TOP

Dr.T akubye abalokole emiziki katono bamenye entebe

Added 1st July 2019

Dr.T olumaze okukuba abalokole emiziki n'asaba omukisa okuva ewa musumba munne Jeremiah Ssebakijje

 Travis Kazibwe ng'ayimba n'abawagizi be

Travis Kazibwe ng'ayimba n'abawagizi be

Bya Paul Kakande

Travis Kazibwe amanyiddwa nga Dr. T eyabadde anekedde mu kkooti emmyufu, yalinnye ku siteegi ku ssaawa 3:30 ez'ekiro n'atandika okukuba abantu omuziki gwa Yesu. Abantu olwamulabye ne basaanuuka mu kukuba emizira awo naye n'asumulula omuziki ogwasitudde buli eyabadde atudde mu katebe ne beerabira nti baabadde bali mu kkanisa.

Bino byabadde ku kkanisa ya World Answer's Church International e Masajja B mu munisipaali y'e Makindye - Ssaabagabo bwe baabadde bajaguza emyaka 17 bukya ekkanisa eno etandikibwawo omusumba w'Abalokole Nabbi Jeremiah Sebakijje.

Dr. T yayimbye ennyimba ze zonna ezitendereza Mukama okuli: Mukama nkusaba mpa oluyimba n'endala era olwamalirizza n'agenda awaabadde musumba munne Nabbi Sebakijje n'afukamira okumusaba omukisa era Nabbi Sebakijje ne mukazi we bombi ne bamuwa omukisa.

 r  ngasaba omusumba sebakijje  omukisa oluvannyuma lwokuyimba Dr. T ng'asaba omusumba Sebakijje omukisa oluvannyuma lw'okuyimba

 

Ebikujjuko bino byabadde ku mulamwa ogugamba nti, "Toluubirira kitono yaayaanira ekisingawo".

Omusumba Sebakijje mu kubuulira yagambye nti, obutagumiikiriza obulli mu bavubuka bwe bubaviiriddeko okubeera nga bafuna kitono mu bye bakola era babakubiriza okwewala okupapirira mu buli kye bakola.

Sebakijje yagambye nti, ensangi zino abavubuka tebaagala kukola naye kino n'akissa ku bazadde ababakuza obubi ng'agamba nti, engeri bo abazadde gye baakuzibwa ate bo si gye bakuzizzaamu abaana baabwe. "Abaana bammwe mubakotoggedde, emirimu bazadde bammwe gye babayigiriza ate mmwe temwagala kugiyigiriza baana bammwe".

Sebakijje yakubirizza abalokole okukola ate n'okuyigiriza abaana baabwe emirimu gye bakola kubanga be balina okugisikira nga bafudde.

Ku mukolo guno kwetabyeko n'abayimbi b'abalokole abalala okuli Levixon, Exodus n'abalala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...