TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ssanduuke ey'ebbeeyi okusinga ennyumba yo

Ssanduuke ey'ebbeeyi okusinga ennyumba yo

Added 24th November 2011

BULI agirabako ayogera kimu nti, ‘Ne bwe bakuziika era todda!’ Abalala ne babawakanya nti, ‘Naye era kale owummuliramu ne bakwogerako!’

Bya JOSEPHAT SSEGUYA

BULI agirabako ayogera kimu nti, ‘Ne bwe bakuziika era todda!’ Abalala ne babawakanya nti, ‘Naye era kale owummuliramu ne bakwogerako!’

Eno y’essaanduuke gye bakuziikamu n’obeera ng’ali mu goloofa. Bwe bagikussaamu oba ng’eyeebase, nti olinze kuzuukuka ofulume!

Bwe bagikuziikamu teyinza butalwanya babbi na basezi, anti eriko amajjolobero ag’amayinja ag’omuwendo.
Kwe kugamba nti nga tonnafa osooka n’olekawo ezinaasasula abakuuma entaana, anti bw’otokikola naawe tojja kumwummula mirembe, amalaalo go balina okugasimula okugibba!

Erimu ebyuma ebinnyogoza empewo, bw’ogiyingiramu nga biwunyiriza omuntu gwe bagitaddemu bw’ewulira nga tassa ng’emanya nti mufu ng’eteekako ebyuma by’obunnyogovu aleke kwonooneka.

Bw’ewulira ng’omuntu assa, era emuteerawo embeera y’omuntu omulamu, ke kawewo ak’ekigero ak’omuntu omulamu.

Etereka omufu okumala ebbanga lya myezi ebiri nga tawunya. Bagiyita ‘Royal dome casket’ ,  egula wakati wa bukadde 10 ne 12 nga kisinziira ku bigiriko.

Waliwo ey’endabirwamu eziseesebwa ebbali n’ebbali ng’emmotoka era ng’osobola okunyiga eppeesa ng’eryemmotoka ne zeeseesa zokka oba okukozesa limooti abantu ne batunula ku mufu.

Ezitowa kkiro 150 era okuziika etambulira ku bugaali obubeerako obupiira obukozesebwa okutwala omufu ku ntaana sso si bamulekwa kugisitula anti ebayinga obuzito.

Ekolerwa Japan mu kkampuni ya Siogu. Mu Kampala baazituusa wiiki ssatu eziyise nga ziri nnya zokka, wabula Abacongo n’Abasudani baatwalako emu, teri Munnayuganda yaagiziikiddwaamu!

Bazikola mu miti kyokka kungulu ne basibako olubaati oluliko olufuufu lwa zaabu olukulowoozesa nti yonna ya zaabu. Baawundirako obuntuntu obuli ng’obuzimu bwe bayita ‘dragon’ okutegeeza nti keesi ya mufu si ya bugole. Buno buli mu busonda obw’enjawulo.

LWANYAGA agamba nti bwe banaatandika okufuna akatale k’abalina ssente abasobola okuzigula, baazisasulako dda e Japan gye ziri, olwo bajja kulagiriza ndagirize nga zituuka. “Zifaananira ddala na zino eziri ku mmotoka.” Lwanyaga bwe yategeezezza.

Agamba nti singa omuntu aweza ssente obukadde 10 oba 12 bagireetera mu wiiki ssatu kyokka bw’aba agyagala mu bwangu bayinza okugiggya ku motoka ne bagimuguza.

Lwanyaga agamba nti ssanduuke eno ne bw’obeera ogiguze era ogitwalira ku mmotoka yaabwe sso si loole eyinza okugikubaakuba n’eyonooneka.

Yagasseeko nti okuziika ng’opangisa ssanduuke eno okutuusizaamu omuntu wo mu mayiro nga 100 okuva e Kamapala ziyinza kubeera nga 500,000/- oba 600,000/-
    
Ebyafaayo 

Kuva dda ng’abantu bangi baagala okuziika abaagalwa baabwe  mu ngeri eyenjawulo. Yezu Kristo yaziikibwa mu jjinja ery’omuwendo. Abamisiri baaziikanga Bakabaka baabwe mu ntaana eziri ng’ensozi.
 

Abaziikiddwa mu ssanduuke ez’ebbeeyi:

Michael Jackson: Sanduuke  eyitibwa The Promethean yagulibwa mu kkampuni ya Batesville Casket Co. mu ssaza ly’e Indiana mu Amerika era ng’eno ne MJ gye bamuzaala.

Sanduuke eno ey’ekikomo, eriko zaabu eyagisiigibwako wa kkiro 14. Omukutu gwa Wikipedia gugamba nti yagula doola 25,000.

Kyokka ssanduuke egambibwa okusinga ebbeeyi mu nsi yonna egula  doola 40,000, ekolebwa kkampuni ya Dragons den mu Amerika.

Mubaamu amataala agamulisa omufu

Erina amataala agakolera ku maanyi g’enjuba agamulisa omufu. Eriko w’oyinza okusiba amataala g’ebweru abantu abatudde mu luggya ne baba nga balaba bulungi ekiro kyonna.

Basibako ekitaala kya ambyulensi bw’eba etwalibwa mu kkubo n’eba ng’emulisa okulaga abantu nti waliwo akabi batere beesege.

Eriko obuuma obukka wansi ne bateekako omufu ne bumwambusa munda mu ssanduuke era onyiga ppeesa bw’oba oyagala omufu aveeyo obuuma ne bumufulumya.

Munda etemagana nga zaabu ne bukalifuwa obuteekebwamu buli kadde n’ewunya akawoowo mpozzi nga bw’olaba mmotoka ezimu.   

Yenkana n’omuzigo gw’enyumba ogw’ekisenge ekimu. Esobola okuzimbirwa ku mmotoka etwala abafu eya kabangali ate esobola okuzimbibwa yokka n’eziikibwamu omuntu kyokka entaana mw’aziikibwa ebeera ngazi nnyo ate nga mpanvu okusinga ezabulijjo kubanga keesi ezimu zirina ffuuti ttaano obugazi ne ffuuti 11 obuwanvu ate obugulumivu ezimu ziwezaako ffuuti mukaaga.

Aba kkampuni ekola ku by’abafu eya Victory Funeral Services esangibwa ewa Bakuli be bazituusa mu ggwanga. Eziriwo essaawa eno baazisibira ku kabangali mwe batwalira abafu era dayirekita wa kkampuni eno, Paul Lwanyaga agamba nti kino baakikola kubanga baazuula ng’abantu bangi baagala nnyo okuziikibwa n’okuziika abantu baabwe mu ssanduuke amatiribona wabula nga tebasobola ssente za ssanduuke zino.

Okugipangisa osasula 600,000/-

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...