TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Kimbowa: Y'omu ku baazimba Olubiri lw'e Bamunaanika ne Seminario y'e Kisubi

Kimbowa: Y'omu ku baazimba Olubiri lw'e Bamunaanika ne Seminario y'e Kisubi

Added 24th December 2013

Joseph Kimbowa, abangi gwe babadde bamanyi nga Kevina House olw'ennyumba ye gye yazimba ku luguudo lw'e Ntebe n'agiwa erinnya lino yafudde.



Bya Juliet Lukwago

Joseph Kimbowa, abangi gwe babadde bamanyi nga Kevina House olw'ennyumba ye gye yazimba ku luguudo lw'e Ntebe n'agiwa erinnya lino yafudde.

Alese akoze ebintu bingi ng'ebisinga abikoze ng’ayita mu mulimu gwe ogw’obuzimbi.Olumu nga tannafa, Kimbowa nnamusisinkana n'annyumiza obulamu bwe obujjudde ebyewuunyisa bwati:

Nze Yozefu Kimbowa, kitange ye mugenzi Yoana Kivumbi ne nnyabo Maria Nakyejwe, bonna nga bagalamidde ku kyalo Jjanya mu Mawokota . Ndi wa Ng'onge.

Bazadde bange okugenda okunzaala nga November, 29, 1929, baabeeranga Katende okumpi n’enju y'Ababiikira ba St. Francis.

Twazaalibwa abaana musanvu nga nze muggalanda. Mukama yatuwa omukisa, mwannyinaffe John Baptist Nakiganda bwe yamulonda n'afuuka omunnaddiini ow’ekibiina ky'Ababiikira ab’omutima omuddaabiriza e Gogonya.

Natandika okusoma mu 1939, mu kigo ky’e Katende. Ate mu 1940 ne nnyingira St Kizito Mpigi, gye nasomera ebibiina byonna, oluvannyuma nayingira Kisubi Technical gye nayigira ebyokuzimba.

Nkuze nzimba, oli ne bw'ataba na pulaani kyokka n'annyinyonnyola bulungi ky'ayagala tekisobola kunnema.

Olwamala okusoma emirimu ne gitandika okunnoonya. Nze ne mukwano gwange Ssali ffe twazimba Seminalio y’e Kisubi, era twamala emyaka 4 nga tubumba amatoffaali agaazimba Gogonya.

Mu 1956, olwo kwe kutandika okuzimba konventi y'Abasiisita e Nkokonjeru, nasookera ku ttanka z’amazzi, oluvannyuma kwe kuzimba emu ku nju eziri mu konventi eno, nze nnakola ku ntaana ya Mother Kevina wadde mu kusooka yali yazimbibwa Bayitale.

Amaka ga nnagatuuma Kevina House nga ngabbula mu Musiisita Omuzungu Mother Kevina eyatandika ekibiina ky'Abasiisita ab'e Nkokonjeru, eddwaaliro ly’e Nsambya n’ebintu ebirala bingi.

Omubiikira ono bwe yafa nasalawo okutandika okumusaba nange ansabire era ne nsalawo ebyange byonna mbimukwase nga mmwebaza by'azze ampisaamu omuli okumponya amakomera n’okuttibwa.

Lumu nakola emirimu abantu abamu ne bagaana okunsasula, kye nakola kwe kugenda ku ntaana ya Sr. Kevina e Nkokonjeru ne mugamba nti mukwano gwange abantu bano na bano bagaanyi okunsasula ensimbi zange ze nakolera sso nga mbabanjizza emirundi n’emirundi.

Nasaba Omubiikira ono ababanje, era kwe kusomerawo essaala ya 'Kitaaffe ali mu Ggulu' ne nvaawo. Mba nnaakasimbula ekigere ku ntaana ya Sr. Kevina ne bankubira essimu nga bannoonya okunsasula 10,000/-. Mu 1954 ezo zaali ssente nnyingi nnyo!

