TOP

Bannaddiini basabiddwa bongere ku njiri enyweza amaka

Added 6th May 2019

Bannaddiini mwongere okubuulira enjiri enyweza amaka agasusse okusasika.

 Bannaddiini abakulembeddwa ba Bishop abaawummula okuli Bishop Jackson Matovu ne Bishop Keefa Kamya  nga basaba ku malaalo g'omugenzi Nnaalongo Kasibante

Bannaddiini abakulembeddwa ba Bishop abaawummula okuli Bishop Jackson Matovu ne Bishop Keefa Kamya nga basaba ku malaalo g'omugenzi Nnaalongo Kasibante

Bya Madinah Sebyala

Oweekitiibwa Nelson Ssengendo Walusimbi, omuwi w'amagezi eri Kabaka ku nsonga z'ennono mu Lubiri asabye bannaddiini okwongera ku njiri y'okunyweza amaka g'agamba nti, geeyongedde okusasika.

Yagambye nti, amaka kikulu mu bulamu bw'omuntu nga y'ensibuko y'omukisa kyokka bannaddiini tebakoze kimala kulaba nti, amaka gayimirirawo mu ssanyu olwa bannannyini go okuva ku buwangwa n'ennono.

Oweekitibwa Ssengendo yagambye nti, yeewuunya, bannaddiini okubuulira enjiri nga n'amakanisa gameruka buli lukya kyokka ate amaka ne gongera okusasika n'asaba bannaddini bongere okunnyikiza ennono z'abantu be bakulembera baleme kufuula nnono bintu bya sitaani. Yawadde eky'okulabirako ky'olujjuliro, ekyoto, effumbiro nti bino byakola kinene okunyweza amaka kubanga bitendeka omuntu n'afuna ensonyi n'obuntubulamu.

Yabadde mu maka ga Mulongo Wasswa Drake e Kira - Butenga mu Munisipaali y'e Kira mu Disitulikiti y'e Wakiso bwe yabadde mu lumbe lw'omugenzi Eumeri Nakuya Kasibante Nnaalongo ku Lwomukaaga oluwedde.

Ate bannaddiini nabo abaakulembedde okusabira omugenzi n'okusabira omusika Gertrude Nansimbi abaakulembeddwa Bishop eyawummula eyali owa West Buganda Rt. Rev. Emeritus Jackson Matovu  ne munne  Rt. Rev. Bishop  Emeritus Dr. Samuel Keefa Kamya baakubirizza abakyala okuzaala abaana babayonse, babagunjule, babasomese n'okubateekateeka basobole okubagasa n'eggwanga.

Bishop Matovu, era yakubirizza abaana okusabiranga emyoyo gy'abagenzi bongere okufuna ekiwummulo eky'emirembe.

Mutabani w'omugenzi, Nathan Kaggwa era nga ye mutongole w'e Kira yatenderezza omugenzi Nnaalongo Kasibante okubeera omukazi omuzira bwe yasobola okuzaala abaana 16 n'abasomesa ate n'abateekateeka bulungi ekibasobozesezza okutambula obulungi mu nsi n'asaba Mukama amuwe ekiwummulo eky'emirembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....