TOP

FR. PAUL ZIRIMENYA: Kiggala omuddugavu asoose okulya Obusosodooti mu Amerika

Added 9th February 2014

FR. PAUL Zirimenya yaziba amatu ku myaka mukaaga, naye bw’otegereza engeri gy’alinnye amadaala okutuuka okuba omusossodooti kiggala Omuddugavu asoose mu Amerika, tolema kwewuunya maanyi ga Katonda!



Bya GEOFFREY KULUBYA

FR. PAUL Zirimenya yaziba amatu ku myaka mukaaga, naye bw’otegereza engeri gy’alinnye amadaala okutuuka okuba omusossodooti kiggala Omuddugavu asoose mu Amerika, tolema kwewuunya maanyi ga Katonda!

Teebereza ku myaka 39 gyokka, asumba famire ezisoba mu 3,000 mu kibuga San Francisco, mu nsi emanyiddwa okubaamu abayivu era abagezi abangi ddala. Ate nno n’akikola mu kiseera nga kino ng’abantu badduka mu Klezia n’Ekkanisa ng’ebyensi bibamazeewo!

Y’akulira ekigo kya St. Benedict  ekya bakiggala ekiri mu Ssaza ekkulu ery’e San Francisco Archdiocese. Okutegeera amaanyi ge, Abakristu bangi bajja mu klezia bw’aba asoma mmisa, naye ate ne wabaawo abalala bangi abasigala eka nga bano ayogera nabo ku ssimu eya vidiyo oba okwesitula n'abatuukako.

Kwe kugamba nti ebitundu omunaana ebikola ekibuga Francisco omuli Santa Rosa, Monterey, Oakland, Fresno n’ebirala, byonna abiriisa ekigambo.

Yazaalibwa mu 1975, mu maka ga bakadde be Francis Mugerwa ne Robinah Mugerwa ababeera e Kanyanya ku lw’e Gayaza. Fr. Zirimenya ye mwana owookusatu ku baana mwenda bazadde be be baazaala. Weewuunye nti wadde ye Bwanamukulu wa kigo kiramba, naye yazaalibwa mu famire evaamu ab’enzikiriza ez’enjawulo.

Bakadde be wamu ne baganda be Bapolositante, naye abooluganda lwe abalala abamu Bakatoliki.

MU 2011, Fr. Zirimenya mu kigo kye e San Francisco, yagatta abagole Gwen ne Aaron Cruz enzaalwa z'e China mu kugatta okwakulungula essaawa ezisoba mu 3. Kino kyava ku kuvvuunula obubonero okwatwala ebbanga eddene nga Faaza akozesa bwa Kimerika ate omuvvuunuzi n'akyusiriza abagole mu bw'Ekichina. Olwo nabo ne babavvuunula okuzzaayo mu bw'Ekimerika. Gwen agamba nti okuva ku mbaga, Fr. Zirimenya abalambula lunye okulaba bwe bali mu bufumbo bwabwe.

Afuuka kiggala

Ku myaka mukaaga, ettabi ly'omuti lyamukuba ku mutwe n'afuna obuzibu mu kutu. We yawereza emyaka 14 nga takyawulira bulungi ate mu 1997 (ng'ali mu mwaka gwe ogwokubiri ku yunivasite) n'afuukira ddala kiggala.

Ayingira Obukatoliki

Agamba nti okwegomba Obutatoliki kyajja asoma Haaya mu ssomero lya Makerere High, bwe baabasomesanga essomo eryalambikanga enkyukakyuka ssinziggu mu Bufalansa mu kyasa ekya 19. Yanyumirwanga nnyo ebyafaayo bya Eklezia Katolika n’emirimu gyayo.

Okuggyako Makerere High, amasomero amalala gye yasomera mulimu Makerere Child Study Centre (gye yasomera nnassale), Kako Primary (1980-87), Kibuli SS (1988-1990) ne yunivasite e Makerere (1995-98) gye yafunira diguli mu Social Works and Social Administration (SWASA).

Oluvannyuma yasomerako e  Kyambogo (UNISE) mu ttendekero ly’abalina obulemu era eyo yafunayo dipulooma mu kuzza obuggya ebyalo. Mu June wa 2000, Fr. Zirimenya yagenda mu Amerika okusoma ebyeddiini era yaweebwa obusossodooti mu 2007 n’afuuka  Chaplain wa bakiggala mu kigo kya  St. Benedict.

Mu Amerika, Fr. Zirimenya y’omu ku basossodooti bakiggala omunaana be balina. Agamba nti bwe yafuna ekirowoozo ky’okuyingira Obukatoliki atandike okuyigiriza enjiri, bakadde be baakisanyukira era ne bamukkiriza ne kimuwa amaanyi okumaliriza emisomo gye. Okusoma obusossodooti yakutandika amaze yunivasite, awo nga mu 1999.

Olwava e Makerere, yakolako mu Kibiina ekigatta bakiggala ekya  Uganda National Association for the Deaf (UNAD) mu Kampala.

'NNEEGOMBANGA OBUMINSANE'

Okusinziira ku bye yategeeza ab’akatabo k’amawulire, The Catholic San Francisco,bwe yali akyali mu  UNAD gye yasisinkana  Faaza Omubirigi, Fr. Reiles Aloyse ow’ekibiina kya Missionaries for Africa, eyabeeranga mu kigo kya Kampalamukadde (St. Matia Mulumba).

