TOP

Mwezze buggya mu bikolwa ne Yesu azaaliddwa

Added 31st December 2019

Abakristaayo abaagala okufuna omukisa ogutalina buyinike baweereddwa amagezi bazze buggya ebikolwa byabwe

 Abakristaayo b'oku St. Stephen Kabowa mu kusaba

Abakristaayo b'oku St. Stephen Kabowa mu kusaba

Bya Lilian Nalubega

Abakristaayo mu busumba bw'e Kabowa bakubiriziddwa okukozesa omukisa gw'okuggya kw'omwana Yesu bezze buggya mu bikolwa n'okukkiriza balyoke bafune omukisa ogutalina buyinike n'okwetemera ekkubo erinaabatuusa mu Ggulu.

 musumba enry ukyamuzi ngabuulira Omusumba Henry Lukyamuzi ng'abuulira

 

Omusumba w'ekkanisa eno, Henry Lukyamuzi bwe yabaadde abuulira mu kusaba ku kkanisa y'omutukuvu Steven e Kabowa yagambye nti, Yesu yazaalibwa okununula abalina ebibi era nga ye kirabo okuva ewa Katonda eri abantu be.

"Noolwekyo ky'ekiseera okwekebera mwambale ebyambalo ebitukula. Kubanga Katonda yatwagala kye yava atuwa omwana we buli amukkiriza aleme okubula wabula afune obulamu obutaggwawo," Omusumba Lukyamuzi bwe yagambye.

Abantu yabakubirizza okukomya emize egy'obubbi, okutugumbula n'okutemula bannaabwe, enkwe, obulyake obuli bw'enguzi n'ebirala nti, kubanga bino bikontana n'ebigendererwa by'okuzaalibwa kwa Kristo.

 kwaaya ya t tephen abowa nga bayimba mu kusaba Kkwaaya ya St. Stephen Kabowa nga bayimba mu kusaba

 

Omwaka gwe mukomekkereza mugulekere ebyo byonna ebibadde bibasibye muyingire omuggya nga muli baggya olwo mutuuke ku buwanguzi bw'ebyetaago by'emitima gyammwe.

Lukyamuzi bwe yakkaatirizza n'abakubiriza omwaka 2020 okuguyingira mu kkanisa era nga bategese okusaba okw'okuyita mu kiro ekya December 31 (leero) nga beebaza Katonda okubawanguza omukadde ate n'okubayingiza omuggya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...