TOP

‘Rwitabagomi’

Added 10th March 2010

Abakungubazi abamu baavudde ku ky’okusaasira abaabutikiddwa ettaka, ebirowoozo ne babimalira ku mmundu ya Pulezidenti gye yagenze nayo.

Emmundu eno ey’ekika kya AK47 ya byafaayo era abamanyi Museveni bagamba nti baatandika okumulaba nayo mu 1981 nga yaakesogga ensiko okulwanyisa Milto

Abakungubazi abamu baavudde ku ky’okusaasira abaabutikiddwa ettaka, ebirowoozo ne babimalira ku mmundu ya Pulezidenti gye yagenze nayo.

Emmundu eno ey’ekika kya AK47 ya byafaayo era abamanyi Museveni bagamba nti baatandika okumulaba nayo mu 1981 nga yaakesogga ensiko okulwanyisa Milton Obote. Yaakagikuumira emyaka egisukka 29 kyokka bw’ogiraba olowooza nti yaguliddwa ggulo.
Erabirirwa bulungi era kigambibwa nti abakuumi be bamanyi n’okugisiimuuza amafuta n’esiigibwako omuzigo ne bagimuwa n’agyeterekera. Nti bw’aba agenze ku lugendo oluwanvu, emmundu eyo atera okutambula nayo mu mmotoka kyokka ku mikolo egisinga tagireeta mu bantu.

Munnamagye Brig. Kasirye Ggwanga agamba nti: Emmundu eyo Pulezidenti aludde nayo. We twabeerera mu nsiko gye yakozesanga era agyagala nnyo ate agitegeera bulungi.

Brig. Kasirye ajjukira olunaku lwe yali ne Museveni mu kukuba ssabbaawa e Kaweeweeta mu 1993 era nti ne ku luno Museveni yakozesa mmundu eyo yennyini gye yagenze nayo e Bududa. Olunaku olwo, Kasirye alwogerako bw’ati:

Twali twegezaamu mu kukuba ssabbaawa. Nze omu ku baali basunsuddwa okwetaba mu kukuba ssabbaawa kw’olwo era ne mukama wange Museveni omuduumizi w’amagye ow’oku ntikko n’atwegattako.

Yajja n’emmundu eyo yennyini era n’ayolesa obukugu mu kukuba ssabbaawa. Emmundu ye emuwuliriramu kubanga kw’olwo amasasi gonna yagateeba mu kituli kye twali twegezeserezaako era ndowooza ky’ava agyagala ennyo.

Ebyogerwa nti Museveni yabadde tasaanira kugenda na mmundu mu kitundu ekiguddemu ekikangabwa ate nga teriiyo lutalo, Brig. Kasirye abisambajja ng’agamba nti: Munnamagye omutendeke eyakwata ku mmundu, toyinza kugyerabira mabega. Abo bye balimu pokopoko wa byabufuzi.

Erinnya ly’emmundu – Rwitabagomi nti yaligituuma mu biseera by’olutalo lw’ekiyeekera lwe yalwana wakati wa 1981 ne 1986. Erinnya lya Runyankore eritegeeza, “Ekissi ekitta abantu ab’effujjo, ababeera bamazeeko bannaabwe emirembe!” era kigambibwa nti ab’effujjo be yali ayogerako mu linnya ly’emmundu  be bajaasi ba Obote.

Omwogezi w’amagye ga UPDF Lt. Col. Felix Kurayigye yagambye nti abajaasi ab’eddaala erya waggulu bakkirizibwa okubeera n’emmundu ez’ekika kya AK47 kasita zibeera nga ziwandikiddwa mu bitabo by’amagye ne kitegeerebwa nti y’agirina mu butongole.
“Nange emmundu eyange ngirina wadde nga sitera kutambula nayo,” Kurayigye bwe yagasseeko.

Kurayigye yannyonnyodde nti Museveni yabadde n’omukuumi omu ng’agenda e Bududa era mu mbeera eyo mwe yasaliddewo okuggyayo emmundu eno n’agenda nayo.

Yagambye nti Museveni emmundu eno yiye ng’omujaasi ali ku ddaala lya Genero era omuduumizi w’amagye.

  Tamale Mirundi agamba nti emmundu eno n’ekyambalo ky’amagye Museveni bye yabadde nabyo ng’agenda e Bududa, kabonero ka bununuzi era mu mbeera eyabadde e Bududa nga Museveni agenze okwegatta ku magye g’akulira okuyamba abantu abaabutikiddwa ettaka kyabadde kisaanidde, kubanga yabadde agenda kununula bantu b’akulembera.

Wadde Museveni atera okwambala ekyambalo ky’amagye ku mikolo egy’enjawulo, tatera kwambalira mmundu nga bwe kyabadde e Bududa era abadde yasemba kulabwa ng’ajambalidde mu 1996 lwe yagenda okulambula Kasese ng’abayeekera ba ADF balumbye Mpondwe ne batta abantu.

‘Rwitabagomi’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....