TOP

Okunyeenya amatabi kulimu makulu ki?

Added 24th March 2013

OKUNYEENYA amatabi omanyi kye kitegeeza oba onyeenyesa kinyumu? Olwaleero lwa kunyeenya matabi era abagoberezi ba Yesu Kristu bagenda mu masinzizo nga bakutte ensasa ez'okunyeeya ate abalala bagenda kuzisanga ku masinzizo.



Bya Anthony Ssempereza

OKUNYEENYA amatabi omanyi kye kitegeeza oba onyeenyesa kinyumu? Olwaleero lwa kunyeenya matabi era abagoberezi ba Yesu Kristu bagenda mu masinzizo nga bakutte ensasa ez'okunyeeya ate abalala bagenda kuzisanga ku masinzizo.

Bannaddiini bannyonnyodde  okunyeenya amatabi kye kitegeeza.

Msgr. Gerald Kalumba owa Klezia ya Yezu Kabaka mu Kampala agamba nti, "Amatabi kabonero ka  buwanguzi. Eklezia erina ebintu bibiri eby'amakulu ebikuzibwa mu lunaku luno olw'okunyeenya amatabi.

Ekisooka, Yezu alaga nti, muwanguzi ayingira mu kibuga Yerusalemu nga Kabaka abantu bamwaniriza nga bakutte amatabi g'emiti. Mu budde obwo Yerusalemu yali efungibwa Balooma nga Ponsio Pilato ye gavana w'ekitundu ekyo eky'Abayudaaya. Abantu baali balabye enjigiriza ya Yesu, awonya abalwadde, alangirira amawulire agasanyusa ate era yali kennyini amaze okweyita Kabaka naye abantu baali tebannatageera Bwakabaka bw'ayogerako nti obubwe si bwa ku nsi bwa mu Ggulu. Abantu bali bamaze okumulaba nti, muwanguzi, ayingira ekibuga  Yerusalemu. 

Baamwalirira engoye enjeru wansi ayiteko era baagenda bamuyimbira ennyimba ezimuwaana nti,  "Ozana Kabaka, Ozana omwana wa Daudi eno nga bwe banyeenya amatabi ng'emiti okumutendereza."

Olunaku luno lwe lukomekkerezza ekisiibo, naye ate wabaawo okusiiba okwamaanyi ku Lwokutano olutukuvu nga  luggyawo obubi bw'omuntu eri Yezu Kristu, kuba lw'awanikibwa ku musaalaba. Olunaku luno olw'amatabi era lwe lukulemberamu wiiki entukuvu mwe tulabira obuwanguzi bwa Yesu Kristu bwennyini ng'azuukira mu ntaana ng'awangudde olumbe. 

Ekitundu ekyokubiri  mu kunyeenya amatabi kwe kulangirira evanjiri eraga okukwatibwa n'okubonaabona kwa Yesu ate omwatuviira obuwanguzi. Era ku lunaku tusoma ebitundu by'evvanjiri ebiraga okubonaabona kwa Yesu."

Omulabiriza eyawummula Wilson Mutebi, agambye nti, "Tunyeenya matabi  nga tujaguza omukolo ennyo ogwabeerawo mu kibuga  Yerusalemi. Yesu yayingira ekibuga nga Kabaka omuwanguzi w'emitima gyaffe. Abantu bangi baamwaniriza mu kibuga kino nga Kabaka era bayaliira engoye zaabwe mu kkubo n'ayitako. Abantu bamulangirira nti ye kabaka waabwe. Era naye bwe baamukwata ne bamubuuza nti kituufu ggwe kabaka w'Abayuduya ye n'addamu nti, "oyogedde ndi Kabaka."

Obwakabaka bwa Yesu si bwa ku nsi buli mu mitima buli akkiriza Yesu Kristu mu mutima gwe aba akkiriza nti Kabaka era ono aba alina okunyeenyeza kabaka oyo amatabi. Amatabi gajjukiza abakkiriza nti Yesu ye Kabaka afuga mu mutima gyaffe. Agifuga ng'atuggyamu emitima egy'ekko, atuwonya okusamira n'okusinza ebitaliimu.

Ebitundu byonna mu njiri bibaamu ensonga enkulu eno ey'amatabi nga byogera ku buwanguzi bwa Yezu Kabaka.  Era olw'ensonga eno yakwatibwa ne bamubonyaabonya ne bamutwala okumutta."

Ye Rev.   Abel Sserwanja  e Merewooma e Mwerwerwe agamba nti Okunyeeya amatabi Tujjukira yesu ng'ayingira Yerusalemi, kino kye kifo byonna ebyawandikibwa gyebyalina okutukiririra. Buli akkiriza ali mu bwakakaba bwe. Yeruzalemi ono ayogerwako  ye ffe  bwayingira mu ffe yajja okutuwonya amabanja , emize gyobwenzi obubbi n'ebirala, yajja okutuwonya obulogo n'obwavu. N'olwekyo tujaganya nga tuwuuba ensansa nga Yesu Kabaka ayingira Yerusalemu. Yesu bwe yali tannaba kuyingira yerusalemi yasooka  n'akyetolooza amaaso n'alaba ng'ebikolerwamu si birungi era n'akikaabira. Ate bwe yayingira mu yerusalemu nayingira yeekalo  bwe yetolooza amaaso n'alaba nga bagifudde katale kwe kubagobamu, naffe ku Lunaku olwa matabi tusanyuka kubanga Yesu Kabaka awangudde ekibi mu ffe. Era tujaganya nga tuyimba nti Ozana omwana wa Daudi.

Ye musenyooli Wynand Katende owessaza ekkulu erya Kampala agambye nti okunyeenya matabi kikolwa kitandika mu Bayundaaya nga bwe babanga baniriza omuzira nga bamunyeyeza amatabi era bwekityo mu biseera bya Yesu ekikolwa kino Abayudaya bakyolesa.

Akabonero k'okunyeenya amatabi kabonero kabuzira n'obuwanguzi . abantu bwe baalaba Ysu Kristu ng'ayingira ekibuga Yerusalemi bamwaniriza nebamwaliria engoye nga banyenya amatabi g'eminti nga bayimba nti Ozana omwana wa Daudi.

Yesu Abayudaya bamulabanga omununuzi  waabwe nga Kabaka azze okubanunula okuva mu bufuzi bwabaloma. Eno yensonga Lwaki banyeeya emiti. Kyokka obwa kabaka bwe si bwa kunsi.

 

Okunyeenya matabi kulimu makulu ki?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...