Peter’s Square baalabidwa nga bakulukusa amaziga olw’essanyu ate abalala basse ku maviivi, ng’emikono bagigasse wamu, mu ngalo bakwatiddemu ssappule n’emitwe bakotese ne basaba essaala buli omu mu lulimi lwe.

Baagumidde enkuba erimu n’omuzira bakira oguyiika obutasalako kyokka nga tewali aseguka, wabula nga banuuka n’okukangabala  ku bugere okulengera Paapa omupya. 

Essanyu lya Paapa omupya lyatandise ku ssaawa 1:06 eza Vatican ez’akawungeezi (z’essaawa 3:06  ez’ekiro eza Uganda), omukka omweru bwe gwatandise mpola okuva mu mudumu gw’ekyoto eky’omu Klezia Sistine Chapel, bakalidinaali 115 mwe baamaze ennaku bbiri nga bakuba obululu emirundi etaano okwerondamu Paapa.

Bwabadde bunkenke bwennyini mu ssaawa omukaaga ezaddiridde okuva ku ssaawa 7:40 ez’emisana ku Lwokusatu (eggulo), omukka omuddugavu bwe gwalabiddwa ng’akabonero akalaga nti tewannabaawo Kalidinaali awezezza bululu busukka mu 77 okulya obwapaapa.

Omukka omweru olwalabiddwa, enduulu n’esaanikira ekibangirizi ekya St. Peter’s Square ekyabadde kijjudde ne kifuuwa  olw’abantu abaabadde abangi ennyo, ng’eno omukka bwe gufuumuuka, n’ekide ekinene eky’oku Lutikko Basilica nakyo ne kitandika okwewuuba  akabonero akalaga nti Paapa alondeddwa.

Omukka gwafuumuuse ebbanga lyonna nga  Paapa omupya bwe bamuteekateeka omwabadde okumwambaza ebyambalo eby’obwapaapa, n’okumuyita mu misoso  egisooka nga tannalagibwa eri ensi.

Waayiseewo essaawa emu n’eddakiika 13 ng’omukka gumaze okulabika, Paapa n’alyoka alabika eri ensi ng’asinziira ku lubalaza olubikke olw’eddirisa mu Vatican.

Mu ngeri etali ya bulijjo, Paapa yayogedde eri ensi n’asiima bakalidinaali banne abamutaddemu obwesige wamu ne Benedict XVI gwaddidde mu bigere.

Yasabidde Eklezia n’abagoberezi baayo n’awa n’omukisa eri obwesedde bw’abantu abaabadde bamwegese amaaso.

OBAMA AYOZAAYOZEZZA PAAPA OMUGGYA (FRANCIS I)

PULEZIDENTI wa Amerika. Barack Obama yayozaayozezza Paapa Francis I olw’okuba Paapa asoose okuva ku ssemazinga wa Amerika.

“ Ng’omuntu alwanirira abanaku n’abo abajoonyesebwa alina obubaka gye tuli obw’okwagala n’okusaasira obutuwadde amaanyi okumala emyaka egisoba mu 2,000,” bwatyo bwe yagambye.



Paapa Francis I: Ye Paapa asoose okuva ku ssemazinga wa Amerika mu myaka 1300

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...