
Pr. Mukisa ng'aliko by'annyonnyola
Bya Peace Navvuga
Abakkiriza nga beejaga okugenda okuyingira omwaka 2020 nga bayita mu kusaba ebifo eby'enjawulo bitegese okulaba ng'abantu bafuna ekyo kye beetaaga.

Omusumba w'Abalokole, Pr. David Mukisa owa Tripple Blessing Church ategese okusaba okw'okumalako omwaka bino abyogeredde ku kkanisa ye e Namulanda ku lw'e Ntebbe.
Enteekateeka zigenda mu maaso omuli okuwanika ekituuti, amataala ssaako obutebe. Yakunze Abalokole n'abatali okujja mu kwebaza omutonzi n'okusabira eggwanga.