TOP

Uganda emezze Bungereza

Added 16th May 2012

EKIBUGA Ntebe (Uganda) kiwangudde London (Bungereza) mu kalulu k’okutegeka empaka z’emisinde egy’okwetooloola ebyalo egya World Univesity Cross Country Championships mu August, 2014.

Bya TEDDY NAKANJAKKO

EKIBUGA Ntebe (Uganda) kiwangudde London (Bungereza) mu kalulu k’okutegeka empaka z’emisinde egy’okwetooloola ebyalo egya World Univesity Cross Country Championships mu August, 2014.

Uganda okuwangula, yamaze kuvuganya Bungereza ng’okusaba kwatereddwaayo akulira ekibiina kya yunivasite mu ggwanga, Peninah Kabenge mu lukiiko lwa yunivasite mu nsi yonna olwabadde e Kazan mu Russia ku Ssande.

Uganda yalaze nti nneetegefu okutegeka empaka zino ez’omulundi ogw’e 19 nga si yaakuwa abanaazetabamu buzibu mu kufuna viza.

Kino kyakuyamba Uganda mu kaweefube gw’eriko ow’okufuna olukusa okutegeka eza World Cross Country Championships mu 2015.

Uganda emezze Bungereza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.