Musaayimuto Keidenking Lubowa ow’emyaka 15, alina ekirooto ky’okufuuka ssita mu mupiira gw’ensi yonna. Omwana ono agamba alina okulanwa okutuukiriza ekirooto kye kino yeebaze Katonda eyamubikkako akasubi n’amutaasa abazigu abaali bamuwambye mu mwaka gwa 2010 mu September nga baagala okumusaddaaka.
Lubowa (owookusatu ku kkono) bwe yali mu kutendekebwa ng'akyali mu akademi ya Proline.
Omuzannyi ono azannya nnamba musanvu ne 11 nga mu kiseera kino ali mu akademi ya Rusall ya Bungereza kyokka nga ttiimu ez’enjawulo zitandise okumuyaayanira zimukanse okutwala mu ttiimu zaazo ento.
Lubowa agamba nti buli lw’abeera mu kutendekebwa assaayo amaanyi n’omutima gwe gwonna eri abatendesi bye baba bamugamba kuba ekirooto kye kya kufuuka ssita ku ddaala ly’ensi yonna mu mupiira.
Lubowa mu kutendekebwa.
Y’omu ku bazannyi abaabadde mu kugezesebwa mu ttiimu z’eggwanga eyabatasussa myaka 17. Lubowa yayitako mu mikono gya akademi ya Proline wansi w’omutendesi Baker Mbowa gw’atenderezza ennyo olw’okumuwa omusingi omunywevu mu mupiira. Lubowa, muwagizi wa ManU kyokka era yeegomba nnyo omuteebi wa PSG, Neymar Junior era yeetegereza nnyo enzannya ye asobole okumufaanana mu kitone.
Nnyina wa Lubowa, Brenda Namugga Kirumira agamba nti nga ffamire beenyimiriza mu mutabani waabwe era bamulinamu essuubi okukuza ekitone kye okutuuka ku ddaala erya waggulu.
"Twebaza Katonda atukuumidde Lubowa kuba ebyamutuukako mu 2010, byatukuba wala. Tumwenyumirizaamu nti ekkubo ly'okuzannya omupiira ly'akutte alyagala era tujja kumuyamba afunemu ebibala," Brenda Kirumira bwe yagambye.