TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Emyaka 20 egy'enkulaakulana mu byobulimi

Emyaka 20 egy'enkulaakulana mu byobulimi

Added 19th July 2013

OLUVANNYUMA lw’emyaka 20 nga Ssaabasajja alamula Obuganda, okusoomoozebwa mu byenfuna n’enkulaakulana kukyali kwamaanyi.

 

 

 

 

 

 

BUKEDDE Online akutuusaako ebyafaayo bya Buganda nga tujjukira amatikkira ga Ssaabasajja ag’omulundi ogwa 20 aganaabaawo nga July 31 2013.

Omusasi waffe HERBERT MUSOKE alaze enkulaakulana Ssaabasajja gy’aleese mu Buganda mu myaka 20.


OLUVANNYUMA lw’emyaka 20 nga Ssaabasajja alamula Obuganda, okusoomoozebwa mu byenfuna n’enkulaakulana kukyali kwamaanyi.

Abantu bangi mu Buganda tebasobola kwetuusaako byetaago byabulijjo, babeerawo ku ssente eziri wansi wa 2,500/- olunaku!

Abavubuka bangi batunze ettaka okugula bodaboda, abalala badduse mu byalo okudda mu bibuga okulera engalo n’okuzannya zaala.

Wabula Ssaabasajja afubye okubaako enteekateeka ez’enjawulo z’akolera abantu be okusitula embeera zaabwe mu byobulamu, ebyenfuna, ebyenjigiriza n’ennyingiza y’ensimbi mu maka.

Katikkiro Charles Peter Mayiga agamba nti mu kiseera Obwakabaka we bwaddirizibwawo, eggwanga lyonna lyali mu mbeera mbi olw’okutaagulwa entalo.

Okuva mu 1993, okusoomooza okubaddewo kwa Kabaka kutema mpenda eziggya abantu be mu bwavu n’embeera y’okubundabunda!

Abataka baasaba Kabaka nti alina okutandikirawo okukola n’okulwanirira abantu be abaggye mu mbeera embi n’okubawa essuubi.

Kabaka yayatandikawo ekitongole kya Buganda Economic Bureau (BEB), okutandikawo emirimu egitali gimu egiyinza okuvaamu ssente ezinaatambuza emirimu gy’Obwakabaka.

Mu nteetateeka z’ekitongole kino, nakyo kyatondawo ekitongole kya Buganda Cultural and Development Foundation (BUCADEF) mu 1994, okuyamba okuddaabulula embeera y’abantu ba Buganda mu byobulimi, eby’enjigiriza, ebyobulamu n’okutumbula embeera y’obulamu bwabwe.

Muky. Ssendagire akulira BUCADEF ng’agaba endokwa z’emmwaanyi.

Mu 1995, ekitongole kyatandikawo Buganda Royal Tours and Travel ne Central Technical Services Ltd, ate mu 1996 leediyo ya CBS yatandikibwawo, 1997 ne kitandikawo olupapula lwa Njuba Times kyokka luno lwagwa mu 2000.

Kabaka yatandikawo ekitongole kya ‘Kabaka Fund’, mu 1995 ne kiwandiisibwa mu 1996, okuzzaamu abantu essuubi, okubabudaabuda, okutumbula enkulaakulana n’obuwangwa mu Buganda.

BUCADEF:
Muky. Jessica Ssendagire, akulira ekibiina kya BECADEF, agamba nti ekibiina kino kikola kinene okuyamba abantu ba Ssaabasajja mu byobulimi, ebyobulamu, ebyenjigiriza, amazzi, obuyonjo n’okukuuma obutone bw’ensi.

Ekitongole kino kyatandikibwawo mu 1994. Emirimu gyakyo gikolebwa mu disitulikiti mukaaga okuli Wakiso, Mukono, Mpigi, Mityana, Mubende ne Kiboga era nga ne disitulikiti endala emirimu gy’ekibiina gikyagenda mu maaso okukakasa nti abantu ba Buganda babbululwa mu bwavu nga kikolaganaira wamu mu n’ebibiina nga UNIDA, UNESCO n’ebirala.

EBYOBULAMU:
Mu byobulamu BUCADEF ekolaganiran’ekitongole kya Uganda Cares okuyamba abalina akawuka ka Siriimu, okubabudaabuda n’okubawa obuyambi obutali bumu, okujjanjaba abantu endwadde ez’enjawulo ku bwereere n’ebirala.

“Tujjanjaba abantu ku bwereere nga tuli wamu n’ebibiina by’abasawo Abaganda okuyamba ku bantu baffe abatalina ssente za kwejjanjabisa,” Muky. Ssendagire bw’agamba.

Agamba: Tuyambako okukubiriza abantu okujjumbira okugemesa abaana, endiisa y’abaana ennungi, abakyala abembuto n’abayonsa, n’okumuula obuyonjo mu maka.

