TOP

'Abajulizi' abafiiriridde emizannyo mu Uganda

Added 3rd June 2012

LEERO (Ssande), Abakatuliki n'Abakristaayo bajjukira abajulizi abaafiirira eddiini. HASFAH SSONKO akuleetedde bannabyamizannyo abafaananako 'abajulizi abafiiriridde ebyemizannyo.

LEERO (Ssande), Abakatuliki n'Abakristaayo bajjukira  abajulizi abaafiirira eddiini. HASFAH  SSONKO akuleetedde bannabyamizannyo abafaananako 'abajulizi abafiiriridde ebyemizannyo.


Omugenzi Oti ku kkono

DENNIS OBUA; Yaliko pulezidenti wa FUFA mu 1998 ate mu 2003 n'abeera pulezidenti wa CECAFA. Yafa mu 2010 nga bamuddusa mu ddwaaliro okumuggya ku kisaawe e Nakivubo we yali n'abaagusambako.

PAUL HASULE; 
Yafa mu 2004. Yazannyirako Tororo College, MUK, Mbale Heroes ne Villa. Emyaka 11 gye yamala mu Villa yali kapiteeni ate ku Cranes yali kapiteeni okumala emyaka 4. Yatendekako State House, Simba, Villa, Police ne Cranes.

DAVID  OTTI;
We yafiira mu 2011, okugulu kwe okumu kwali kwatemwako naye nga tabula ku kisaawe. Yali akola ku byokutereeza obwongo bw'abazannyi ba Cranes. Yazannyako mu mpaka za Afrika ezakamalirizo mu 1968 wabula teyeerabirwa bwe yatwala Cranes mu mpaka za Afrika mu 1974 (Misiri) ne Ethiopia mu 1976.

MARIA SANDRA NANYONJO;
Yafiira mu baasi eyali eggya abawagizi e Kenya okuwagira Cranes omwaka oguwedde. Yali muwagizi wa Express kyokka era nga ne ku Cranes tebamutumira mwana. Yaleka abaana basatu okuli, D. Sembule, R. Bulime ne Lawrence Senyonga.

MOSES MIRUNDI;

Mirundi yafa mu 2007 naye nga yali omu kw'abo abaatandikawo empaka z'omupiira mu masomero.                                             

PHILLIP OMONDI; Yafa mu 1999.  Yazannyirako Naguru youth FC, Fiat FC, KCC FC ne Sharjah FC (United Arab Emirates). Ku Cranes, yali musaale mu ttiimu eyatuuka ku fayinolo za Afrika 1978 ng'era ye yasinga okuteeba ggoolo mu mpaka ezo (4).

MOSES NSEREKO (Kisolo ky'amanyi');
Yasangibwa attiddwa e Wampeewo mu 1991. Yali mu Cranes ya 1978. Yawangula ebikopo bya liigi 5, Uganda cup 3 n'ekya CECAFA mu 1978 ng'ali mu KCC ate Cranes ebya CECAFA 3. Mu 1985 yateekawo likodi y'omutendesi omuto okuwangula ekikopo kya liigi ku myaka 29 mu KCC. We yafiira yali muwandiisi wa FUFA.

RYAZ KURJI; Yali muvuzi wa mmotoka z'empaka eyafiira ku luguudo lw'e Mityana mu 2009 nga bali mu mpaka za Pearl of Africa Rally.Yali yaakawangula empaka zino emirundi ebiri.                                                                                               Omugenzi Dennis Obua

FRED LUKWAGO 'GIRINGI'; Yafa mu 2009. Yali mukwasi wa ggoolo Nakivubo Settlement mu 1968 ne Express mu 1975 ne Cranes. Yatendeka abakwasi ba ggoolo ba Villa.

REBECCA NAMYALO KAZIBWE (Maama Baker); Yali muyima wa mupiira gwa bakazi. Yali muwagizi wa Express lukulwe ate nga Cranes weeri, tabulawo. Mu 1977 yasibwa e Makindye oluvannyuma lw'abawagizi ba Express okukola efujjo nga  bazannya ne Simba. Yafa mu 2005.

JACK IBALE;

Yali yinginiya mu KCC ate nga sentebe wa KCC FC okuva mu 1985 - 1989. Yafuula KCC eyeegombebwa buli omu era ng'anamateeka g'omupiira agamanyi.  Omukululo gwe yaleka mu KCC tayinza kwerabirwa ng'omujulizi. Yafa mu 1996.

HAJJI ABDUL KASUJJA;
Express yamwenyumirizaamu bwe yali maneja waabwe okuva mu  1973-1981. Yakola kyonna ekisoboka okuzzaawo Express oluvannyuma lw'omugenzi Idd Amin okugiwera. Mu 1986 yatandikawo KK Cosmos nga munno mwatandikiramu abazannyi okuli; Sam Simbwa, omugenzi Mathia Mbale, Dan Lutalo, Mu 1987, yeegatta ne Blue Bats ne bakola KB Cosmos FC  

PATRICK  KIWANUKA;

Yali ssentebe wa Express mu 1985 era n'aleeta kkampuni ya  Inter State Insurance eyabateekamu ensimbi okukkakkana nga bawangudde ekikopo kya liigi omwaka ogwo. Yafiira mu kabenje e Zana mu 1989 ng'ava e Ntebe aba Uganda Airline FC  bwe baali bamuyise abakwatizeeko mu kusondera ttiimu yaabwe ensimbi.

PATRICK KAWOOYA;

Yatandikira mu Express  ng'omuwanika nga wa myaka 24. Express bwe baagiwera mu 1977,  yeegatta ku Nakivubo Boys  mu 1979 eyafuuka Nakivubo Villa omwava SC Villa. Mu 1995 yatandikawo Villa International wabula teyagimalamu mwaka n'afa mu 1995.

 

Omugenzi Riyaz Kurig ku ddyo

MAJOR GENERAL FRANCIS NYAGWESO;
Yafa mu 2011. Yali mukubi wa bikonde era nga yeetaba mu mpaka eziwerako. Yaleeta omudaali gwa zaabu mu mpaka za Hapoel mu 1961.Yali nnantameggwa wa East Afrika mu bikonde okuva mu 1952 - 1962.

''Abajulizi'' abafiiriridde emizannyo mu Uganda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...