TOP

Ekizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi

Added 6th January 2010

Ekizimbe kyonna kya giraasi n’amayinja agomuwendo. Kituumiddwa  Burj Dubai, nti kubanga kye kiraga eryanyi ly’ekibuga Dubai mu by’ensimbi, yadde nga kiri mu mabanja agatayogerekeka!

Okuva wansi okutuuka ku kanaala kaakyo akasembayo kiriko obuwanvu bwa kitundu kya mayiro, ze ffuuti

Ekizimbe kyonna kya giraasi n’amayinja agomuwendo. Kituumiddwa  Burj Dubai, nti kubanga kye kiraga eryanyi ly’ekibuga Dubai mu by’ensimbi, yadde nga kiri mu mabanja agatayogerekeka!

Okuva wansi okutuuka ku kanaala kaakyo akasembayo kiriko obuwanvu bwa kitundu kya mayiro, ze ffuuti 2,683.

Kwe kugamba nti buli mwaliiro ku egyo 169 gye kirina gwazimbiddwa n’obukadde bwa ddoola butaano n’ekitundu.

Ekizimbe ekirala ekikivuganya ekya Taipei 101 kiriko ffuuti 1,67, kwe kugamba nti Burj Dubai kikisinga ffuuti 1,000 lulamba.

Lwa buwanvu, naye ekizimbe kino tekinnaggwa. Ekirala ebisenge ebisinga tebinnapangisibwa kubanga Dubai ennaku zino akanyigo k’ebyenfuna kaagigoya, abantu baavu.

Kkampuni eyazimbye ekizimbe kino eya  Emaar Properties yeegasse n’omukulembeze w’e Dubai  Sheikh Mohammed bin Rashid al-Maktoum. Maktoum agamba nti eiizmbe kino kabonero akalaga obugagga bwa Dubai.

Ku kizimbe kwassiddwaako amayumba agasulwamu, ofiisi, amaduuka, omuzikiti, jjiimu, ekikaali omukubirwa ebidongo, wooteeri eyomulembe. Kyazimbiddwa mu ngeri nti oli bw’aba asazeewo, ayinza okukibeerako obulamu bwe bwonna n’atuusa kufa!

Kuliko amasomero, amalwaliro, ekisaawe w’oyinza okuzannyira ttena n’emizannyo emirala.
Wooteeri eri ku myaliiro omunaana egisooka, amayumba agapangisibwa ge gaddako okutuuka ku mwaliiro ogwa 108, oguli ku ffuuti 1,300.

Emyaliiro egisembayo waggulu naddala okuva ku gwa 160 gyakolebwa nga zijja kuba ofiisi. Ku mwaliiro ogwa 122 kuliko kawooteeri akatonotono wamu ne jjiimu, ate ekidiba ekiwugirwamu kiri ku mwaliiro gwa 123, ze ffuuti 1,440 okuva ku ttaka.

Abakozi 12,000 be bazimbye ekizimbe kino. Bw’obeera ku mwaliiro ogwa 124 osobola okulaba ekibuka Dubai kyonna. Era osobola okulengera mu Iran!

Ekikaali ky’endongo kiri ku mwaliiro gwa 143. Bw’oyingira ekizimbe kino oba ng’ali mu mmotoka ey’ebbeeyi ey’ekika kya  Porsche .

Ekizimbe kiyinza okumalawo emyaka nga tebafunye bakijjuza kubanga abasuubuzi embeera y’ebyenfuna ebanyize nnyo.

Ekizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

HAJJ SABIITI MUYIMBWA W’E KAYUNGA: Puleesa yanziba amaaso Kati emyaka 15 siraba.

Engeri okulonda ne Covid - ...

ABAAWANGUDDE n’abaagudde mu kalulu akaakaggwa bangi baakavuddemu balwadde entunnunsi. Ku bano bw’ogattako abo okweraliikirira...

Omukyala ng’akuuta bbebi ebinnyo.

Kozesa kigerekyampisi okuvu...

EBINNYO bwe bulwadde obukwata abaana abali wakati wa wiiki emu n’emyezi esatu. Omwana alwadde ebinnyo ebibuno biba...

Mmeeya Balimwezo ng’ayogera eri bakkansala mu lukiiko lwa kkanso. Ku kkono ye Sipiika Moses Mubiru ne Town Clerk, Denis Omodi.

Balaajanye ku ky'okwerula e...

ABAKULEMBEZE mu Munisipaali y’e Nakawa balaajanidde Gavumenti okwerula ensalosalo za Munisipaali y’e Nakawa mu...

Taremwa (atudde) ng’agezaako okunnyonnyola ababanja ez’Emyoga.

Ez'emyoga zitabudde aba sal...

ABAVUBUKA abeegattira mu bibiina by’abasala enviiri mu kibuga Mbarara nga baavudde mu Kishenyi Saloon Association...

Bannamawulire okuva mu Busoga, abeetabye mu musomo.

Omukungu alaze ekyalemesa N...

Omukungu akulira ekitongole ekivunaanyizibwa okukuuma n’okulabirira obutonde, Dr. Daniel Babikwa ategeezezza nti...