TOP

Muweeyo eri Allah mulyoke mumusabe

Added 8th August 2019

Abasiraamu mutoole akatono ke mulina mu kusaddaaka mugaggawale ku lwa Allah

 Kadhi Kakande ng'aggulawo omuzikiti ku Kasawo SS

Kadhi Kakande ng'aggulawo omuzikiti ku Kasawo SS

Bya Hafswa Nankanja

Kadhi wa Mukono n'emiriraano, Abdu Noor Kakande akuutidde Abasiraamu okunyiikira okuwa saddaaka mu nnaku zino 10 ez'omukisa ez'omwezi gwa Dhul Hijja ze tulimu.

"Zino ennaku ze tulimu za kwenyagira mpeera na kwegayirira mungu ate buli ebikutte. Muweeyo eri Allah mulyoke mumusabe. Tosobola kusaba Allah kukuwa ate nga ggwe oli mukodo eri abalala," Kadhi Kakande bwe yagambye.

muzikiti ogwazimbiddwa nga bwe gufaanana Omuzikiti ogwazimbiddwa nga bwe gufaanana

 

Bino yabyogeredde ku ssomero lya Kasawo SS e Kyaggwe - Bugerere bwe yabadde aggulawo omuzikiti gw'essomero, Kasawo Masgid Musa, ogwazimbiddwa abamu ku bayizi abaasomerako mu ssomero eryo nga baakuliddwa Yahaya Kasujja.

Yagasseko nti, omuntu yenna ayagala okugaggawala tolina kusabiriza balala wabula, ggwe waayo akatono k'olina olwo Allah omusabe nga bw'omujuliza ye ajja kukutemera empenda. Saddaaka tetegeeza ssente zokka wabula ne mu bintu ebikalu ng'engoye, ebyokulya n'okulagira okukola emirimu emirungi.

Hajjati Hazida Nsubuga, omukulu w'essomero yasiimye era n'asaba abayizi okwongera okukolaganira awamu n'obukulembeze bw'essomero lino kiyambeko okwongera okulikulaakulanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bawewenyudde omukazi kibook...

Aikolu ne muto we abatuuze ababakubye kibooko nga baagala boogere ensonga ebatulugunyisa abaana batuuke n’okujjula...

Ab'e Nkozi badduukiridde eb...

Polof. Chrysostom Maviiri e Kankobe Senero mu muluka gw’e Nindye mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi n’asaba abavubuka...

 Minisita Kanyike e Namawojjolo ng’ali mu kulambula pulojekiti z’abalema mu Mukono.

Minisita Sarah Kanyike muny...

Minisita omubeezi ow’abakadde n’abalema mu ggwanga, Sarah Kanyike yalaze obutali bumativu olwa disitulikiti eziwerera...

OKUSIIGA ETTOSI: Akalombolo...

Ku makya ennyo, Abataka basatu okuva ku kyalo Bunanyuma mu ggombolola y’e Bushika mu disitulikiti y’e Buduuda...

Asula mu nnyumba y'emizigo ng'eno olina okuba omutetenkanya ennyo.

By'olina okukola okweyagali...

OKUNOONYEREZA kulaga nti abantu abasinga mu bibuga basula mu nnyumba ntono okugeraageranya ku famire ze balina....