TOP

Eyamala mu ggwanika essaawa 15 awadde obujulizi

Added 8th September 2013

"NNEEBAZA mukama okuba nga nkyali mulamu kubanga nnamala mu ggwanika e Mulago okumala essaawa 15 nga ndi mu bafu." Ebigambo bino byayogeddwa Robert Ssemujju Jr ow'e Kasangati mu Wakiso bwe ya badde awa obujulizi mu kkanisa ya Holy Word ministries ey'omusumba Kevin Mukasa ku ssande ewedde ku KaleBya Job Nantakiika

"NNEEBAZA mukama okuba nga nkyali mulamu kubanga nnamala  mu ggwanika e Mulago okumala essaawa 15 nga ndi mu bafu." Ebigambo bino byayogeddwa Robert Ssemujju Jr ow'e Kasangati mu Wakiso bwe ya badde awa obujulizi mu kkanisa ya Holy Word ministries ey'omusumba Kevin Mukasa ku ssande ewedde ku Kaleerwe.  

Ssemujju yakubwa bbomu e Lugogo gye yasangibwa ng'omu ku bategesi aba Silk Events abaategeka ekifo kino abantu balabirewo fayinolo ya Word Cup.  

Ssemujju ya kubwa bbomu ku mutwe n'afuna ekiwundu ekyamaanyi  era bwe yatuusibwa e Mulago baamutwala mu ggwanika nga balowooza nti afudde okutuusa ku ssaawa ez'olweggulo abakozi mu gwanika lwe baamulaba ng'akyalimu akassa ne bamuggyayo okumutwala mu waadi.

 'Namala ennaku nnya mu koma. Katonda yampa omukisa ogwokubiri okuba ku nsi. Namala omwezi mulambo e Mulago ne bansiibula n'ekinnya mu mutwe kuba bbomu yasesebbula eggumba lyonna era n'omukono ogumu gwalemala.

Abasawo bantegeeza nti essaawa yonna nfuna obuzibu ku mutwe kubanga kumpi obwongo buli bweru era nneetaaga okulongoosebwa ku mitwalo gya doola ze sirina." 

Eyamala mu ggwanika essaawa 15 awadde obujulizi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu