TOP

Musabire embeera eri ku nsalo ya Ugandsa ne Rwanda etereere

Added 6th March 2019

Omusumba Kaggwa alaze obweraliikirivu ku mbeera eri ku nsalo ya Uganda ne Rwanda n'asaba abantu okusaba wabeewo okukkaanya

Omusumba Kaggwa ng'asiiga Abakristu evvu

Omusumba Kaggwa ng'asiiga Abakristu evvu

Bya Phiona Nanyomo 

Omusumba w'Essaza ly'e Masaka, John Baptist Kaggwa alaze okutya olw'embeera eri ku nsalo ya Uganda ne Rwanda n'agamba nti eno evudde ku bantu abamu obutabeera benkanya, obutakwatagana n'ebirala bingi.

Omusumba asabye abakulembeze b'amawanga gombi Uganda ne Rwanda okutabagana baleme okussaawo empalana.

musumba aggwa ne bannaddiini abalala nga bateekateeka evvu lye baasiize bakristu mu mmisa e itovuOmusumba Kaggwa ne bannaddiini abalala nga bateekateeka evvu lye baasiize Abakristu mu mmisa e Kitovu

 

Omusumba agambye nti, mu kiseera kino abakulembeze bombi balina okutabagana n'ekigendererwa eky'okuzza omukwano wakati w'amawanga gombi.

Asinzidde mmisa gy'ayimbye ku Lutikko e Kitovu etandise ekisiibo n'akalaatira Abakristu okwewala ebikolwa ebitajjansa omuli okujaajaamya emibiri gyabwe naddala mu kiseera kino.

basisita nabantu abalala abaabadde mu mmisaAbasisita n'abantu abalala abaabadde mu mmisa

 

Agambye nti, Abakristu balina okuwa emibiri gyabwe ekitiibwa baleme kugikozesa ebyo ebitasanyusa Katonda. 

Asabye n'Abakristu okwegayirira Katonda mu kiseera kino kibasobozese okwezza obuggya.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Full Figure ne Balaam e Mbarara.

Full Figure atabaganye n'ab...

OMUYIMBI Jenniffer Fullfigure nga kati akola nga omuwabuzi wa pulezidenti Museveni asisinkanye abayimbi n'abavubuka...

Biden avuganya ne Trump.

Abalonzi obukadde 4 mu Amer...

OKULONDA kwa Amerika kuli mu katyabaga bannassaayansi bwe bagudde mu lukwe lw'amawanga bwe batalima kambugu nga...

Pulezidenti Museveni.

Twagala buwanguzi bwa Musev...

Omumyuka wa ssentebe wa NRM mu Buganda, Godfrey Kiwanda Ssuubi atongozza akakiiko akagenda okunoonyeza Pulezidenti...

Mukasa (ku kkono) nga y'akamala okwewandiisa.

Abeewagudde ne batabula eki...

ABATAAYITAMU mu kamyufu ka NRM n’abaalemwa okuyita mu kusunsula kwa NUP batabudde ekibalo mu kalulu k’ababaka ba...

Latif Ssebaggala nga yeewandiisa e Ntinda.

Latif Ssebaggala olumaze ok...

OMUBAKA Latif Ssebaggala olumaze okwewandiisa okuddamu okuvuganya ku kifo ky'omubaka wa Kawempe North n'awera....