Fr. Paul Zirimenya n'omu ku baana b'abatizza mu Amerika mu kigo ky'akulira.

Ono ye yasikiriza Fr. Zirimenya okusoma obusossodooti. “Nnali mumativu nnyo olw’enkyukakyuka ze nnalaba mu bakiggala abakulu we nabeerera mu UNAD, kwe kuwulira nga njagalira ddala okusoma obusossodooti nnyongere okulyowa emyoyo,” Fr. Zirimenya bwe yagambye ng’ajjukira engeri Fr. Aloyse gye yamusikirizaamu okusoma obwaffaaza.

Nga tannagenda mu Amerika,  Fr. Zirimenya yasooka kwewandiisa mu Seminario ya St. Mbaaga e Ggaba n’asoma ssaayansi w’embeera z’abantu (Psychology) okwetegekera okusoma ebyeddiini.

“Nze nno okusooka nnali njagala kubeera mubuulizi wa njiri ng’abaminsane bwe bakola, naye oluvannyuma nnakkiriza okusoma obusossodooti. Okugenda mu Seminario y’e Menlo mu kibuga San Francisco, baatuyita basatu, nze ne bakiggala abalala babiri okuva mu nsi endala. Ssaabasumba w’e San Francisco, William Levada yalaba obwetaavu bw’okusumba bakiggala era n’akikola,” bw’ajjukira.

Okusoomoozebwa

Fr. Zirimenya agamba nti wadde teyafuna amusosola olw’okubeera kiggala bwe yali asoma obusossodooti, okuba kiggala kyamuwa okusoomooza mu ngeri endala.“Bwe bakwanjula nga omuseminario oba faaza kiggala, abantu beewuunya, oluusi n’ofuna bangi abakweyuna,” bw’atandika “Naye kyangu okukkiriza nti gundi kiggala n’okufuna byonna bye weetaaga okukola emirimu gyo.”

Agattako:

Kyetaagisa nnyo obuvumu, okukyuka n’embeera, obumalirivu n’obugumiikiriza eri obusumba, omuseminario wamu n’ekigo gy’okolera. Okusoomooza okulala buzibu bwa Eklezia okusikiriza abavubuka okugisigalamu.

Mu kifaananyi Robinah Mugerwa

Wadde byonna biri bwe biti, Abakristu bamwagala nnyo. Omu ku bo, Michael Callejas agamba nti ye tasubwa mmisa bw’amanya nti Fr. Zirimenya y’anaagisoma kubanga musaaze nnyo. “Ojja okusinza n’essanyu, n’akwaniriza bulungi ate n’odda eka ng’oli musanyufu,” bwe yagambye..

Engeri Fr. Zirimenya gy’ayigiriza-amu y'eya bakiggala gye bayigamu, bakozesa bubonero era mu klezia be basingamu awamu n'ab'eng’anda zaabwe n’emikwano.

'Mutabani waffe Fr. Zirimenya tumwenyumirizaamu nnyo'

Robinah Mugerwa,  maama wa Fr. Zirimenya:

Ettabi ly’omuti bwe lyakuba  Paul ne kivaako okufuuka kiggala tetwakimanyirawo mu kusooka, osanga wandibaddewo ekikolebwa.

Naye wadde yali mu bulumi, yeeyisanga ng’awatali buzibu bwonna. Mukozi nnyo, mugezi ate bw’atandika ku kintu akimalirako ebirowoozo bye byonna.

Olumu nnamugamba nti mmusabira, Mukama akole ekyamagero addemu okuwulira. Wabula yanziramu nti “Maama ekyo kite, nnawona mu mwoyo wadde ssaawona mu mubiri!”

Engeri ze zaatuyamba nnyo nga famire. Ffe twogera ku kizibu kye nga tewali kuswala.

Francis Mugerwa, taata wa fr. zirimenya:

Nneenyumiriza nnyo mu mutabani wange ono. Kye mmanyi nti akola mangu emikwano, ate emikadde tagisuula. Ayagala nnyo famire ye.

Mu kifaananyi Francis Mugerwa

Nzijukira era nti bwe yalekera awo okuwulira, teyeekubagiza naye yasalawo okukozesa ekizibu kye yafuna okutuuka ku kisinga.

Y’ensonga lwaki bwe yasaba okuyingira Obukatoliki twamukkiriza era ne tumusabira amalirize bulungi emisomo gye.

Alice Ddamulira, Dayirekita wa St. Mark’s College Namagoma:

Fr. Zirimenya muto wange, kuva buto nga wanjawulo mu ngeri ye. Nga kizibu okumuyitako era ng’atusikiriza. Musaaze ate alina eriiso jjogi okulaba era akola buli kintu mu butuufu bwakyo. Ate tapapa, akola yeetegese.

Nzijukira bwe yakola ebibuuzo bya S6 obulungi ne bamuwa essomo lya SWASA, taata yamusaba akyuse essomo eryo kyokka ye n’aliremerako.

Twali tumutiisa kuba nti tawulira bulungi, sso nga mu kino Mukama mwe yali ayise okumukozesa ebyamagero.
 

FR. PAUL ZIRIMENYA: Kiggala omuddugavu asoose okulya Obusosodooti mu Amerika

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...