TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Balojja ebbinu eryali e Naggalabi ng'Omutanda atuuzibwa

Balojja ebbinu eryali e Naggalabi ng'Omutanda atuuzibwa

Added 9th July 2013

NG’OBUGANDA bwetegekera emikolo gy’okujjukira emyaka 20 egy’omulembe Omutebi, tutunuulidde emikolo egyali e Naggalabi n’abategesi abaagiri mu mitambo.

 

 

 

 

Bya EDWARD SSERINNYA

NG’OBUGANDA bwetegekera emikolo gy’okujjukira emyaka 20 egy’omulembe Omutebi, tutunuulidde emikolo egyali e Naggalabi n’abategesi abaagiri mu mitambo.

Polof. Ssemakula Kiwanuka nga y’omu ku baali ku lukiiko oluteesiteesi agamba nti, “Nalondebwa Ssaabataka mu kiseera ekyo nga bwe twali tumuyita okubeera ku lukiiko olwategeka emikolo, era obuvunaanyizibwa bwange bwali kutunuulira byabuwangwa nga bwe birina okutambuzibwa.

Polof. Ssemakula Kiwanuka

Olukiiko lwaffe lwali lukulirwa Dr. Paul Kawanga Ssemwogerere eyali omumyuka wa Katikkiro mu gavumenti eya wakati mu kiseera ekyo, twatuulanga mu bifo eby’enjawulo mu Kampala okulaba amagezi engeri emikolo gye gigenda okutambulamu.

Okutandika okutuula ng’enteeseganya z’okuzzaawo Obwakabaka zigenda mu maaso era nga tekinnakakasibwa oba emikolo gigenda kubaawo.

Mu nteeseganya eyo Omataka Nadduli Kibaale, Omutaka Grace Ssemakula Ndugwa, Ssaabalangira Besweri Mulondo, Omutaka James Kabazzi Miti n’abalala baazirimu.

Tukunga Obuganda:
Twalina okukola omulimu gw’okukunga Obuganda n’ekigendererwa eky’okugatta abantu ate nga tekirabika nti mulimu ebyobufuzi wadde nga tebyabulamu.

Okuzzaawo emipiira gy’ebika mu 1987, kaali kamu ku kabonero ak’okugatta abantu. Nzijukira mu 1993, bwe twakunga abantu okujja okugogola ennyanja ya Kabaka, buli kika ne kifunako ekibanja era ekigendererwa nga kuteekateeka bantu kutuuka ku matikkira.

Mayanja Nkangi

Balangirira okuzzaawo Obwakabaka
Sijjukira bulungi nnaku za mwezi, naye nga gwali mwezi gwa May. Olwo entegeka n’okukunga abantu okuyoyoota Naggalabi ne kutandika, era Abaganda bangi bajjumbira nnyo omulimu ate ne bakola nga te-baweera. Wadde nga waaliyo abaali tebaagala Kabaka kuddawo, nga mwattu mulimu n’Abaganda naye era tekikyasoboka.

Omukolo e Naggalabi
Siyinza kujjukira lwaki twalonda July 31. Wabula omukolo gwo gwali muyitirivu era tewali gw’oyinza kugamba nti ono ye yasinga okukola ennyo, kuba abantu bonna baalaga omutima ogw’awamu. Nze ne John Katende twava e Buddo ku ssaawa 9:00 ogw’ekiro ng’enkeera mukolo ate nga ku ssaawa 11:00 nga bukya nga tulina okuba e Buddo okulaba nga buli kimu kigenda bulungi.”

Amakulu g’omukolo
Ssaabalangira Besweri Mulondo ng’ayita mu katabo ke, ‘Ssemusota guli Mu ntamu’ agamba nti, Ekimu ku makulu g’omukolo gw’amatikkira kwe kuzzaawo Obwakabaka obwali busanyiziddwaawo Obote. Noolwekyo, okubuzzaawo kyali kikulu nnyo eri Buganda ne Uganda.

Okuzzibwawo okwo kwasobozesa n’ebitundu ebirala byonna ebirina obukulembeze obw¬ensikirano okuddawo n’okutondawo obuggya gye babwetaaga.

Mulondo agamba nti, y’omu ku baali ku lukiiko olwateekateeka Amatikkira ga Kabaka era yatambula naye mu bitundu eby’enjawulo Ssaa¬bataka gye yalina okusooka okukyala n’okweyanjulira ababikulembera era wangi gye twayita nga bamusibirira entanda.

Ennyumba Buganda
Yazimbibwa nga ya kiteeteeyi era buli kyetaago mu nnyumba eno kibaamu nga mw’otwalidde ne kaabuyonjo, engoma Mujaguzo nazo zaanonyezebwa kuba bingi byali tebiriiwo.

Eyali Katikkiro Jehoash Mayanja Nkangi
“Nze nneetoololerako emikolo gyonna kuba nze nali Katikkiro nga nze nnina Ddamula. Kabaka nga bamaze okumukolako emikolo gyonna nze namulangirira eri Obuganda nga bw’afuuse Kabaka.

