TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Amakubo 8 Allah g'alagira okuyitamu okufuna obugagga

Amakubo 8 Allah g'alagira okuyitamu okufuna obugagga

Added 10th October 2014

TERI ku nsi kuno muntu atayagala kuba bulungi n'ab'omu maka ge, n'olwekyo buli omu atakabana asobole okubeerako obulungi mu byenfuna oba riziki.

Bya MUSA  SSEMWANGA 

TERI ku nsi kuno muntu atayagala kuba bulungi n'ab'omu maka ge, n'olwekyo buli omu atakabana asobole okubeerako obulungi mu byenfuna oba riziki. 

Bino byonna Allah yabiraba era n'abisomesa ng'ayita mu Nabbi Muhammad (S.A.W) eyasomesa amakubo omuntu mw'ayinza okuyita n'afuna ssente oba riziki. 

Sheikh Hussein Lwanga, Imaam wa Masjid Jamea e Luyinja - Namungoona agamba nti  ebisumuluzo bingi eby'okufuna ssente wabula Omusiraamu yenna yandikutte bino: 

1 Okwegayirira ennyo n'okwenenyeza Allah: Wano tuukiriza ebintu bisatu omuli: okuva ku kyonoono ky'oyagala okusonyiyibwa, okwejjusa n'omanya nti obadde mu nsobi n'okumalirira obutakiddira. Allah akusonyiwa n'ayinjiwaza emmaali yo. Soma Aya 10 - 12, Surat Nooh.  

2 Okutya Allah: Omuntu bw'atya Allah n'akola by'ayagala ne yeewala okukola Allah by'atayagala.Allah tayinza kumuvaamu na kumulekera, wabula y'abeera omumalirizi w'ebizibu bye. Soma Surat Al-Araaf Aya 96. 

3 Okwesigamira Allah: Kino kitegeeza kumanya nti buli kyonna ky'olaba ne ky'otolaba kiriwo ku lwa Allah. Soma Surat Ttwalaaq Aya 3.

4 Okutebenkera ng'osinza Allah. Omusiraamu bw'aba alina omulimu gwonna ogw'eddiini gw'akola, ateekeddwa okussaayo ebirowoozo bye ng'agikola nga Nabbi Muhammad (S.A.W) bwe yagamba kuba gwe mulimu Allah gw'asinga okwagala. 

Mu Hadith entuufu mu makulu gaayo Allah agamba nti, "Owange ggwe omuntu tebenkeza ebirowoozo byo ng'onsinza nja kujjuza omutima gwo obugagga, era nja kujjuza emikono gyo riziki. 

5 Okuyunga oluganda. Nabbi Muhammad (S.A.W) yagamba nti, "Omuntu yenna gwe kisanyusa ng'ayagala Allah ayinjiwaze emmaali ye n'okwongerako ku buwangaazi bwe, ayunge oluganda lwe".

6 Okuwaayo mu kkubo lya Allah.Okuwaayo ku lw'eddiini ng'okuwa eri abanaku, abali mu buzibu oba okuwaayo olw'okuyamba ekintu kyonna nga kizimba eddiini y'Obusiraamu kisanyusa nnyo Allah. Era Nabbi Muhammad (S.A.W) mu Hadith emu yagamba nti, "Owange ggwe omuntu, waayo ku lwanga nange nja kukuwa".

7 Okuyamba omuntu agenda okuyiga eddiini oba omupya mu ddiini. Teri mulimu gusinga bulungi na mpeera nga muntu kwewaayo n'asoma era n'atakabana okumanya omutonzi we. Omuntu afaanana bw'ati abeera ng'ali ku lutalo lw'eddiini era aba anoonya Jjana kuba singa ayiga n'akolera kw'ebyo by'ayize ate n'asomesa abalala ne bawona okuyingira omuliro, oyo Allah amwagala nnyo. N'olwekyo omuntu yenna amuyamba naddala ng'abadde afunye obuzibu bwonna Allah naye amugaziyiriza ebyenfuna.

8 Okuyamba n'okulongoosa eri abateesobola. Ebimu ku bintu ebigaziya ebyenfuna by'Omusiraamu kwe kuyamba omuntu ateesobola ng'omulema, muzibe, kiggala, omukadde n'omulwadde. 

Amakubo 8 Allah g''alagira okuyitamu okufuna obugagga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...