TOP

Ebintu 100 by'otomanyi ku Paapa Francis

Added 17th March 2013

TUKULEETEDDE olukalala lw'ebintu 100 by'obadde tomanyi mu bulamu bwa Paapa Francis okuva mu butoobwe okutuuka lwe yalondeddwa ku Bwapaapa akulembere Klezia erina abagoberezi abasoba mu kawumbi kalamba mu nsiyonna.

TUKULEETEDDE olukalala lw'ebintu 100 by'obadde tomanyi mu bulamu bwa Paapa Francis okuva mu butoobwe okutuuka lwe yalondeddwa ku Bwapaapa akulembere Klezia erina abagoberezi abasoba mu kawumbi kalamba mu nsiyonna.

1 MU 2001 yasaba wassibwewo Banka y’Ensi yonna eyeesigamye ku musingi gw’eddiini edde mu bifo ky’ekitongole kya IMF kye yagamba nti tekikyalina busobozi kuleeta butebenkevu mu byenfuna mu nsi yonna.
2 Bwe baabadde baakamulangirira akalombolombo ka Klezia ke yasoose okumenya kwe kuba nti bwe yavuddeyo okweraga eri abakkiriza mu kifo ky’okubalamusa mu ngeri emanyiddwa Bapaapa baakalondebwa gye balamusa abantu eya 'Atenderezebwe Yezu Kristu oba Abooluganda, bassebo ne bannyabo ye yakozesezza ebigambo 'Buona sera' nga bino bya Luyitale ebitegeeza nti, 'Musiibyeyo mutya'.
3 Bakalidinaali abaamulonze yabasabidde kisonyiwo olw’okumulonda bwe baabadde ku kyeggulo n’abagamba nti, “Omukama abasaasire” olwo bakalidinaali ne bafa enseko.
4 Bwe baabadde baakamulonda, omuntu gwe yasoose okukubira ssimu ye Benedict XV1, Paapa eyaakawummula.
5 Abadde anaaza n’okunywegera ebigere by’abalwadde ba siriimu
6 Abadde anenya bannaddiini abagaana okubatiza abaana b’abakazi abatali bafumbo.
7 Kitaawe yali musajja mukozi ku leerwe
8 Alina diguli ya Masters mu kutabula eddagala (chemistry) okuva mu yunivasite ya Buenos Aires.
9 Yasomesaako Litulica n’endowooza z’abantu mu Inmaculada High School ne mu Colegio del Salvador erisangibwa mu Buenos Aires
10 Yayingira mu bunnaddiini (priest) nga Dec.
13, 1969 ng’alina emyaka 32.
11 Abadde atambulira ku bbaasi ne 'tuleyini.'
12 Akkiriza nti kondomu zisobola okukkirizibwa mu bakkiriza.
13 Agambye ab’e Argentina baleme kwonoona ssente zaabwe nga balinnya ennyonyi okubaawo ku Lwokubiri ng’alayira nti wabula ssente bazikozese okugabira abaavu.
14 Ye Paapa asoose okulabika eri abantu ng’ayambadde egganduula eryeru mu kifo ky’okwambala ekyambalo kya Paapa n’akakoofiira akamyufu era yabadde ayambadde mudaali gwe mu kifo y’okwambala ogwa Paapa ogujjudde amayinja ga diyimonda.
15 Ye Paapa asoose okukulembera Eklezia ng’alina eriwuggwe limu.
16 Bazadde be, Mario José Bergoglio, ne mukyalawe , Regina María Sívori baali Bayitale abanoonyi b’obubudamo mu Argentina.
17 Alina baganda be bana.
18 Nga tannayingira mu bunnaddiini, yakolako nga kanyama mu bbaala mu Buenos Aires.
19 Ayagala nnyo amazina ga Tango era bwe yali tannayingira mu bunnaddiini yalinako omuwala bwe baazinanga Tango.
20 Ayogera Oluyitale, Olujamani Olusipanishi, Olungereza, Olufalansa, Olupootugo n'Olulattini.
21 Firimu gy’asinga okwagala bagiyita Babette's Feast, yazannyibwa mu 1987 .
22 Mu nnyumba ye mw’abadde asula temuli tivvi.
23 Mu kulonda kwa 2005 mwe yali owookubiri ku Paapa Benedict XV1, abaamulemesa baamulimirira bwe baakimussaako nti ye taseka!