Entegeka zonna okuviira ddala e Ggulu nga nzeetabamu butereevu, era n’enkiiko ez’okutegeka emikolo nazo nazikubirizanga n’okumanyira ddala nti ebintu bigenda bulungi.

Omukolo e Naggalabi gwagenda bulungi era kwetabako abagenyi okuva mu mawanga ag’enjawulo, Pulezidenti Museveni n’abeebitiibwa abalala bangi n’abantu ababulijjo bangi.

Omugenzi James Mulwana ono teyakoma ku kya  n’ensimbi enkalu buli we zaabanga zeetaa¬gisizza era yakkiriza n’abeera ssentebe w’olukiiko lw’ettaka ekitaali kyangu mu kiseera ekyo.”

Kaggo Tofiri Kivumbi Malokweza agamba: “Nali mubaka ku lukiiko lw’Abataka olwali luteekateeka emikolo era waaliwo olukiiko lwe twatuuza ku ssomero lya Buddo okukola enteekateeka z’okutuuza Kabaka.

Muno mwalimu okulongoosa ebifo bya Buganda nga Naggalabi, Bulange mu Lubiri n’ebirala. Akakiiko era kaalina omulimu gw’okunoonya abantu ab’enkizo abatambulizibwako emikolo gy’okutuuza Kabaka n’okubateekateeka.”

Polof: Gordon Wavamunno agamba, “Enteekateeka z’Amatikkira zaatutwalira emyezi munaana, akakiiko kaaliko abantu abali eyo mu 20 era nze obuvunaanyizibwa bwange bwali ku byantambula, nakola n’omugenzi Mulwana mu kitongole kino.

Ffe twali tuvunaanyizibwa okulaba nga ssente ezikung’aanyizibwa zikwatibwa bulungi, byonna nga kye twewala kwe kukola omukola ogulumira, wabula Katonda yatuyamba omukolo ne gugenda bulungi kuba ffenna abaakola nga tukola n’omutima gumu.

Siyinza kwerabira engeri abantu gye bajjumbiramu omukolo guno, mwattu kwali kutikkira Kabaka wa Buganda naye abantu abaaliko ng’oyinza n’okulowooza nti gwa Uganda yonna ate buli ggwanga lyagujjumbira.

Naye mu myaka gino abiri nsaba abantu twongere okukwatagana okuwagira Obuganda mu bigambo ne mu bikolwa.

Taba kuba Pulezidenti Museveni ono, oba oli awo ne gye buli eno Kabaka yandibadde taddangawo. Yasalawo Obwakabaka okuddawo mu 1993 oluvannyuma lwa Obote okubuwera mu 1967.

Kino okukikola yamala okumatizibwa Abaami ba Kabaka nti beetaaga Obwakabaka okuddawo, era naye ku mukolo gw’Amatikkira e Buddo - Naggalabi yagwetabako.

Mw. John Katende
Akatabo Ssemusota guli Muntamu, kalaga nga Katende bwe yali omuwi w’amagezi ku by’amateeka eri Obwakabaka, era yeenyigira butereevu mu nteekateeka z’okutikkira Kabaka.

Yawaayo amaka ge agasangibwa e Lubaga ng’ekifo ekyekusifu okutuulamu enkiiko enkulu mu kuteekateeka Amatikkira era abeetabanga mu nkiiko zino ng’abalabirira bulungi, era ono ye yakulemberamu omukolo gw’okulayiza Kabaka ng’ali wamu ne mun-namateeka Godfrey Lule.

Abalala abaakola ennyo ye mutaka Grace Ssemakula Ndugwa, Rev. Dan Kajumba n’abalala bangi.
Okulyowa emyoyo kwakulemberwa Omulabirizi w’e Masaka Bp. Dr. Adriani Ddungu eyasaba Abaganda okwagala ennyo Kabaka, okusiima Museveni olw’okuzzaawo Obwakabaka ate omugenzi Misayiri Kawuna ye yayambaza Kabaka engule Enguugu.

Obulombolombo obukolebwa ku Kabaka ng’atuuzubwa

Katikkiro wa Ssemanobe (akulira emikolo gy’okusumika Kabaka e Nagalabi), Omutaka Lawrence Mukalazi Kimbowa akulaga obulombolombo obukolebwa ku Mulangira agenda okutikkirwa;

1 Omulangira ayanjulwa Kasujju Lubinga Owoolugave.

2 Tayita ku luguudo lw’e Masaka ng’agenda e Naggalabi kuba taso¬moka mugga Mayanja oguli e Busega.

3 Omulangira n’abalwanyi be balwana olutalo olw’Ebirumbirumbi n’abalwanyi ba Ssemanobe.

4 Ssemanobe talaba ku Mulangira agenda kutikkirwa okutuusa nga bali mu kulwana olutalo lw’Ebirumbirumbi.

5 Omulangira asula mu nnyumba Naggalabi ennaku mwenda, naye kano akalombolombo ku Kabaka Mutebi tekaatuukirizibwa.

6 Kabaka ayesa ekyeso n’ekigendererwa ky’okutebuka enkwe eziba zimwetoolodde n’obulombolombo obulala bungi.

Balojja ebbinu eryali e Naggalabi ng’Omutanda atuuzibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...