TOP
  • Home
  • Bukedde Ku Ssande
  • Omusumba Kaggwa akukkulumidde bannabyabufuzi b'e Masaka olw'okubalemesa enkulaakulana

Omusumba Kaggwa akukkulumidde bannabyabufuzi b'e Masaka olw'okubalemesa enkulaakulana

Added 1st July 2019

Omusumba Kaggwa akukkulumidde bannabyabufuzi abava mu kitundu ky'e Masaka obutakikulaakulanya

 Omusumba JB Kaggwa n'abakulembeze b'abavubuka abaamukyalidde e Masaka

Omusumba JB Kaggwa n'abakulembeze b'abavubuka abaamukyalidde e Masaka

Bya Phiona Nanyomo

Akuuma entebe y'obusumba bw'Essaza ly'e Masaka, Omusumba John Baptist Kaggwa akukkulumidde abakulembeze mu kitundu kino olw'okwerowoozangako bokka ky'agambye nti kibalemesezza okufuna enkulaakulana ey'amaanyi.

Omusumba Kaggwa yabadde asisinkanye abavubuka b'Essaza ly'e Masaka nga bamwebaza ebirungi by'abakoledde ebbanga ly'amaze ng'abakulembera. Agamba nti, abakulembeze mu kitundu kino buli omu alowooza bubwe mu kifo ky'okulowooleza mu kukulaakulanya ekitundu era nga wano we yasinzidde n'asaba abavubuka okwenyigira mu bukulembeze bwa Klezia n'obw'eggwanga nga be bajja okuyambako okumalawo enkaayana zino.

Yasabye abavubuka okwettanira okulima nti kubanga emirimu gye baasomerera tegiriiyo nga enkumbi yokka y'ejja okubabbulula.

Abavubuka okugenda ew'omusumba baategeezezza nga bwe bamaze okubaga ekiwandiiko kye bagenda okukwasa Pulezidenti Museveni ng'azze ku mukolo ogw'okutuuza omusumba omuggya Msgr. Serverus Jjumba nga baagala abayambe basseewo ettendekero erigenda okubbulwamu omusumba Kaggwa olw'okumujjukira ebirungi by'akoze.

Rev. Fr. Deus Ssekabira, akulira abavubuka mu Ssaza ly'e Masaka yategeezezza omusumba nga bw'agezezzaako okugatta abavubuka bonna nga tasosodde mu ddiini era nga mu nsisinkano eno n'Abasiraamu baabaddemu.

Ssaabakristu w'Essaza ly'e Masaka, Dick Muwanga yeebazizza omusumba olw'obukulembeze bw'abawadde emyaka gyonna era n'asaba abavubuka okwenyigira mu bukulembeze bw'eggwanga n'Eklezia.

Abavubuka baatonedde Omusumba ebirabo eby'enjawulo nga ne Gen. David Muhoozi yatonedde Omusumba obukadde butaano ng'amusiima olw'okubakumaakuma ng'abakuumaddembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....