TOP
  • Home
  • Emboozi
  • ‘Bangi baatusuubiza obuyambi ne batabutuwa’

‘Bangi baatusuubiza obuyambi ne batabutuwa’

Added 24th February 2010

lMufti Kayongo akakadde ze yasuubiza tukyazirinda
lSsekitto owa KASITA atudaazizza ku mitwalo 20

NA BULI kati abasuubuzi mu katale ka Park Yard bakyali banyiivu olwa poliisi ezikiza omuliro okulwawo okutaasa bizinensi zaabwe mu kiro ekyakeesa olwa February 25 2009 akatale kaabwe lwe

lMufti Kayongo akakadde ze yasuubiza tukyazirinda
lSsekitto owa KASITA atudaazizza ku mitwalo 20

NA BULI kati abasuubuzi mu katale ka Park Yard bakyali banyiivu olwa poliisi ezikiza omuliro okulwawo okutaasa bizinensi zaabwe mu kiro ekyakeesa olwa February 25 2009 akatale kaabwe lwe kaggya.

Bagamba nti ekimotoka ekyasooka okutuuka kyalwawo nnyo, kyatwala eddakiika ezisoba mu 30 ate ne bwe kyajja tekyabagasa. Baalina okuyita ekirala ekyali ku kisaawe e Ntebe era we kyatuukira mu Kampala ng’ebintu bitokomose.

Okulwawo kuno kwali kugenderere oba yali nsobi ng’endala ezikolebwa abantu?

  Simon Peter Musoke, omu ku bakungu okuva mu kitongole kya poliisi ezikiza omuliro agamba nti omugotteko oguli mu Kampala n’akatale ka Park yard gwe gwabalemesa okukola ku muliro amangu!

Omuliro gwava ku ki?
Owamawulire mu katale ka Park Yard, Abubaker Mulinde annyonnyola nti wadde abasuubuzi abamu balowooza nti waliwo omufumbi w’emmere eyaleka essigiri ye ng’eyaka eyinza okuba nga ye yakoleeza akatale, olunwe abasinga balusonga ku  bannannyini kkampuni ya bbaasi za Kalita abaali baagala okuyisa ekkubo mu katale kano lituuke mu kisaawe e Nakivubo gye baali bagenda okussa ppaaka yaabwe kyokka abasuubuzi ne babalemesa.

Jjukira nti abasuubuzi beekalakaasa, ne bamenya n’ebibaati aba Kalita bye baali bakubye mu kifo we baali bagenda okuzimba ppaaka. Kisoboka okuba nga bano be baayokya akatale?

Kyokka abasuubuzi abamu na kati bagamba nti abakulembeze abaaliko mu kiseera ekyo, abakulemberwa ssentebe Godfrey Busuulwa baali balagajjavu. Busuulwa baamuggulako n’omusango ku poliisi y’e Kampalamukadde. Baamugattako n’omumyuka we Byaruhanga, omuwanika John Bosco Lukwago, omuwandiisi Muhammed Musisi, ow’ebyokwerinda Ismail Sserwanja ne Ezra Kabeera be bagamba nti baalagajjalira emirimu gy’okukuuma ebyamaguzi byabwe.

George Mubiru omu ku baggulawo omusango guno ku fayiro nnamba CRB 1149/09 agamba nti omuliro we gwatandikira, n’abakuumi tebaaliwo!

Obukiiko bwa Kayihura
Nga March,06 2009, omuduumizi wa poliisi, Maj.Gen. Kale Kayihura yassaawo obukiiko bubiri okunoonyereza ku muliro guno. Akulira bambega mu Kampala, Godfrey Musana n’avunaanyizibwa ku nkolagana ya poliisi n’omuntu wa bulijjo, Asan Kasingye be baabukulembera.
Kyokka na buli kati eyo lipoota y’omuliro tevangayo! Kiki kye baazuula ekibatiisa okwogera? Nga March,20 waaliwo omuliro ogwaddamu okwokya ebyamaguzi bya Florence Kabonyi . Ku olwo poliisi yakwata abavubuka babiri, Frank Walakira ne Brian Sserwadda abasiisi ba capati mu Kironde zooni abaaleka ssigiri ng’eyaka. We byakoma!

Abaasuubiza ssente baazireeta?
Bagamba nti munno mu kabi ye munno ddala. Park Yard bwe yaggya, abantu bangi baasuubiza okuwaayo ssente. Muno mwalimu bannabyabufuzi, bannaddiini, abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo, abayimbi, ebitongole, amakampuni n’abantu babulijjo.

Kabaka yabawa obukadde 5, omuyimbi Bobi Wine obukadde 10 mu kaasi, Lubega owa Ange noir obukadde 5,  URA obukadde 5, Bukedde obukadde 5, MAVAP emitwalo 50, UPC ebikondo bya bukadde 20, bbaasi za Kalita abamaati 20, Stanbic loole 5 ez’embaawo, Sports Betting Africa yabazimbira ofiisi n’abalala bangi baabawa obuyambi mu sente n’ebikozesebwa omuli ebitiiyo, ennyondo, embaawo, emisumaali, amabaati n’ebirala.

