Bya Hussein Bukenya
NG’abakungu ba Express bakyasala entotto okuwa abazannyi baabwe endagaano, Bunnamwaya ebasumagizza n’ebatwalako omuwuwuttannyi Edgar Luzige (mu kifaananyi ku kkono) eyaakabazannyira emipiira 14 gyokka.
Kitunzi wa Bunnamwaya, Elvis Ssekate yagambye nti Luzige baamuwadde endagaano ya myaka ebiri mu kugezaako okunyweza ttiimu esobole okuvuganya ku bikopo.
“Luzige tumuwadde endagaano era kati ssaawa eno muzannyi wa Bunnamwaya nga twagala tumuzze mukya Mike Mutyaba eyeegasse ku El Merriekh eya Sudan,” Ssekate bwe yagambye.
Luzige, eyava mu Victors ku ntandikwa ya sizoni eno, alese abakungu ba Express nga beewuunaganya oluvanyuma lw’obutabategeezaako ng’ateeseganya ne Bunnamwaya.
Sam Ssimbwa atendeka Express agamba nti talina ky’atidde kuba (Ssimbwa) y’amufudde ky’ali. Agamba nti, “Nga bwe tubadde ne Luzige, tusobola okufuna omuzannyi omulala omulungi adda mu bigere bye.”
Mu ngeri y’emu omutendesi wa KCC ow’ekiseera, Morley Byekwaso afunye akaseko ku matama oluvannyuma lw’omuzibizi Israel Emuge okukomawo ng’ava mu Kira Young eya Big League gy’abadde ku bbanja.
Byekwaso yategeezezza nti okukomawo kwa Emuge kwakutaasa ttiimu ye eyaakafuna akabonero akamu mu mipiira esatu gy’esembye okuzannya.
Ssita wa Express agyabulidde