TOP

Lugazi awuumye ng'Omusumba Kakooza atuuzibwa

Added 4th January 2015

Omusumba omuggya ow’Essaza lya Klezia ery’e Lugazi, Bp. Christopher Kakooza yayaniriziddwa nnamungi w’omuntu mu ssaza lino ku Lutikko e Lugazi ku Lwomukaaga.

Bya STEVEN MUSOKE,  HENRY NSUBUGA ne MUKASA KIVUMBI

Omusumba omuggya ow’Essaza lya Klezia ery’e Lugazi, Bp. Christopher Kakooza yayaniriziddwa nnamungi w’omuntu mu ssaza lino ku Lutikko e Lugazi ku Lwomukaaga.

Ssaabasumba w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Cyprian Kizito Lwanga ye yakulembeddemu omukolo ogw’okutuuza Omusumba Kakooza.

Ssaabasumba yasiimye Bp. Mathias Ssekamaanya olw’eddimu ly’akoze okuva lwe yatuula ng’Omusumba asooka ow’essaza lino mu gwa 1997.

Omusumba wa Lugazi eyawummudde, Bp. Mathias Ssekamaanya ng’ayaniriza omuggya Bp. Christopher Kakooza.

Mu bimu Ssaabasumba bye yakonyeeko ebikoleddwa Bp. Ssekamaanya mu bbanga lino mwe muli okugula ekifo awali ekitebe ekikulu eky’Essaza lino n’okuzimba Lutikko eriwo, eddwaaliro ly’e Buikwe n’okutumbula omutindo gw’ebyobulamu mu ssaza okuli okuteeka amaanyi mu malwaliro ng’ery’e Naggalama, Nkokonjeru ne Nyenga.

Kuno yagasseeko okuzimba ennyumba y’Omusumba e Kibubbu, ennyumba mw’agenda okuwummulira, okuzimba wofiisi z’Essaza ezigguliddwawo, okutuuka ku baavu n’abanaku ng’ayita mu mirimu gy’ebyenkulaakulana nga mu Caritas, okuteeka amaanyi mu kulwanyisa obutabanguko mu maka, ssaako okulwanyisa obusamize.

Ssaabasumba Lwanga ku kkono ng’abuuza Omusumba wa Lugazi omuggya Bp. Kakooza.

Nga tannakwasibwa bukulembeze bw’Essaza, Bp. Kakooza yaweze okubeera omuwulize eri Klezia Katolika, n’okulaba ng’akulaakulanya essaza lino ng’atandikira Bp. Ssekamanya w’akomye.

Ssaabasumba era yasabye baffaaza, bannadiini n’Abakatoliki abasigadde mu ssaza okubeera abawulize eri Bp. Kakooza.
Omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi, ababaka ba palamenti, Robert Migadde Ndugwa ow’e Buvuma, Betty Nambooze owa Mukono Munisipaali, Dr. Lulume Bayiga, Kase Mubanda, ssaako eyali sipiika wa Palamenti ya East Afrika, Margaret Nantongo Zziwa ne Bba Francis Babu, Omumyuka wa Katikkiro Emmanuel Ssendawula, Meeya w’e Mukono Johnson Muyanja Ssenyonga n’omubaka Dorah Mpiima baabaddeyo.

Omusumba wa Lugazi omuggya Bp. Kakooza ng’abuuza ku Bakristu.

Bassentebe ba zi disitulikiti okuli okuli ow’e Mukono Francis Lukooya Mukoome, ow’e Buvuma Adrian Ddungu n’ow’e Buikwe Mathias Kigongoma nabo tebaalutumidde mwana.

 Omusumba wa Lugazi omuggya Bp. Kakooza 

Kkwaya nga yetegekera okwaniriza Bp Kakooza mu luttiko e Lugazi

Lugazi awuumye ng’Omusumba Kakooza atuuzibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...