 Wabula abamu bye baasuubiza tebaabituusa.  Chameleone yasuubiza obukadde 7 n’abawaako emitwalo 50 ze zaakoma!  Omuyimbi Ragga Dee yawaayo ceeke ya bukadde bubiri n’ebuuka, Mufti Zubail Kayongo yasuubiza akakadde kamu ne Issa Sekitto owa KASITA emitwalo 20 kyokka bonna tebaazireeta!

Maneja wa Chameleone yagambye nti baalemwa okufuna omuntu omutuufu ow’okuwa ssente kubanga abasuubuzi omwaka bagumazeeko bakaayana.Ragga Dee yagambye: Nnali nnaakawaayo ceeke ne bang’amba nti gwe ngiwadde (Busuulwa) mufere, kwe kukubira bbanka ne bayimiriza okuwaayo ssente. Ekirala nnali njagala mbaweemu ebintu ebirabwako.

 Ssente za Museveni zibatabula
Pulezidenti  Museveni bwe yakyalira akatale nga February 27, 2009 yabadduukirira n’akawumbi ka ssente.
Ssente zino zaayongera okuleeta enjawukana mu bukulembeze bw’akatale.

Abasuubuzi abamu nga bakulemberwamu Ezra Kabeera baasaba Town Clark wa Kampala, Ruth Kijjambu okulondawo akakiiko akenjawulo kalondoole obuyambi obwaweebwa abasuubuzi  kuba abakulembeze baabwekomya.
 Oluvannyuma  nga March 12 baagenda ku poliisi y’e Kampalamukadde ekwate ssentebe Godfrey Busuulwa n’akakiiko ke balage abasuubuzi ensaasaanya y’obuyambi bwe baaweebwa.

Nga bamaze okwennyonnyolako, Busuulwa yagamba nti akabinja k’abavubuka abataalina midaala mu katale be baali badobonkanya obukulembeze.

Kyokka okuva olwo Busuulwa ne banne baasibira mu kkomera e Luzira, ku bwassentebe baavaako dda. Anti ensonga zaatuuka n’ewa minisita wa gavumenti ez’ebitundu Adolf Mwesigye.

Ekibinja ky’abavubuka be bamu abakulemberwa Kabeera kyagamba nti ekibiina ekyaliwo ekya Kampala United Park Yard Vendors Savings and Credit Cooperative Society, okuyisibwamu akawumbi ka Museveni  kyali kyakuzibba!
Oluvannyuma lw’endooliito zino, abasuubuzi baalonda akakiiko ka bantu 11  okuddukanya akatale kano nga kakulemberwa Hamuza Kalema nga ssentebe omuggya.

Kalema agamba nti  bwe baatereeza ekibiina ky’obwegasso ekyaliwo kyayanguyiza Gavumenti okubawa ssente za Museveni. Era mu June, Minisita Nankabirwa  yaggulawo mu butongole bbanka ya SACCO yaabwe esangibwa ku Jamat House ku Nakivubo Road.
Lubega agamba nti Gavumenti yabawa ebikozesebwa mu ofiisi omuli entebe, kompyuta, okusasula abakozi okumala omwaka n’okubaweereza maneja Moses Eserait okubayambako enzirukanya ya bbanka.

“Ekibiina ky’abasuubuzi okukiyingira osasula  15,000/- nga ku zino 10,000/- za mugabo ate 5,000/- za kwewandiisa.
Buli mmemba aweebwa akatabo, akawunti olwo n’atandika okutereka.
Bammemba mu kibiina kino be bawolwa ssente za Museveni.

Mu September, obukadde 200 ze zaasooka okuweerezebwa, zaasanga abasuubuzi 1,200 bamaze okwewandiisa. Mu December baaweerezaayo obukadde 400, zaasanze abasuubizi abasoba mui 1,800 bamaze okwewandiisa okuzeewola.
Ssentebe Hamuza Kalema agamba nti bategese omukolo gw’okujjukira olunaku luno nga March 27  e Nakivubo.
Wagenda kusookawo omupiira wakati w’abasuubuzi mu katale kano.
  Â

‘Bangi baatusuubiza obuyambi ne batabutuwa’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nambooze ng'ayogera eri abavubuka ba People Power e Mukono ku NUP.

Nambooze yeekokkodde abamwe...

Nambooze yeegobyeko abamwekukuutirizaako mu kalulu olumala ne bajeema.

Engeri gy'ofuna mu nkoko z'...

ENKOKO z’amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng’ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu...

Hajji Musa ng'annyonnyola

Enkoko z'ennyama 100, zikuk...

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona,...

Akulira  Tourism board Lilly Ajarova ng'ayogera ku by'obulimi

Akulira Uganda Tourism boar...

Akulira ekitongole kye byobulambuzi mu gwanga ekya Uganda tourism board Lilly Ajarova akubirizza abalimi mu gwanga...

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

Bannaddiini balaze engeri g...

BANNADDIINI basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuggulawo amasinzizo ne balaga engeri gye bagenda okuluhhamyamu...