Ebyenfuna bya Buganda byesigamye ku bulimi era Mmengo eyita mu kitongole kya BUCADEF okukubiriza abantu ba Buganda okulima emmere emala, okulwanyisa enjala, okwekuumira mu mbeera ennungi nga bayita mu byokulya.

“Tukolaganira wamu n’ebitongole ekikola ku kunoonyereza ku byobulimi nga NARo ne Kawanda Agricultural Research Institute mu birime eby’ejawulo naddala lumonde, muwogo, kasooli, ebijanjaalo, ebitooke n’ebirala.

Okunooyereza kuno kukolebwa okufuna ebirime ebibala ennyo, ebigumira obulwadde ate nga bikula mangu n’ebisolo ebyolulyo okuyamba abantu okwekulaakulanya.

Mu ngeri y’emu nga tukolagana n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulima emmwaanyi ekua Uganda Coffee Development Association (UCDA),tugaba endokwa, okusomesa abalimi engeri entuufu ey’okusimba emmwaanyi, endabirira yaazo, okunoonyereza ku bulwadde n’okubakubiriza okukuuma omutindo okusobola okuzifunamu ekiwera.

Tutandiseewo ennimiro ez’okulabirako n’okwaluza endokwa z’ebirime nga muwogo, amalagala ga lumonde mu disitulikiti omukaaga ze tukoleramu n’okuzigaba mu balimi.

Tukolagana ne kkampuni z’ensigo okutuusa ku bantu baffe ensigo ezembala n’okubagabira ebisolo ng’ente, embuzi, embizzi ezolulyo n’okubayigiriza ennunda yaazo eyomulembe,” Muky Ssendagire bw’agamba.

BUCADEF etegeka emisomo mu byalo, na buli Lwakuna olusemba mu mwezi babeera n’omusomo ku Bulange, ate buli Ssande babeera ne pulogulaamu ku leediyo okwongera okusomesa abantu obulimi.

“Tufuba okulaba nga tunoonya akatale k’ebirime nga twenyigira mu myoleso, okuzimba ebyagi okuterekamu emmere n’okwetegekera enjala n’okukubiriza abalimi okwegatta.

Tulina ebibiina ebisoba mu 10,000,000 okwetooloola Amasaza ga Buganda gonna. Mu ngeri y’emu tusimba n’okukubiriza abasimba emiti okusobola okukuuma obutonde kuba ebyobulimi ebisinga mu Buganda byesigamye ku butonde.

Tukubiriza buli maka okusimbayo omuti nga tujjukira emyaka 20 egya Ssaabasajja ku Nnamulondo.

Tulina enteekateeka y’okuzza obuggya ensuku mu Buganda kuba eno y’emmere y’Omuganda.”

Abbey Ntambi, avunaanyizibwa ku nsonga z’amawulire mu kitongole kya Buganda Land Board agamba nti abantu bonna abali ku ttaka lya Kabaka basaanye beewandiise, baweebwe liizi za myaka 49 olwo batandike okwekulaakulanya mu byobulimi n’obulunzi wamu n’obusuubuzi ku ttaka lino.

Akulira ekitongole kino, Mw. Kyewalabye Male agamba nti oluvannyuma lw’okuzimba ekizimbe kya Muganzirwazza e Katwe ekyatongozebwa mu 2012, era ekisuubirwa okuyingiza obukadde 78 omwezi, enteekateeka eziddako zaakumaliriza kizimbe kya Bulange Plaza.

Kino kijja kuba kya busuubuzi. Eyali Katikkiro wa Buganda, Ying. JB Walusimbi yatandikawo enteekateeka y’Omumuli okuyamba abantu okwekulaakulanya nga balima emmere n’okutumbula ebyobulamu.

Emyaka 20 egy’enkulaakulana mu byobulimi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harold Kaija

Omukunzi wa FDC attiddwa mu...

AKULIRA okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde bamusse ne kireka ebibuuzo ku bigendererwa...

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

Gavt. erondesezza akakiiko ...

GAVUMENTI erondesezza akakiiko ak'ekiseera ka bantu bataano mu St. Balikuddembe kagiyambeko okuddukanya akatale...

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

Obukama bwa Tooro buyingidd...

OLUVANNYUMA lwa ffamire okulemererwa okutuuka ku kukkaanya ku by'okuziika munnamateeka Bob Kasango eyafiira mu...

Florence Nabakooza bba Shafique Wangoli yakwatiddwa ng’ali lubuto.

Abaabulwako abaabwe olukala...

ABANTU abaabulwako abaabwe tebamatidde n'olukalala minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odong lwe yayajulidde...

Ku kkono; Hope Kitwiine, Mildref Tuhaise, Mercy Kainobwisho, Patience Rubagumya, Connie Kekihembo, Agnes Nandutu ne Irene Irumba.

Abakyala balaze ebirungi by...

ABAKYALA abali mu bifo by'obukulembeze mu by'obusuubuzi balaze okusomoozebwa abakazi kwe bayiseemu olwa corona...