Ab'omuzannyo gw'amaato batandise okugakolera wano

Amaato
By Silvano Kibuuka
Journalists @New Vision

Ssabawandiisi wa NCS avunayizibwa ku by’ekikugu, David Katende asiimye ekibiina ekuddukanya obwato obutono ekya Uganda Canoe Kayak Federation (UCKF) abataddewo essuula empya bwe batandise okubwekolera.

Abadde akiikiridde minisita w’eggwanga ow’emizannyo, Peter Ogwang n’agamba nti eno y’enkola ya gavumenti empya gye baatuuma ‘Sports Made in Uganda’ ng’abazannyi n’ebikozesebwa byonna biva mu Uganda.

Amaato

Amaato

Katende ategeezezza nti ekinyusi ky’emizannyo kibeeramu abazannyi, ebisaawe wamu n’ebikozesebwa.

Akwasizza abakiikiridde amakiraabu munaana obwato obw’ekika kya Canoe Kayak n’abakuutira okubukozesa okuzuula talanta mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu.

“Twagala mukole obwato obunaamatiza eggwanga ate nga mulina n’akatale mu mawanga ageetoolodde. Buteekeddwa okukakasibwa ekibiina ekiddukanya omuzannyo guno mu nsi yonna. Kiraabu 15 ze mulina tezimala mu ggwanga lyonna era musaanye okugaziwa,” Katende bw’abategeezezza.

Abagambye era nti abazannyi bokka si be bagenda okuganyulwa mu maato gano wabula abantu abaneetabanga mu mpaka, aba ttulansipooti, aba woteeri n’abalala bangi.

Akwasizza abakiikiridde amakiraabu obwato n’enkasi n’abakuutira obutabijaajaamya wabula bongere okugaziya omuzannyo.

Ye pulezidenti wa UCKF, Solomon Muwonge ategeezezza nti baagala omwaka we gunaggwerako nga balina kiraabu ezisoba mu 20 nga zonna baziwadde obwato ku bbanja zisobole okutumbula talanta wamu n’okukola ssente ezinareetebwanga mu kibiina okusasula obwato buno.

Amaato

Amaato

“Tulina obusobozi okukola obwato munaana buli wiiki. Twagala buli kiraabu efune tusobole okufuna abazannyi abangi abali mu mutindo gw’ensi yonna nga basobola okuvuganya obulungi mu mizannyo gya Commonwealth Games ne Olympics gye bujja,” Muwonge bw’ategeezezza.

“Ekirooto kyange kwe kulaba nga Uganda esobola okutegeka empaka z’obwato buno abavuzi okuva mu mawanga ga Bulaaya ne beeyiwa ku nnanya Nalubaale okuvuganya,” bw’ayongeddeko.

Wabula agabye nti obwato bwe bakoze bulina enkizo ku bw’Abazungu kubanga buno tebubbira era nga bwakeberwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutiindo mu minisitule y’ebyemirumu n’entambula be bukakasibwa,

Akuutidde bonna ebeenyigira mu muzannyo guno obuteetantala kulinnya ku mazzi nga tebalina bukooti obuyitibwa ‘Life Jackets’ obubataasa singa wagwawo akabenje ku mazzi