TOP

Mutuukirize obweyamo bwe mukola

Added 7th January 2020

Abakristaayo bakubiriziddwa okutuukiriza obweyamo bwe bakola nga ne Katonda lw'anaabaanukula

 Omusumba Lukyamuzi ng'ayigiriza ku Ssande ku kkanisa ya St. Steven Kabowa

Omusumba Lukyamuzi ng'ayigiriza ku Ssande ku kkanisa ya St. Steven Kabowa

Bya Lilian Nalubega

Omusumba w'ekkanisa y'omutukuvu Steven e Kabowa, Henry Lukyamuzi abuuliridde Abakristaayo ku bweyamo bwe bakola ne Katonda waabwe nti, balina okukakasa nti baakubutuukiriza ng'omwaka tegunnaggwaako.

 bbaluwa okuli obweyamo Ebbaluwa okuli obweyamo

 

Omusumba Lukyamuzi bwe yabadde abuulira mu kusaba ku Ssande yagambye nti, omwaka ke gutandise buli muntu asaana yeekebere yekkaanye n'omutima gwe ku ekyo ky'asobola ky'aba yeeyama mu kkanisa nga kino kitambulira ku nnamba ye ey'obweyamo buli Ssande.

"Omwaka bwe guggwaako omuntu oddamu buto okweyama eri Katonda wo, kyokka mulina okuyiga engeri ey'okumusikirizaamu naye asobole okubawa bye mwagala," Omusumba Lukyamuzi bwe yagambye. Yategeezezza nti, ng'oyagala Katonda akukolere olina okumulaga engeri gy'oggya naawe okumuddizaamu.

"Abantu mumanyi okweyama kyokka ne mutatuukiriza eri Katonda, ogwo guba musango kyokka era kyewuunyisa abantu abamu okuva lwe yafuna nnamba y'obweyamo emyaka ena emabega n'atandika okweyama omuwendo gwe yatandikirako buli mwaka gw'addamu okweyama. Kye mugamba Katonda tabakolera kusinga we mwatandikira?" Lukyamuzi bwe yababuuzizza.

 kwaaya ngetendereza mu kusaba ku sande Kkwaaya ng'etendereza mu kusaba ku Ssande

 

Abakristaayo baaweereddwa foomu okujjuzaamu obweyamo bwabwe nga zino ze zigenda okujjuzibwa ku bukonge bwabwe era ng'ensimbi ezikung'aanyizibwa ziba za kutambuza mulimu gwa Katonda mu kkanisa ya Uganda.

Omusumba Lukyamuzi n'omukyala baasiibudde abagoberezi nga bagenda mu ggwanga lya South Afrika okwongera okunnyikiza obuweereza bwabwe ate nga mu kiseera kye kimu n'omubuulizi w'ekkanisa eno, Earnest Nekambuuza n'omukyala bagenda mu Kenya okwongera okusomesebwa bazze buggya obuweereza bwabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...