Ssente ezo natandika okuzisuubulamu ebyennyanja okuva e Ntebe okubitwala mu katale mu 1960. Buli kye nasalangawo okukola nga nsooka kufukamira ne nsaba Mother Kevina annung’amye nsobole okukola ekituufu.

Olulala nnali njagala kugenda Roma mu kulangibwa kw’Abajulizi kyokka ssaalina ssente. Nagenda ku ntaana ya mukwano gwange ne mubuuliramu.Olwo nnali mmaze okutuukirira be nnali mmanja ne batansasula.

Naye olwamala okusaba bampa ssente zange 45,000/- ne ng’enda e Roma. Ku mulundi ogwo twasasulanga 1,200/-. Twagenda abantu 160 nga Fr Augustine ne Ssaabasumba Kiwanuka be baatukulembera olwo ne tusisinkana Msgr Emmanuel Nsubuga e Roma.

Obulamu bwange
Mu 1977 nagendako mu buwang’aguse, anti mu mwezi gwa July wa 1975, bankwata ku kisaawe e Ntebe ne bantwala e Naggulu nga banteebereza okubaako kye nnakola mu kutega bbomu e Nammanve ng'eno olukung'aana lwa OAU lugenda mu maaso!

Bantulugunya okumala ennaku 15, oluvannyuma ne bantwala e Luzira ne bansiba emyezi 8. Bwe gyaggwaako, baagaana omuntu yenna okunneeyimirira ne bansalira gwa kufa.

Oluvannyuma bannyimbula, kyokka mba ng'enda okutuuka eka ate ne baddamu ne bankwata ne banzizaayo e Naggulu. Bansibira mu Upper Room gye basibira abazzi b’emisango eminene. Nalaba nze ennaku!

Mukyala wange Jane Kayaga bwe yajja okundabako ne mugamba nti bw'oba ozzeeyo mpitira Fr, Charles Kimbowa (kati Msgr Kimbowa) ajje annejjusise. baali batukuuma baali banzibiddeko nti bagenda kuntwala ku kalabba!

Fr Kimbowa bwe yajja olwamala okukola kye nnali musabye naye ne mutuma ang’ambire Kalidinaali Emmanuel Nsubuga agende ang’ambire Pulezidenti Amin nti bwe tuba tulina omusango gwe twakola batutte naye bwe tuba tetulina batute tudde mu maka gaffe tukole emirimu gyaffe.

Ebbanga eryo lyonna nasabanga Mother Kevina annyambe nsobole okuva mu kkomera, era nga February 5, 1976 baatuta!

Nzijukira bwe nnali mu kkomera, nnawandiikira mukyala wange ebbaluwa nga mmugamba nti bwe bamugobanga mu nnyumba agende abeerenga e Ggogonya mu Basiista n’abeera eyo!"

Mzee Kimbowa buli lw'obaddenga omukyalira ng'akidding'ana nti asinga kwagala eddiini ye Obwakabaka n’ekibiina kye ekya DP.

Kyokka abadde ayagala buli omu, era gye buvuddeko Pulezidenti Museveni yamukyalira mu maka ge era n'amuwa ekirabo ekyawundibwa mu kifaanaanyi ky’omusaalaba omumyufu.

Mukyala we yamuwasa nga August, 6, 1949, ne bazaala abaana 15.

Mzee Kimbowa yang'amba: Ndi omu ku baazimba Uganda Management Nakawa mu 1972, Makerere University school of Technology mu 1953, Kisubi Seminary ne seminario endala nnyingi.

Ssaabasumba Dr. Cyprian Lwanga yatenderezza omugenzi Kimbowa olw’ebirungi by'akoledde Eklezia ye awamu n’eggwanga lye, era nasaba abantu bangi okumulabirako basobole okukolerera eggwanga lino. Yaziikiddwa eggulo.

Kimbowa: Y''omu ku baazimba Olubiri lw''e Bamunaanika ne Seminario y''e Kisubi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....