TOP

Okugaba y'ensibuko y'okukuuma obugagga

Added 24th October 2014

BW'OBA obadde mukodo kimanye nti wanditta emikisa gyo n'ebyenfuna byo okukosebwa.

BW'OBA obadde mukodo kimanye nti wanditta emikisa gyo n'ebyenfuna byo okukosebwa.

Omuntu yenna anaayongera ku rizik ye aba amanyi eky'okukola ng'agoberera n'ebyasomesebwa Nabbi Muhammad
(S.A.W).

Rizik kubeera kugabirira kuva wa Allah nga bayinza okubeera abaana, emmere, ebyambalo, amaka oba ssente.
Buli omu Allah yamutegekera rizik yiye era tewali afuna kya munne. Sheikh Faiswah Hussein Matovu agamba nti, Nabbi
Muhammad yannyonnyola ebisumuluzo bya rizik okuli:

1 Okutya Allah, kino kisangibwa mu Kulaani Surat 65:2 "Oyo yenna atya Allah, Allah amugabirira ne mu makubo g'abeera tasuubira kufuna n'alabira bulabizi awo".

2 Yitiriza okwenenya ng'oyagala rizik yo okweyongera, Surat 71:1-4, "Katonda agamba nti, munsabe okubasonyiwa, bwemuba
mukikoze nja kubawa enkuba ey'olubeerera mbawe omudidi gw'emmaali abaana abalongoofu n'amalimiro agajjudde
ebibala".

3 Muyitirize okugaba. Surat Bakhara 2:263 "Ani agaba olugaba olulungi mwongeremu mukubisizeemu bufukunya?".

4 Munywerere ku mazima. Kino kya bugagga kinene nnyo era bw'okuyitiriza Allah akuggulirawo amakubo g'ebyenfuna. Nabbi Muhammad (S.A.W) yagamba nti, buli muntu yaweebwa ekyobugagga naye abakikozesa obubi baseerera.

5 Muyitirize okusaba Katonda. "Allah agamba nti, munsabe kyonna kye mwagala nja kubawa" Surati Bakhara 2:186.
WEEWALE a Obulimba.

Nabbi Muhammad (S.A.W) agamba nti, mazima obulimba buluηηamya omuntu nga bumutwala mu bwavu. Era Nabbi Muhammad (S.A.W) ayongerako nti eddogo ly'obwavu bulimba.

Mu Surat ya Mulusalati eya 77 egamba, "Katonda yagamba nti okubonaabona wano ku nsi ne ku lunaku olw'enkomerero
kuli eri abo bonna abalimba.

Kino Katonda yakiddiηηana emirundi kkumi.  Weewale obulyazaamaanya, Nabbi Muhammad (S.A.W) yagamba nti Allah yeeziyizaako obulyazamaanya era n'abufuula nga buli haraam eri abaddu be.

N'olwekyo bw'olyazamaanya omuntu, Katonda asiba emikisa gyo. c Okwekuluntaza. Nabbi era yayogera ku muntu eyekuluntaza n'agamba nti omuntu ow'ekikula kino ali mu busungu bwa Allah. Kino kitegeeza nti emikisa gyo obeera ogiggalidde

Okugaba y''ensibuko y''okukuuma obugagga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...