24 Ennyonyi gye yalinnye okugenda e Vatican gye baamulondedde ku Bwapaapa yatudde mu bamufunampola (economy class).
25 Tabeerangako mu kifo kya waggulu mu bukulembeze bwa Vatican obutafaanana ne banne b’abadde avuganya nabo.
26 Abadde takuba nkung’aana za bannamawulire nga by’ayogera abyogerera ku kituuti.
27 Ng’akulembedde abasumba b’e Argentina, yeetondera abantu olw’obutabakuuma mu biseera by’effugabbi.
28 Obulamu bwe obusinga abumaze mu Argentina.
29 Omwaka oguwedde yalangira bannaddiini banne obunnanfuusi n’agamba nti beerabidde nti, Yezu yalyanga n’abagenge ne bamalaaya.
30 Abadde anaaza ebigere by’abasibe mu makomera.
31 Omu ku bannyina ayitibwa Maria Elena Bergoglio abadde amusabira aleme kufuuka Paapa ng’agamba nti, mwannyina ekitiibwa ekyo takyagala.
32 Abadde n’obutakkaanya ne Pulezidenti wa Argentina era obutakwatagana bwabwe nga babwogerako nti bulinga okugatta amazzi ne peetulo.
33 Yasaba Abakristu beegatte mu Lutalo lwe yayita olwa Katonda, okugaana eky’okutongoza obufumbo bw’abasiyazi kyokka n’awangulwa.
34 Omusomesa we eyamusomesa nga wa myaka 9, Sister Martha Rabino agamba nti, yali mulalu ng’emirundi agyogerera waggulu nga bw’abuukabuuka ku madaala asobole okugikwata.
35 Yakaabira omusomesa we eyamusomesa katekisimu, Sister Dolores, bwe yafa emyaka ebiri egiyise.
36 Yawandiika ng’asaba Paapa Benedict XV1 amukkirize awummule omwaka oguwedde bwe yaweza emyaka 75 kyokka Paapa n’amugaana.
37 Muwandiisi nnyo w’amabaluwa era awandiika mawanvu ddala mu bunukuta obutono ate agamaliriza n’ebigambo ebigamba nti “nsabira”.
38 Ekyamagero kye yasoose okukola nga yaakafuuka paapa ky’ekyokusobozesa omusomesa we, Sister Martha Rabino eyalwala edda amagulu okubuuka mu bbanga n’ayimirira bwe yawulidde nti omuyizi we y’afuuse Paapa.
39 Ng’aweza emyaka 12, yawandiikira omuwala ayitibwa Amalia ng’amusaba amuwase era mu bbaluwa n’akubamu ekifaananyi ky’enju ey’amabaati amamyufu ng’agamba nti mwe bajja okubeera. Bino byali bya kito era omuwala yamugaana.
40 Abadde agenda mu kyalo ekirimu obuyumba obw’omugotteko ekiyitibwa Villa 21-24 n’anywa omwenge oguyitibwa Mate n’abantu b’omu kitundu kino nga bagunywera mu nseke nga bw’olaba amalwa.
41 Ne bwe yafuuka Kalidinaali mu 2001, yamala ebbanga ddene ng’ayambala akafulaano kamu akaalina ekitogi ekyeru.
42 Ye Paapa asoose okukulembera Klezia ng’ava mu kibiina kya Bayezu, abajaasi ba Kristu.
43 Y'asoose okuva mu Latin Amerika ate mu myaka egisoba mu 1300 y'asoose okuva mu mawanga agatali ku lukalu lwa Bulaaya ng’oggyeeko Paapa St. Gregory III eyakulembera Klezia okuva mu 731 okutuuka mu 741 AD
44 Akulembera Abakatuliki abasoba mu kawumbi kalamba n’obukadde bibiri.
45 Yali omu ku baakulembera Mmisa y’okusiibula Paapa John Paul II.
46 Yakulembera Mmisa y’okusabira eyali Pulezidenti waabwe Nestor Carlos Kirchner nga October 27, 2010 mu kumuziika.
47 Ye Paapa asoose okutwala erinnya lya Francis, era tagattibwako nnamba yonna kubanga y'asoose.
48 Paapa yatutte erinnya lya Francis of Assisi kubanga yayagalanga nnyo abanaku
n’okuyamba abali mu bwetaavu.
49 Yaleka emmotoka ye ey'ebbeeyi ey’ekika kya Limousine gye baamuwa ng'alondeddwa okubeera Kalidinaali n'alinnyanga bbaasi.
