TOP

Abalokole bajaguza emyaka 25 egy'ekkanisa

Added 14th August 2019

Omusumba Ssenfuma ajaguzza emyaka 25 egy'ekkanisa ye n'okuweebwa ekitiibwa ky'obwadokita n'awa obukodyo bw'okuwangula mu bulamu

 Pr. Ssenfuma ne mukyala we Favour mu lukiiko lwa bannamawulire

Pr. Ssenfuma ne mukyala we Favour mu lukiiko lwa bannamawulire

Bya Norah Mutesi                 

Ekkanisa y'Abalokole eya United Christian Center (UCC) e Kasubi egyaguzza emyaka 25 okuva lwe yatandika mu 1993.

Ng'ayogera ne bannamawulire ku kkanisa eno, omusumba Steven Ssenfuma agikulembera yagambye nti, kyamuwendo okulaba ng'ekkanisa egyaguza emyaka 25, kubanga Mukama gy'abaggye wala.

"Ebenezar, Mukama gy'atuggye wala, era ne gye tugenda wala," Ssenfuma bwe yagambye.

Yayongeddeko nti, emyaka 25 emabega ekifo ekkanisa kw'etudde kyayitibwanga mpuku y'ababbi, abatemu, n'okukwatirawo abakazi, naye leero kifo ekisinzibwamu.

Okwo yagasseeko nti, abantu abaakolanga ebyambyone kati baalokoka era tebakyabikola, wabula baweereza Mukama.

 r senfuma mu kyamblo kyobwadokita ekitiibwa ekyamuweebwa ead hristian niversity mu merika Pr Ssenfuma mu kyamblo ky'obwadokita ekitiibwa ekyamuweebwa Lead Impact University mu Amerika

 

Conard Sande, addukanya ekkanisa yagambye nti ye yali tasobola kusoma Bayibuli n'agimalako naye okuva lwe yeegatta ku UCC, asobola okugisoma okuva ku lubereberye okutuuka gy'esemba.

Wabula omusumba Ssenfuma yasabye Gavumenti okubakolera ku mwala oguli okumpi n'ekkanisa, kubanga gubawunyirira nga bali mu kusaba.

Yagasseeko nti, mu myaka 25 egiddako ekkanisa eruubirira okubuulira enjiri mu Uganda n'ebweru waayo.

Mu kujaguza kwe kumu, omusumba Ssenfuma kwe yagyagulizza amatikkira ge bwe yaweebwa obwadokita obutali busomerere mu ttendekero lya Lead Impact esangibwa mu Amerika.

 r senfuma ngawa abagoberezi be obukodyo bwokuwangula mu bulamu Pr. Ssenfuma ng'awa abagoberezi be obukodyo bw'okuwangula mu bulamu

 

Isaac Kituuka, eyakiikiridde cansala wa Lead Impact University yagambye nti obukkakkamu bwa Ssenfuma buleetedde abantu bangi okukyuka, era Ssenfuma bukya atandika okubuulira ekigambo, ye takikyusanga oba okukyongeramu.

Kituuka era yagasseeko nti, ebyo bye bimu ku bintu bye batunuulira ssinga omuntu baba banaamuwa ekitiibwa eky'obwadokita.

Ssenfuma yeebazizza mukyala we, Favour Ssenfuma olw'okumusumba obulungi n'okumuyamba okufuuka kyali leero.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...

Minisita Namisango Kamya ng’atuuse mu kkanisa awakumiddwa olumbe.

Beti Kamya atuusizza obubak...

Minisita w'ebyettaka Beti Olive Namisango Kamya agenze ku kkanisa ya Abizzaayo e Kawaala n'atuusa obubaka bwa gavumenti...

 Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.

Poliisi eremesezza aba fami...

POLIISI eremesezza aba ffamire ya Pasita Augustine Yiga Abizzaayo okusuza omulambo gwe ku kkanisa eya Christian...