TOP

BANNASINGO balaze Beene omukwano mu kuggulawo egy'amasaza

Added 5th May 2012

Bannassingo babugaanye essanyu nga baaniriza Kabaka eyatuuseeyo okuggulawo emipiira gy’amasaza.

Bya L. KAGIRI NE L. KAMERE

EBIRABO by’emmere n’ebinywero by’omwenge kata bikalire mu Mityana n’ebitundu ebiriraanyewo olw’essanyu Bannassingo lye baabaddemu nga baaniriza Ssaabasajja Kabaka Muwenda Mutebi eyatuuseeyo okuggulawo emipiira gy’amasaza.

Ebiyitirirwa byazimbiddwa kumpi mu buli kabuga ku luguudo lw’e Mityana era embuutu bakira zisindogoma  e Zigoti, Wabigalo n’ebitundu ebirala ng’abantu babinuka masejjere olw’okulaba ku Mutanda.

Kabaka, yatuuse ku ssaawa 1:30 akawungeezi k’Olwokutaano olwo emirimu ne gisannyalala olw’enduulu n’emizira bakira gye bamukubira era olwatuuse, n’ayolekera enju ye eya Matutuma mwe yasuze.

Omuwagizi afudde:
Omu ku bawagizi eyategeereseeko erya Alex nga muvuzi wa boda, eyabadde ayaniriza Kabaka, yalinnyiddwa loole lukululana eyamuttiddewo.

Alex, yasirittuse ku boda n’agwa mu kkubo, loole n’emulinnya.

Emiryango gy’ekisaawe gyagguddwaawo ssaawa 2:00 ku makya g’Olwomukaaga era namungi w’omuntu n’akulumulukuka okuyingira yeerabira ku batabani ba Mukwenda (Ssingo) nga bambalagana n’aba Luweekula (Buweekula).

Kabaka ng'asamba omupiira okuggulawo egy'amasaza egiyindira e Ssingo
 

BANNASINGO balaze Beene omukwano mu kuggulawo emipiira gy’amasaza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu