TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Kabaka ayambye abaana b'eggwanga abanaku okusoma

Kabaka ayambye abaana b'eggwanga abanaku okusoma

Added 15th July 2013

BUKEDDE Online akutuusaako ebyafaayo bya Buganda nga twetegekera amatikkira ga Ssaabasajja ag’omulundi ogwa 20 aganaabaawo nga July 31 2013. Omusasi waffe LILIAN NALUBEGA alambuludde engeri obwakabaka gye bukulaakulanyizzaamu ebyenjigiriza.

 

 

 

 

 

BUKEDDE Online akutuusaako ebyafaayo bya Buganda nga twetegekera amatikkira ga Ssaabasajja ag’omulundi ogwa 20 aganaabaawo nga July 31 2013.

Omusasi waffe LILIAN NALUBEGA alambuludde engeri obwakabaka gye bukulaakulanyizzaamu ebyenjigiriza.


Minisita w’Ebyenjigiriza e Mmengo, Twaha Kawaase (mu ttaayi emmyuufu) ng’alambula ebimu ku biyigirizibwa abayizi ku Lubiri Naabagereka P/S gye buvuddeko.

KABAKA ebbanga lyonna azze alafuubanira okutumbula ebyenjigiriza mu Buganda ne Uganda kisobozese abantu be okubeera mu mbeera eyeeyagaza, beekolere emirimu egibayamba okwebeezaawo awatali kusabiriza na kulindirira kuweebwa.

Kabaka yateekawo ekitongole ky’Ebyenjigiriza ekikoze emirimu emingi okutandikawo amasomero n’amatendekero agatali gamu mu Bwakabaka okukakasa nti waakiri abaana ba Buganda babaako amatendekero mwe basomera.

Mu kino tebakomye ku kuzimba masomero wabula bataddewo enkola ey’okulaba ng’abaana abatalina mwasirizi n’abo abaagala okusoma kyokka nga bakadde baabwe tebeesobola bafuna okuyambibwa ne basomesebwa nga bayambibwako ensawo ya Kabaka ey’ebyenjigiriza eya Kabaka Education Fund (KEF).

ABABADDE KU BWAMINISITA BW’EBYENJIGIRIZA E MMENGO:
Kabaka yasooka n’alonda Kajubi Sseppi okuba minisita we ow’ebyenjigiriza n’atema omusingi gw’ebyenjigiriza mu Buganda.

Ono yaddirirwa Dr. J.C. Muyingo ng’amyukibwa Dr. Sauda Namyalo, kati abaawummula ne bakola kinene mu kussaawo omusingi gw’ebyenjigiriza mu Buganda kwe birina okutambulira.

Be baatandikawo amasomero kumpi gonna agasinga ag’Obwakabaka ssaako Buganda Royal Institute esomesa ebyemikono n’amasomo g’ebyobusuubuzi. Lubiri Naabagereka ne Lubiri High School yagassaako nnyo amaanyi.

Dr. Muyingo era ye yateekawo olukiiko lw’ebyenjigiriza mu Buganda olwasooka olumanyiddwa nga ‘Buganda Education Commission’ amasomero ga siniya ne pulayimale n’agalonderamu bammemba b’obukiiko obufuzi ate amatendekero n’agateekamu bakaminsona.

Muyingo yaddirirwa Dr. Fred Masagazi Masaazi ng’ono akoze nnyo okulondoola n’okulaba ng’omutindo gw’amasomero ga Kabaka gonna gutumbulwa.

Masagazi abadde amyukibwa Ahmed Lwasa ne Herbert Ssemakula (ow’ebyemizannyo) okutuusa Kabaka lw’asazeewo n’alonda Hajji Twaha Kaawaase (atannalonderwa bamyuka).

AKAKIIKO K’EBIGEZO MU BUGANDA
OKUSINZIIRA ku lipoota y’ebyenjigiriza ey’omwaka 2012/13 e Mmengo, Kabaka ng’ayita mu kitongole kye kino yatandikawo enkola ey’okutegeka ebigezo eby’okwegezaamu (mock) ebitegekebwa aba Buganda Education Commission (BECO) ebikolebwa amasomero agabeera gaagadde, nga kino kiyambye okwogera ku mutindo gw’abayizi ababa babikozeeko.

KABAKA ASAKIRIDDE EBYENJIGIRIZA
Kabaka atuukiridde amasomero mangi mu Buganda agawaayo ensimbi oluusi n’ebifo okusobozesa abaana abateesobola okufuna gye basomera ate ensimbi endala Kabaka yasalawo wabengawo omutemwa ku nsimbi abantu ze bawaayo okugula satifikeeti, okuweerera abaana abo.

EMYOLESO N’EBIVVULU BY’AMASOMERO
Wassibwawo omwoleso gw’ebyenjigiriza ng’ogw’omwaka oguwedde gwali mu Lubiri e Mmengo. Emyoleso giyamba abaana n’abazadde okumanya amatendekero amalungi.

Waliwo n’ekivvulu ky’ennyimba n’emizannyo ekitegekebwa ku ddaala lya Pulayimale ne siniya okusinziira ku mulamwa oguba gulondeddwa, gamba nga; ebyobulamu, obuyonjo, obuwangwa n’ebirala.

Bino era biyamba abaana okutumbula ebitone byabwe nga mu byonna Kabaka alafuubanira kukendeeza bbula lya mirimu mu bavubuka n’eggwanga okutwaliza awamu.

KABAKA ALAMBULA AMASOMERO
Kabaka nga tasosodde mu masomero oba ga bwannannyini, Gavumenti oba ag’eddiini ez’enjawulo afaayo okugalambula era mangi g’agguddewo n’asimba n’amayinja ku bizimbe byago. Amasomero gano gassibwamu ekitiibwa n’okufaayo ku mutindo gwago.

KABAKA AWEERERA ABAANA
Era Kabaka ng’ayita mu kitongole kye ekya Kabaka Foundation aweerera abayizi mu masomero n’amatendekero ag’enjawulo. Zino ensimbi ziva mu nsawo ya Kabaka okulaga omutima gw’alina ku by’okugunjula abaana.

Kabaka era ng’ayita mu nsawo ye ey’enkuluze, aliko era abantu b’aweerera nga mu bano mwe muli n’abaserikale be abalaga omwoyo gw’okwagala okusoma n’abaweerera ne bongera okubangulwa mu masomo agatali gamu.

AMASOMERO KABAKA G’ATANDISEEWO NE G’AWADDE OBUYAMBI
AGAMU ku masomero Kabaka ge yasooka okutandikawo mulimu erya Lubiri Nnaabagereka Pulayimale School ne Lubiri High School gombi agasangibwa mu Lubiri e Mmengo. Gano gazadde gannaago okuli Lubiri High School e Buloba ne Muteesa II College School e Nabweru.

Kabaka era alina amatendekero g’ebyemikono g’atandiseewo okuli Buganda Royal Institute of Business and Technical Education e Kakeeka (kati erikulirwa Antony Wamala) era nga lifulumya abayizi ku mutendera gwa Dipulooma ne Satifikeeti.

Mu nteekateeka ya Kabaka empya, ayagala okulaba nga watandikibwawo amatendekero nga gano mu Masaza wonna, ebyemikono bisomesebwe abaana ba Buganda.

Kabaka azze akyogera lunye nti Abavubuka basaana okukomya okusabiriza n’okunoonya emirimu wabula bayige okugyetandikirawo, nga kino kye yeesigamako okulaba ng’amasomero g’ebyemikono gatandikibwawo.

Mu kujjukira jjajja we Ssekabaka Muteesa I, Ssaabasajja yateekawo yunivasite ya Muteesa I Royal University mu 2007.

Newankubadde waaliwo okusooka okusika omugwa ne gavumenti ya wakati nga Kabaka ayagala emuddize ebizimbe bye eby’e Kirumba-Masaka ebyali bikozesebwa ng’ettendekero ly’ebyemikono erya Gavumenti, Kabaka yafuba okulaba nga bidda mu mikono gye era byamuweebwa nga biri mu mbeera embi ddala n’abirongoosa.

Ebizimbe bino bye byafuuka ekitebe ekikulu ekya yunivaasite eno eya Muteesa I Royal University nga kati erina ettabi e Kakeeka mu kibuga Kampala ate n’ettabi eddala e Mubende (wakati mu kibuga), erisomesa ebyobusuubuzi.

MINISITA KAAWAASE ATANDISE KAWEEFUBE W’OKULAMBULA AMASOMERO MU BUGANDA

MINISTA w’eby’enjigiriza omuggya, Haji Twaha Kaawaase yatandise kaweefube w’okulambula amasomero ga Kabaka alabe embeera gye galimu n’okuzuula ebisomesebwayo nga kuno kw’agenda okusinziira okussa mu nkola obukugu bw’alina mu kuyimirizaawo amasomero.

Bwe yabadde ku Lubiri Naabagereka P/S, Kaawaase yategeezezza nti amasomero gonna tegayinza kugenda mu maaso na kufulumya bayizi abasaanidde nga tewali nkolagana nnung’amu wakati w’abazadde, abayizi n’abasomesa.

Yakikkaatirizza nti naye nga minisita, tasobola kukola kisaanidde ng’abakulira amasomero tebatutte buvunaanyizibwa okulaba nga bamumanyisa ebigenda mu maaso ate n’okumubuulira okwemulugunya kw’abayizi n’abazadde, nga kino kye kisinga okuyamba okugonjoola ebizibu mu byenjigiriza nga tebinnasajjuka.

‘Abaganyuddwa mu Nsawo ya Kabaka ey’Ebyenjigiriza tulina okuddiza Obuganda’

ABAYIZI abaasomerako ku Nsawo ya Kabaka ey’Ebyenjigiriza bakunukkiriza mu 5,000 nga mu kiseera kino bangi baasaasaana. Baali beekozeemu ekibiina ekibagatta wadde kati tebakyakung’aana wadde okuwuliziganya okuggyako ababeera bakyali mu matendekero.

Kabaka ayambye abaana b’eggwanga abanaku okusoma

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.