Lwakusatu mu za Afrika:
Congo - Cranes, 11:30
Rwanda - Nigeria
Tanzania - Mozambique.
Kenya - Togo
Burundi - Zimbambwe
LEERO (Lwakusatu), Cranes erina omukisa okusangulawo likodi embi gy’erina mu mawanga g’omu masekkati ga Afrika bw’eneeba ettunka ne Congo Brazaville mu gw’okusunsulamu abalyetaba mu mpaka za Afrika omwaka ogujja.
Bukya luba nga lwa mmindi, Uganda (Cranes) tewangulirangako ku bugenyi mu masekkati ga Afrika era nga kino omutendesi Bobby Williamson ne ttiimu ye kye balwana okuggyawo.
Omwaka oguwedde, Bobby ne ttiimu ye beggyako ekikwa ky’emyaka 11 nga Cranes tewangulira ku bugenyi bwe yakuba Guinea Bissau ey’obugwanjuba bwa Afrika. Cranes yasemba okuteebera ggoolo mu Masekkati ga Afrika mu 1986 bwe yawuttulwa Cameroon ggoolo 5-1.
Bobby tatidde
Eggulo, Bobby yagumizza Bannayuganda nti omupiira ttiimu ye egenda kuguyitako kuba abazannyi bonna bali mu mbeera nnungi era ng’abalinamu essuubi ly’okuguwangula.
Martin Mutumba ye nnamuziga wa Cranes.
“Ggoolo y’oku bugenyi egenda kuba ya mugaso nnyo gye tuli era tugenda kufuba nnyo okuggifuna amangu,” Bobby bwe yategeezezza ng’asinziira ku Hillary Hotel e Pointe Noire, ekyesudde kiromita 502 okuva mu kibuga ekikulu, Brazaville.
Essuubi mu Mutumba
Oluvannyuma lwa Cranes okuviirwako abazannyi basatu ababadde batandika omuli David Obua, Ibrahim Sekaggya ne Nestroy Kizito, kati Bobby essuubi limuli mu Martin Mutumba Kayongo, agucangira e Sweden.
Ono asuubirwa okuzannya ku kitongole ekiwuwuttanyi mu nnamba eyali eya David Obua era nga y’asuubirwa okuyiiyiza Brian Umony ne Mike Sserumaga abali ku kyoto.
Owa Congo naye awera
Omutendesi wa Congo, Brazaville, Jean-Guy Walleme, yategeezezza olupapula Les Depeche De Brazaville olw’omu ggwanga eryo nti, bafunye okutendekebwa okumala era ku Cranes kwe batandikira okugolola ensobi ze baakola mu kampeyini ewedde.
Cranes esuubirwamu;
Onyango, Masaba, Walusimbi, Mwesigwa, Isinde, Oloya, Mawejje, Umony, Serumaga ne Mutumba.
Uganda bw’ezze ekola mu masekkati ga Afrika
Sept 2011: Angola 2-0 Cranes Jun 2008: Angola 0-0 Cranes
Jun 2005: DRC 4-0 Cranes
Aug 1990: Gabon 1-0 Cranes
Aug 1990: Gabon 1-0 Cranes
Jul 1991: DRC 1-0 - Cranes
Nov 1986: Cameroon 5-1
CRANES Mutumba agitaasa ku Congo Brazaville?