TOP
  • Home
  • Emboozi
  • EMYAKA 20 EGY'AMATIKKIRA: Omukwano gwa Kabaka n'abavubuka gukuze

EMYAKA 20 EGY'AMATIKKIRA: Omukwano gwa Kabaka n'abavubuka gukuze

Added 31st July 2013

TEWALI kubuusabuusa nti Ssaabasajja yatongoza omulembe gw’abavubuka mu Buganda.



Bya GEORGE BUKENYA

TEWALI kubuusabuusa nti Ssaabasajja yatongoza omulembe gw’abavubuka mu Buganda.

Obwakabaka ebbanga lyonna bubadde bumanyiddwa okukolamu abantu abakadde, wabula Kabaka abadde akozesa abavubuka okumala ebbanga mu bitongole eby’obuvunaanyizibwa.

Ababadeko baminista mu minisitule y’abavubuka kuliko Mathias Mpuuga, Florence Bagunywa Nkalubo, Charles Peter Mayiga ne Henry Ssekabembe aliko kati. Bano bonna bayiseeko mu kibiina kya Nkoba Za Mbogo.

Abavubuka bangi ababaddeko e Mmengo bafunyeemu, bafuuse baabuvunaayizibwa era abamu bakiise mu Palamenti y’eggwanga.

Ku bano kuliko Mathias Mpuuga akikirira Munisipali y’e Masaka, Ssegona Lubega eyaliko ssentebe wa Nkoba Za Mboga e Makerere kali ali mu Palamenti; Nambooze Betty eyaweerezanga Ssaabasajja ali mu Palamenti n’abalala bangi.

Nkoba Zambogo ky’ekibiina omwegattira abayizi abasoma mu matendekero aga waggulu nga kino kyazaala ebibiina ebirala nga Emiti Emito omwegattira abayizi abasoma siniya n’ekya Pulayimale ekiyitibwa Akaliba Akendo.

Bino bikoze kinene okwagazisa abavubuka eggwanga lyabwe n’okubakunga okwekulaakulanya n’okwettanira okusoma n’okutendekebwa mu mirimu egy’enjawulo.

Mu 2012 Minisitule y’abavubuka e Mmengo yatandikawo enkola y’okunoonyeza abavubuka emirimu egy’enjawulo era David Ssekamwa akulira pulojekiti eno agamba nti bukya bagitandika abavubuka 375 be baakagiganyulwamu ne bafuna emirimu.

Ssekamwa agamba nti baatandikawo ekibiina kya Hope for Single Mothers nga kino kiyamba okubudaabuda abawala abazadde abaana kyokka abasajja ababazaddemu ne babalekawo.

Kibayamba okulabirira abaana baabwe naddala okubasasulira ebisale by’essomero, okubawa obujjanjabi nga balwadde ate bamaama bafuna okusomesebwa okwenjawulo okuyiga ebyemikono nabo okwetandikirawo emirimu basobole okwebeezaawo.

Ebibiina ebirala eby’okwekulaakulanya bitandikiddwaawo nga ku bino kuliko Ssuubi lya Buganda omwegattira abavubuka ababa bamaze emisomo gyabwe mu matendekero aga waggulu.

Kino kisomesa abavubuka abamaze okusoma okuyiga ebyobulimi n’obulunzi eby’omulembe basobole okweggya mu bwavu. 

Casimiri Mukasa, omuwandiisi mu kibiina kino agamba nti baatandikawo ne SSACO mwe bayita okuyamba mu byensimbi abavubuka ba Buganda nga Ssaabasajja Kabaka bwe yabakuutira, era gye bujja basuubira okugifuula SSACCO bbanka .

Baganda Ngabo Workers Association (BANGAWA) kino mwe mwegattira abavubuka okusinga abasuubuzi abakolera mu butale obw’enjawulo.

BANGAWA kikumaakuma abavubuka abasuubuzi, okuyooyoota ebifo byobuwangwa n’okuwa Kabaka obukuumi.

Waliwo ekibiina ekirala ekyatongozebwa mu mwaka gwa 2010 nga kino kigenda mu masomero ag’enjawulo nga kigezaako okusomesa abayizi n’okubaagazisa= amasomo g’ebyemikono , nga kigenderera okubayamba bwe bamala okusoma baleme kubulwako kye bakola.

Minisita omuggya avunaanyizibwa ku byabavubuka, Henry Ssekabembe agamba nti wadde tannaba kwetegereza bulungi mirimu gya bavubuka , Polojekiti z’abavubuka tagenda kuzitaataaganya kuba ze yaakalabako zibadde zitambula bulungi wabula agenda kuzongeramu amaanyi.

Ekyetaagisa kati ye Mmengo okufunawo engeri gy’essaawo amalundiro, ffaamu n’amatendekero g’ebyemikono mu buli ssaza okuwa abavubuka emirimu n’okuwa ekyokulabirako gye bali nti Abaganda nkoba za mbogo!

EMYAKA 20 EGY’AMATIKKIRA: Omukwano gwa Kabaka n’abavubuka gukuze

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...

GEOFFREY LUTAAYA alaze byat...

GEOFFREY LUTAAYA Sisobola kuva mu kuyimba kuba kwe kunfudde Lutaaya ensi gw'emanyi naye olw'obuvunaanyizibwa kati...

Ebyakwasizza Dr Lulume mu k...

OMUBAKA wa Buikwe South eyaakalondebwa Dr. Lulume Bayiga n'abantu abalala mwenda baakwatiddwa poliisi y'e Nyenga...

'Siri mwangu buli ankubyeek...

EYAGAANYE okusasula ssente z'entambula bamutabukidde ne bamwambula ne bamutwala ku poliisi gye yeekoledde obusolo...

Ssaabasumba asabye Gavument...

SAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga awadde Pulezidenti Museveni amagezi okusoosowaza...