TOP

Bannaddiini bannyonnyodde omugaso gw'essaala y'abafumbo

Added 3rd November 2013

YANDIBA emu ku nsonga lwaki ensangi zino abaana abamu bafuuse abalalu kuba bazadde baabwe tebeekwasa Katonda bwe baba bagenda mu mikolo gyabwe ng'abafumbo olwo emikolo gino bwe givaamu okutonda kw'omwana aba atandise bubi nga taweereddwa mukisa ku ntandikwa y'okutondebwa kwe. Bannaddiini batanga



Bya Hafswa Nankanja

YANDIBA emu ku nsonga lwaki ensangi zino abaana abamu bafuuse abalalu kuba bazadde baabwe tebeekwasa Katonda bwe baba bagenda mu mikolo gyabwe ng'abafumbo olwo emikolo gino bwe givaamu okutonda kw'omwana aba atandise bubi nga taweereddwa mukisa ku ntandikwa y'okutondebwa kwe. Bannaddiini batangaazizza ku ssaala abafumbo gye bateekeddwa okusoma nga bagenda okwegatta mu mbeera z'abafumbo.

Abakatoliki:

Fr. Benard Mpoza, owa St. Charles Lwanga okuva mu kigo kya Jinja Kalooli agamba nti;  "Kisinziira ku muntu. Ffe mu Klezia bwe tuba tugatta abafumbo, waliwo essaala ez'awamu ze tubasabira. Essaala zino zibaamu buli kimu omuli n'okwetanga sitaani ayinza okwagala okubataataaganya mu buli mbeera gye babeera batuuseeko ng'abafumbo.

Wabula bo ng'abufumbo, balina okweyiiyiza n'okuteeka kye bagenda okukola mu mikono gya Katonda. Newankubadde nga twakusabira ng'ogattibwa, tekikugaana kugenda mu maaso n'essaala yo yonna nga tonnagenda mu kikolwa ekyo. Essaala ogisaba okusinziira ku mitima gyammwe kye gyagala."

Abakrisitaayo:

Bp. Steven Kazimba Mugalu atwala Obulabirizi bwa Mityana  agamba nti, "Kituufu okusaba kwetaagisa era abafumbo bateekeddwa okwesabira nga bagenda mu kikolwa eky'abafumbo. Obujulizi bw'okusaba buno buli mu (Bakolinso ekisooka 7: 5). Mu byawandiikibwa abafumbo balina okusaba nga tebannaba kusisinkana. Wabula, ennyiriri zino tuzisomesa bafumbo bokka nga bagenda kufumbiriganwa. Tetuzissa mu lukale kuba n'abantu abatagattibwanga oba abatatukuzanga bufumbo bwabwe bayinza okuzikozesa mu bukyamu tugisomesa bafumbo bokka"

Abalokole:

Polof. Simeon Kayiwa owa Namirembe Christian Fellowship church agamba nti; "Waliwo ebizibu bye tufuna nga biva ku baatusookawo oba ku bantu abakyamu abatatwagaliza. Kirungi eri buli mugoberezi wa Yesu okusabira ekikolwa ky'aba agenda okukola katonda amutaase ebizibu ebikirimu. Bayibuli egamba nti, abantu abeesinza ekifaananyi kyonna  bafuna ekibonerezo kya mirembe na mirembe.

Kitegeeza nti jjajja wa jjajjaawo bw'aba yasobya ekikolimo kino kigendera ku ye, omwana n'abazzukulu abaliddawo. Okwewala bino, bw'oba ogenda mu kikolwa ky'abafumbo, oteekeddwa okusaba osabire abaana b'ogenda okuzaala baleme kugabana ku bikolimo na bibonoobono bya bajjajja baabwe abaasookawo. Omwana aleme kufuna ku kibi ky'atazza. Buli lw'osaba, olina okwesigama ku ndowooza eyo. Ekigendererwa kyammwe bwe kiba nga si kya kufuna mwana kiseera ekyo, era muteekeddwa okusaba Katonda aleme kubassamu kusobya kwa bajjajjammwe n'ebikolimo by'abantu abalala."

Abasiraamu;

Amir Sheikh Sulaiman Kakeeto annyonnyola nti; "Mu busiraamu buli mulimu gwonna Allah yaguteekako essaala. Omukkiriza yenna okutandika omulimu oguli halaal, olina okutandika n'okusaba Allah agumuweemu omukisa n'okumutaasa sitaani eyinza okumukozesa ensobi.

Abafumbo bwe baba basisinkanye balina okusoma essaala egamba nti; 'Bisimillah, allahumma jannibuna shaitwani wajannibu shayitwani maarazakitana'. Ekitegeeza nti, (Ayi Allah, tukusaba tuwonye sitaani ereme kubeera naffe mu mukolo guno ogw'obufumbo era tangira sitaani kw'ekyo ky'onooba otugabidde.' Essaala eno ogisoma tonnatandika mikolo era mu lulimi lwonna lw'otegeera kikuyamba obutafuna mwana aliko kizibu nga kivudde ku sitaani."

Abasodokisi;

Fr. Sterion Kasule owa St. Nicholas Orthodox church ategeezezza nti, "Kituufu abantu beerabira katonda mu mirimu egimu. Kyandiba nga kiva ku kupapirira, obutafaayo, obutamanya oba nga sitaani y'aba ababuzaabuzizza atere ebakozese ensobi.

Ekikolwa ky'abafumbo gumu ku mirimu egyakkirizibwa katonda era kigwanidde okuba nti osooka kusaba buli lw'oba ogenda okugwetabamu. Ne bw'oba tosomye ssaala ntegeke, osobola okusaba eyiyo okuva mu mutima gwo. Osaba okusinziira ku mutima gwo kye gwagala. Osaba muleme kufuna buzibu mu kikolwa ekyo mwembi mukiveemu ng'ekyabatutte mukimalirizza mu mirembe. Bw'oba oyagala zzadde era ky'oyolekeza ewa Katonda n'oky'ogerako mu ssaala yo."
 

Bannaddiini bannyonnyodde omugaso gw''essaala y''abafumbo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...