50 Paapa Francis yataddewo essuula empya bwe yasabye abagoberezi abasoba mu 150,000, abakung’anidde mu kibangirizi kya St. Peter’s Square okumusabira nga tannabawa mukisa.
51 Yagaanye okulinnya ku kituuti ekyateekebwawo era banne kwe babadde balinnyanga nga tayagala kulaga nti asukkulumye ku banne bwe baabadde mu Sistine Chapel.
52 Awakanya ebisiyaga mu Kleziya era awakanya ne bafaaza okuwasa.
53 Awakanya okuggyamu embuto nga ne Klezia nayo ekiwakanya.
54 Waliwo abasosodooti ab’ekibiina kya Bayezu abawambibwa mu 1976 ne balowooza nti alina ky'amanyi ku b'abawamba kyokka kkooti byonna yabisabanja nga byabutaliimu.
55 Muwagizi wa ttimu ya Arigentina eya San Lorenzo ezannyira mu kibinja ey’oku ntikko.
56 Ekirabo Paapa kye yasoose okufuna kaabadde kakomo akaamuweereddwa Kalidinaali wa South Africa.
57 Yasaba Abakristu beegatte mu lutalo lwe yayita olwa Katonda, okugaana eky’okutongoza obufumbo bw’abasiyazi mu ggwanga lye.
58 Paapa bwe yabadde ayogera ne Bakalidinaali yabategeezezza nti, amagezi galinga wayini buli lwe yeeyongera okulwawo n'obuka gye bukoma.
59 Enkoofiira ye ey'obwakalidinaali gye yayambadde ng'asoma Mmisa ye eyasoose nga Paapa.
60 Bwe baamaze okumulonda ku Bwapaapa ku Lwokusatu, bwe baabadde baddayo gye basula, yagaanyi okulinnya 'limozine' y’Obwapaapa n’asalawo kulinnya bbaasi ne bakalidinaali abalala.
61 Ye Paapa asoose okudda mu bigere bya paapa akyali omulamu, mu myaka 600 egiyise.
62 Muwagizi wa Lionell Messi ( FC Barcelona - Spain) eyalondebwa ku musambi w'omupiira ow'omwaka .
63 Waliwo looya eyamuwawaabira ng’amuvunaana kuwamba bannaddiini babiri mu 1976 mu biseera by’obufuzi obwannaakyemalira mu Argentina.
64 We baamulondedde yabadde yamaze dda okusasula tikiti emuzzaayo ewaabwe Argentina.
65 Mukwano gwe nfa nfe gwe yakula naye bamuyita Rafael Musolino
66 Yanywako ku sigala mu buvubuka bwe nga tannafuuka munnaddiini.
67 Yakula mulenzi omusirise ekyalowoozesanga abanu nti wa nsonyi.
68 Abantu baatandise dda okumuyita Paapa w’abaavu.
69 Yalwalako akafuba ng’akyali muto kye kyavaako eriwuggwe lye erimu okusalwako
70 Awuga nnyo kubanga alina angina pectoris.
71 Abayezu, ekibiina ky’alimu kyamuwaako ekibonerezo ekiringa eky’ekkomera bwe baamussa yekka okumala ebbanga ddene nga tali na bantu. Ensonga eyavaako kino teri agimayi.
72 Bw’abadde Kalidinaali nga taya¬gala bantu banywegera mpeta ye era ng’emirundi egisinga tabakkiriza.
73 Wadde abadde Kalidinaali, oluusi abadde ayambala ng'omuntu waabu¬lijjo.
74 Yakutte mu nsawo ye n’asasula wooteeri mwe yasula bwe baali teban¬nayingira gye baalondera Paapa.
75 Oluyimba lwe basoose oku¬muyiiyaako lw'ayiiyiziddwa muyimbi wa Hip Hop Omuyitale eyayise mu luyimba luno okumusaba okuddaabu¬lula Eklezia.
76 Muwandiisi wa bitabo nga byonna abiwandiise mu Lusipanisi.
77 Ebitamiiza asinga kwagala kunywa ka wayini.
78 Ekisiige ky'asinga okwagala kye kya 'The White Crucifixion' ekyasi¬igibwa Marc Chagall mu 1938. Ekisiige kino kiraga Yezu ng'akomererwa ku musaalaba.
79 Firimu gy'asinga okwagala bagiyita 'Babette’s Feast' eyazannyibwa Omudanisi, Gabriel Axel mu 1987.
80 Y’omu ku bawandiisi b'akatabo akayitibwa 'Sobre el Cielo yla Tierra' (On Heaven and Earth mu Luganda kivvuunulwa 'Ku nsi ne mu Ggulu'.
81 Obutafaana ne Bapaapa abalala abasirikale abaamukuuma ku lunaku olusooka yabagaanye nti tannaba kubeetaaga.
82 Paapa bwe yabadde abuuza Bakalidinaali, waliwo eyanywegedde empeta ye, Paapa naye yayanguye naye okunywegera empeta ya Kalidinaali, mu ngeri y’okumussaamu ekitiibwa..
83 Yawakanyaako Paapa Benedict XVI bwe yayogera ebigambo ku Nabbi Muhammad ebyanyiiza Abasiraamu. Paapa Benedict oluvannyuma yeeton¬dera Abasiraamu.
84 Mmisa gy'asoose okusoma ne Bakalidinaali bonna abaamulonda 115, bw'abadde ababuuza buli omu amukut¬teko mu ngalo mu ngeri ey’omukwano.
85 Takyukakyuka bwe gutuuka ku nnono n’enjigiriza ya Ekleziya.
86 Yagaana ennyumba ey’Obwakalidinaali n'asalawo okusula ne bafaaza abalala mu kalina nga naye alinako akasenge kamu kokka.
87 Wadde buli Paapa alina kwambala engatto mmyufu, ye bw'asoose oku¬labikako eri abantu yabadde mu zize enzirugavu ze yagenderamu.
88 Ku bakatoliki b'agenda okuku¬lembera obukadde 300 bava mu South Amerika gy'ava.
89 Omwogezi wa Vatican Fr. Federico Lombardi yamwogeddeko nga Paapa avudde ku nkola emanyiddwa buli Kalidinaali n'abakozi e Vatican kati balindiridde enkyukakyuka z'agenda okuleeta.
90 Ye Paapa asoose okussa abaseri¬kale be ku bunkenke nga buli lw'aba at¬ambula mu Vatican oba Roma tasooka kubategeezaako.
91 Ewaabwe mu Argentina buli mwaka abadde akyalako ku Muzi¬giti gwa At-Tauhid ogusangibwa e Floresta n'essomero ly'Obusiraamu erya Ali Ibn Abi Talib nga munywanyi waabwe nnyo era Sheik Mohsen Ali yamwogeddeko nga gwe basaaliddwa ennyo.
92 Ye Paapa agenda okusooka okuba ku mukutu gwa 'yintanet' ogwa facebook ng'alina abagoberizi 40,000.
93 Ebitiibwa bye mu bujjuvu big¬gwaayo biti, Bisopu wa Roma, Vicar of Christ, Omusika w'Omulangira w'Abayigirizwa, Kabona ow'oku Ntikko mu Klezia, Bisopu wa Italy era Ssaabasumba wa Roma, Kabona ow'oku ntikko mu kibuga Vatican, Omuweereza w'abaddu ba Katonda.
94 Mu kiseera kino asula mu kisulo kya Santa Martha bakalidi¬naali bonna mwe basula mu kasenge nnamba 201. Ekitanda kye kya muti nga kuliko ekifaananyi kya Yezu.
95 Ye Paapa asoose okuva mu ki¬biina kya Bayezu era nga bano omu¬lamwa gwagwe gwa kuyamba banaku na kuyigiriza ddiini si kubeera mu bukulembeze.
96 Awoomerwa nnyo amayuuni, obummonde, meloni, kaawa n'enkoko era ebyo kati tebirina kubula Vatican. Kuno atera okunywera eggiraasi y'akenge akayitibwa 'ristretto'.
97 Mu 1986 yagenda mu Giri¬maani okumaliriza okusoma diguli y'obwadokita mu ddiini.
98 Nga May 20, 1992 Paapa John Paul II lwe yamuwa Obwabisopu w'e Auca era omuyambi wa Ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Buenos Aires mu Arigentina.
99 Omulimu gwe yasoose okukola enkeera ng'alondeddwa, kwabadde kutwala bimuli mu Klezia ya Maria eya St. Mary Major e Roma.
100 Omuntu gw'asoose obu¬takkaanya naye ye Katikkiro wa Bungereza agamba nti ebizinga bya Falklands bya Bungereza ate nga Paapa agamba nti bya Arigentina eggwanga mw'asibuka. Abatuuze ku kizinga kino baagala kuba wansi wa Bungereza.
Omuserikale wa Paapa Omulamuzi Leticia Kikonyongo.

Ebintu 100 by''otomanyi ku Paapa Francis

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakristu nga basaba RDC Jjemba (owookubiri ku kkono) ennamba y’essimu ye oluvannyuma lwa Mmisa e Nangabo.

RDC agumizza ab'e Kasangati...

OMUMYUKA wa RDC atwala Kasangati, Nansana ne Makindye Ssaabagabo, Moses Jjemba agumizza abatuuze ku kibbattaka...

Minisita Muyingo n'abamu ku bakulira amasomero. Baali bava mu lukung'aana olumu gye buvuddeko.

Minisitule y'Ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ezzeemu okwekenneenya n’efulumya ebiragiro ebipya ng’abayizi ba P6, S3 ne S5 nga baddayo...

Allan Bukenya ng’alaga ennyama ense.

Kola ebyokulya mu nnyama en...

OSOBOLA okukola ebyokulya eby'enjawulo mu nnyama ense eri ku mutindo n'ogaziya bizinensi y'okuliisa abantu. ...

Emmotoka etadde ebitongole bya Gavumenti mu kaseera akazibu ku ngeri gye yayingira mu ggwanga.

Ebizuuse ku mmotoka ya Bobi...

EMMOTOKA ya Kyagulanyi gye yayanjulidde abawagizi be n'abategeeza nti teyitamu masasi aleese akasattiro mu bitongole...

Akalippagano ku nkulungo y’e Naalya.

▶️ Abakozesa Northern By ...

ABANTU abakozesa oluguudo lwa Northern By Pass balojja akalippagano k'ebidduka akali ku luguudo luno okuva bwe...