TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ekigambo kya Katonda y'ensibuko ya byonna!

Ekigambo kya Katonda y'ensibuko ya byonna!

Added 17th July 2016

Ekigambo kya Katonda y’ensibuko ya byonna!

KU Ssande eno nsaba twebuulirire ku maanyi n’obukulu bw’ekigambo kya Katonda. Ebitonde byonna biriwo ku lwa kigambo kya Katonda.

Anti mu kitabo ky’Amasooka tusoma nti Katonda yayogeranga bwogezi nti kino kibeewo era ne kiba. Awo nno ekigambo kya Katonda y’ensibuko ya byonna era byonna mwe byakolebwa (Amasooka 1: 1)

Mu bulamu bwaffe twerabira ensibuko yaffe ne tutwalibwa bingi nga tugezaako okukuuma obulamu buno ne twerabira mu bitutawaanya bino nti ffe ku lwaffe tetulina kye tulina. Kyonna kye tulina kyatuweebwa buweebwa era tetulina kye tusobola kugattako ng’oyo eyakituwa takkirizza. Ekiseera kituuka kye tulowooza nti kyaffe ne kituggyibwako.

Gye tukoma okweyagalira mu bulamu buno, ne tugezaako okubuwangaaza nga tubulabirira, gye tukoma n’okumanya nti buli ssaawa gye twongera ku bulamu bwaffe gye tukoma okusemberera enkomerero yaabwo.

Tukola embaga ku mazaalibwa gaffe, tukola ebikujjuko buli ntandikwa ya mwaka, amasanyu g’ebikujjuko bino gatwerabiza nti tuba tujaguza lwa kusala ku bulamu bwaffe obw’ensi eno. Tuba tusemberera ntaana zaffe.

Obulamu buno buzibu anti buli kigere kye tulowooza nti tusimbudde mu maaso, kitegeeza kudda mabega. Wano ffe ng’Abakristu we twebuuliza nti kiki ddala kye twandiyaayaanidde ekitasobola kutuggyibwako?

Mukama waffe atuwadde okuddibwamu kw’ekibuuzo kino. Mu Vanjiri ya Lukka 10, 38-42, Omukama atugambye nti bwe yakyalira abawala bali Marita ne Maria, omu ku bo Marita yali yeetawaanya mu mirimu mingi ng’agezaako okwaniriza omugenyi waabwe.

Yatuuka n’okwetamwa n’agamba Yezu nti lwaki muganda we Maria tamuyambako? Maria mu bino byonna ye yali awuliriza kigambo Yezu kye yali amugamba.

Yezu kwe kuddamu Marita nti, Marita weeraliikirira, otawuka mu bingi! Naye ekitalekeka kiri kimu kyokka era Maria yakyerondedde era tekigenda kumuggyibwako!

Ky’ekigambo kya Katonda. Mu Vanjiri ya Yoana, tusoma nti mu kigambo ekyafuuka omuntu, Yezu Kristu byonna mwe byakolebwa.

Ate awalala tusoma nti baganda ba Yezu ne bakadde be si beebo abamuzaala oba be yazaalibwa nabo wabula abo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikwata, be bakadde ne baganda be.

Mu kigambo kya Katonda ekyafuuka omuntu mu Kristu ffenna tuli baaluganda era ekigambo ekyo mwe tusinziira okwagala bannaffe nga bwe tweyagala tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...

GEOFFREY LUTAAYA alaze byat...

GEOFFREY LUTAAYA Sisobola kuva mu kuyimba kuba kwe kunfudde Lutaaya ensi gw'emanyi naye olw'obuvunaanyizibwa kati...

Ebyakwasizza Dr Lulume mu k...

OMUBAKA wa Buikwe South eyaakalondebwa Dr. Lulume Bayiga n'abantu abalala mwenda baakwatiddwa poliisi y'e Nyenga...

'Siri mwangu buli ankubyeek...

EYAGAANYE okusasula ssente z'entambula bamutabukidde ne bamwambula ne bamutwala ku poliisi gye yeekoledde obusolo...

Ssaabasumba asabye Gavument...

SAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga awadde Pulezidenti Museveni amagezi okusoosowaza...