TOP

Abayizi abasoba mu 300 bamalirizza emisomo gy'eddiini

Added 29th July 2019

Abayizi abasoba mu 300 bafunye Essakalamentu lya Ukalisitiya ne bajaganya

 Abayizi nga basala keeki eyagabuddwa abagole ba Yesu abaasembedde

Abayizi nga basala keeki eyagabuddwa abagole ba Yesu abaasembedde

Bya Madinah Sebyala

Amyuka bwanamukulu w'ekigo ky'e Namilyango, Rev. Fr. Godfrey Mboowa awadde omukisa era n'akakasa abayizi 300 ku misomo gy'eddiini.  

Fr. Godfrey Mboowa, eyakulembedde mmisa yayigirizza abayizi okugoberera ennono y'eddiini y'Obukatoliki.

Yasabye abazadde okuyamba ku baana nga babawa eby'okulabirako ebirungi omuli; okusaba, okusembera, okwambala obulungi n'okweyisa mu ngeri yonna esanyusa Katonda kye yagambye nti, kye kijja okubaziyiza obutataayaaya mu buli ddiini ebasala mu maaso kye yagambye nti, kye kisinze okwonoona eggwanga. 

 r boowa eyayigirizza mu mmisa Fr. Godfrey Mboowa eyayigirizza mu mmisa

 

Yabadde mu Kleziya y'e Namilyango ku mukolo abayizi abasoba mu 300 mwe baafunidde essaakalamentu lya Ukalisitiya ku Ssande oluvannyuma ne bagabulwa.

Omukulu w'essomero lino, Sr. Immaculate Nabukalu yasabye abazadde okukuuma abaana n'okubalondoola okussa mu nkola bye basomye mu ddiini kibayambe okunywerera mu Katonda basobole okumuweereza obulungi nga beewala okukola ebimunyiiza.

Abayizi baavudde ku ssomero lya Namilyango Junior Boys School ne St. Peters Clever P/S.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...

Minisita Namisango Kamya ng’atuuse mu kkanisa awakumiddwa olumbe.

Beti Kamya atuusizza obubak...

Minisita w'ebyettaka Beti Olive Namisango Kamya agenze ku kkanisa ya Abizzaayo e Kawaala n'atuusa obubaka bwa gavumenti...

 Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.

Poliisi eremesezza aba fami...

POLIISI eremesezza aba ffamire ya Pasita Augustine Yiga Abizzaayo okusuza omulambo gwe ku kkanisa eya Christian...