TOP

Okusiigibwa amafuta si kulongoosa mubiri wabula n'omutima

Added 23rd December 2019

Abakristaayo bakubiriziddwa okulongoosa emitima gyabwe batumbula obwakatonda mu byonna bye bakola

Omusumba Henry Lukyamuzi ng'asiiga abamu ku bazze mu kkanisa amafuta

Omusumba Henry Lukyamuzi ng'asiiga abamu ku bazze mu kkanisa amafuta

Bya Lilian Nalubega

Abakristaayo mu kkanisa y'omutukuvu Steven e Kabowa basiigiddwa amafuta okulongoosa emibiri gyabwe balindirire okwaniriza Kristo ku mazaalibwa ge nga basaanidde.

Omusumba w'ekkanisa eno, Henry Lukyamuzi ye yakoze omukolo guno mu kusaba okw'akawungeezi n'agamba nti, Abakristaayo balina okwerongoosa okuviira ddala ku mibiri gyabwe n'emitima bwe baba baakwaniriza omwana mu kitiibwa.

"Amafuta si kwesiiga kunyereketa oba kutukula n'okulabika obulungi wabula kabonero ak'oku ngulu akooleka obumalirivu bw'oyo agasiigiddwa okukyuka afuuke omuntu omulungi eyeesiga Katonda we era akola ebituukiridde," Omusumba Lukyamuzi bwe yagambye.

 bamu ku baana nabantu abaabadde mu kusaba ne basiigibwa amafuta Abamu ku baana n'abantu abakulu abaabadde mu kusaba ne basiigibwa amafuta

 

Abakristaayo bangi omwabadde abaana n'abantu abakulu baasiigiddwa amafuta era nga omubuulizi Ernest Nekambuuza eyabadde omubuulizi w'olunaku abantu yabakubirizza okuva mu nsenyi basomoke emigga olwo babeere abantu abasaanidde eri Katonda.

"Ensenyi si bifo bye mumanyi ebitaliimu mazzi era ebijjudde omusenyu wabula by'ebikolwa ebitali bya bwakatonda ebibambadde nammwe bye mwenyigiramu okukola nga bino musaana okubireka.

Omuntu alina Katonda emize egy'obulogo, okweraguza, obubbi okukuba abakazi n'okuyisa obubi abalala taba nagyo," Nekambuuza bwe yagambye.

Yasabye abakkiriza nti, nga baaniriza Kristo bavvuunuke ensenyi enkalu Katonda ajja kubatemera ekkubo mu mugga  olwo bavvuunuke obuzibu bwe bayitamu obubakoza ebitagwanidde.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Maradona ng'azannyisa omupiira.

Diego Maradona yaani?

MARADONA Y'ANI Ye mwana owookutaano mu ffamire y'abaana 8. Yazaalibwa ku kyalo Lanus nga mayiro 25 okuva mu...

Ebijuujulu nga binywegera Maradona.

Lwaki Maradona mu Napoli gy...

BAALI BAMUYAAYAANIRA; Yeegatta ku Boca Juniors kyokka okusobola okubeezaawo kiraabu eno, aba Boca Juniors baalina...

Lutaaya Mukomazi

Minisita wa Kabaka eyafudde...

Edward William Lutaaya Mukomazi, eyaliko minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku byobulimi, ebibira n'obutonde bw'ensi...

Dr. Bbosa owa Ebonies

Bannange nkyali sitede sinn...

Munnakatemba omututumufu Sam Bagenda amanyiddwa nga Dr. Bbosa owa Ebonies avuddeyo n'asambajja ebigambibwa nti...

Munnamateeka Nalukoola

Looya avuddeyo n'awagira N...

Munnamateeka Erias Luyimbazi Nalukoola avuddeyo n'awagira Magie Kayima (Nabbi Omukazi) okusaba obukadde obusoba...