TOP

Mukomye okuwankawanka munyweze kye mulina

Added 7th January 2020

Abakristaayo bakubiriziddwa okwewala okuwankawanka nga banoonya obugagga

 Rev. Festus Kasujja ng'abuulira mu kusaba

Rev. Festus Kasujja ng'abuulira mu kusaba

Bya Lilian Nalubega 

Omusumba w'e Kibibi, Rev. Festus Kasujja akalaatidde Abakristaayo okunyweza bye balina baleme kuwankawanka n'ebyo bye balaba nga si byabwe.

 agugube nga yeebaza abakulembedde okusaba nabamu ku bafamire ye Kagugube nga yeebaza abakulembedde okusaba n'abamu ku bafamire ye

 

Omusumba yabadde mu kusaba okwenjawulo okwabadde mu maka ga John Kagugube ku kyalo Kigatto mu Busumba bw'e Kibibi mu bulabirizi bwa Central Buganda n'agamba nti, kikulu omuntu okumatira ne ky'alina ate n'okukozesa amaanyi ge okutuuka kw'ekyo ky'aluubirira.

 bamu ku bakristaayo abeetabye mu kusaba ewa agugube mu igatto Abamu ku bakristaayo abeetabye mu kusaba ewa Kagugube mu Kigatto

 

"Oli yakwata ekinyonyi ne kimugamba nti, ng'enda kukubuulira ebintu bisatu, nga ekisooka; ky'olina tokita, beera mumalirivu, ate ekyokusatu mala kunta nkikugambe naye n'akita. Ekyaddirira n'ata ekinyonyi ne kimugamba nti, nze omubiri gwange gulimu ebyobugagga bingi era y'ensonga lwaki nakugambye nti, ky'olina tokita," Omusumba Kasujja bwe yabuulidde. 

Yasabye abantu omwaka gwa 2020, okugukozesa okutuuka ku biruubirirwa byabwe nga banyweza ebyo bye bafunye mu mukadde. Abavubuka yabakalaatidde okuba abeegendereza naddala mu kiseera kino nga kazigizigi w'ebyobufuzi asembera n'abawa amagezi okwenyigira mu bibakwatako ate era bafeeyo okunyweza obululu bwabwe babusuule mu kiseera ekituufu.

 ukyala agugube nga yeebaza abakulembeze beddiini abaasabisizza nabakristaayo abazze mu kusaba mu maka gaabwe mu igatto Mukyala Kagugube nga yeebaza abakulembeze b'eddiini abaasabisizza n'abakristaayo abazze mu kusaba mu maka gaabwe mu Kigatto

 

John Kagugube, nnannyini maka awaabadde okusaba kuno yategeezezza nti, kiba kya makulu abantu okutenderezanga Katonda buli lwe babeeranga n'omukisa okumalako omwaka ate n'okuyingira omuggya era n'asaba abantu okumwekwata kubanga tayiwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Maradona ng'azannyisa omupiira.

Diego Maradona yaani?

MARADONA Y'ANI Ye mwana owookutaano mu ffamire y'abaana 8. Yazaalibwa ku kyalo Lanus nga mayiro 25 okuva mu...

Ebijuujulu nga binywegera Maradona.

Lwaki Maradona mu Napoli gy...

BAALI BAMUYAAYAANIRA; Yeegatta ku Boca Juniors kyokka okusobola okubeezaawo kiraabu eno, aba Boca Juniors baalina...

Lutaaya Mukomazi

Minisita wa Kabaka eyafudde...

Edward William Lutaaya Mukomazi, eyaliko minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku byobulimi, ebibira n'obutonde bw'ensi...

Dr. Bbosa owa Ebonies

Bannange nkyali sitede sinn...

Munnakatemba omututumufu Sam Bagenda amanyiddwa nga Dr. Bbosa owa Ebonies avuddeyo n'asambajja ebigambibwa nti...

Munnamateeka Nalukoola

Looya avuddeyo n'awagira N...

Munnamateeka Erias Luyimbazi Nalukoola avuddeyo n'awagira Magie Kayima (Nabbi Omukazi) okusaba obukadde obusoba...