TOP

Biibino by'olina okukola ng'onookyaza ku mazuukira

Added 18th April 2019

Ebintu by'otolinakwerabira ng'otegekera abagenyi bo ku mazuukira gano

 Abagenyi bo bategekere ebyokulya ebisikiriza

Abagenyi bo bategekere ebyokulya ebisikiriza

Bya Stella Naigino

Buli  mwaka Amazuukira gabeerawo era abantu abamu batambula ne famire zaabwe ne bakyalako era ng'ebiseera ebisinga abakyaza tebamanya kiki kye bayinza kwetaaga oba obuteetaaga.

Wabula ggwe asuubira abagenyi manya bino kubanga ojja kubyetaaga.

 nnyumba giyooyoote erabike bulungi Ennyumba giyooyoote erabike bulungi

 

Funa ebintu ebinene ebinaakuyamba mu kufumba

Brenda Luyiga, omukugu mu by'okutegekera abantu abangi agamba nti okukyaza kitegeeza abantu abo okulya n'okunywa nga kikwetaagisa ebikozesebwa ebimala.

Agamba nti, nga tonnatuuka ku lunaku olwo, gula ebintu ng'amaseffuliya, by'ogabuliramu ebyokulya, ebijiiko, amanda, obutam,baala obusiimuula n'obusitula n'ebintu ebirala obutakaluubirizibwa.

Fumba emmere ensiike n'eya boyiro

Olumu abagenyi bo bayinza okubeera nga balina ebintu bye batalya era okwewala kino olina kufumba mmere ya bika bya njawulo.

sobola okukozesa obuwoowo obuwunyisa obulungi ennyumba obutundibwa mu maduukaOsobola okukozesa obuwoowo obuwunyisa obulungi ennyumba obutundibwa mu maduuka.

 

Tereeza ebisenge byo

Olumu abantu bakyala nga baakusulawo ennaku ezisukka mu lumu. Kino kijja kukwetaagisa okulongoosa era oteeketeeke abagenyi we banaasula. Gulayo ebintu ng'amasuuka, emifaliso, ettawulo bye banaakozesa.

Beera n'enteekateeka ey'engeri abagenyi bo we banaasanyusibwa 

Florence Wagaba, agamba nti abantu ebiseera ebisinga bakyala nga bagenze kusanyuka ne bannaabwe era nga ggwe abakyazizza olina okuyiiya engeri gy'onoobasanyusa.

 bibala tebisaana kubulawo ngokyazizza abagenyi naddala ebisala omukkuto Ebibala tebisaana kubulawo ng'okyazizza abagenyi naddala ebisala omukkuto

 

Okutegeka obulungi, olina okumanya ki omugenyi akukyalira ky'anyumira olwo osobole okuteekayo ekyo kyennyini. Bw'aba ayagala okulaba firimu, gulayo z'olaba nga zinaamusanyusa.

Ebibala n'emmere eya langi esanyusa abagenyi

Ebibala birina omugaso munene era ng'omuntu tasaanye kubyerabira ng'ategekera abagenyi be ku mazuukira gano.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....